Yobu 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 1:1-22

Yobu n’eby’Amaka ge byonna

1Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi1:1 Uzzi yali nsi eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. Yobu teyali Muyisirayiri. erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. 2Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. 3Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.

4Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. 5Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;1:5 Etteeka lya Musa nga terinnabaawo, omukulu w’ennyumba ye yabanga kabona w’ennyumba ye. yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.

Setaani Agezesa Yobu

6Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. 7Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”

Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

8Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

9Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.

Yobu afiirwa Abaana be n’eby’Obugagga bwe

13Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe, 14omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo, 15Abaseba1:15 Abaseba baali balunzi abaatambulanga okuva mu kifo ekimu nga balaga mu kirala, nga babeera mu bukiikaddyo bwa Buwalabu. ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”

16Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”

17N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya1:17 Abakaludaaya baali batambuze mu ddungu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga babeera mu Mesopotamiya. Oluvannyuma baasalawo okubeera mu kifo kimu ne bassaawo Obwakabaka bw’e Babulooni. bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”

18Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”

20Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: 21n’agamba nti,

“Nazaalibwa sirina kantu

era bwe ntyo bwe ndiddayo.

Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo,

erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

22Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约伯记 1:1-22

约伯的敬虔

1乌斯有一个人名叫约伯,他纯全正直,敬畏上帝,远离罪恶。 2他有七子三女、 3七千只羊、三千只骆驼、五百对牛、五百头母驴及许多仆婢。他在东方人中最富有。 4约伯的儿子们经常轮流在自己家里设宴,派人邀请他们的三个姊妹来一起吃喝。 5宴会的日子结束后,约伯便派人召来他的儿女,为他们行洁净礼。他清早起来,为他们每个人献上燔祭,因为他想:“也许我的孩子们犯了罪,心中亵渎了上帝。”约伯常常这样做。

撒旦控告约伯

6有一天,众天使1:6 众天使”希伯来文是“上帝的众子”,2:138:7同。来朝见耶和华,撒旦也在他们当中。 7耶和华问撒旦:“你从哪里来?”撒旦答道:“我在地上到处游走。” 8耶和华问撒旦:“你注意到我的仆人约伯了吗?世上没有人像他那样纯全正直,敬畏我,远离罪恶。” 9撒旦说:“约伯敬畏你难道无缘无故吗? 10你岂不是像篱笆一样四面保护他及其全家和一切产业吗?你使他事事蒙福,牛羊遍地。 11倘若你伸手毁坏他拥有的一切,他必当面亵渎你。” 12耶和华对撒旦说:“好吧,他的一切都在你手中,但不可伤害他。”撒旦便从耶和华面前退去。

约伯失去所有

13有一天,约伯的儿女正在长兄家吃喝, 14有报信的人来对约伯说:“牛正在耕田、驴正在旁边吃草的时候, 15示巴人忽然来袭,抢走了牲口,用刀杀了你的仆人,只有我一人逃脱来向你报信。” 16话音未落,又有人来报信说:“上帝的火从天而降,烧死了羊群和牧人,只有我一人逃脱来向你报信。” 17话音未落,又有人来报信说:“迦勒底人分三队来袭,抢走了骆驼,用刀杀了你的仆人,只有我一人逃脱来向你报信。” 18话音未落,又有人来报信说:“你的儿女正在长兄家吃喝的时候, 19忽然从旷野刮来一阵狂风,摧毁了房子四角,房子倒塌,压死了屋里所有的人,只有我一人逃脱来向你报信。”

20约伯站起来,撕裂外袍,剃掉头发,俯伏在地上敬拜, 21说:“我从母腹赤身而来,也必赤身而去。赏赐的是耶和华,收回的也是耶和华。耶和华的名当受称颂!” 22约伯遭此不幸,仍没有犯罪,也没有埋怨上帝。