Olubereberye 50 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 50:1-26

150:1 Lub 46:4Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. 250:2 nny 26; 2By 16:14Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; 350:3 Lub 37:34; Kbl 20:29; Ma 34:8baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.

4Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, 550:5 a Lub 47:31 b 2By 16:14; Is 22:16 c Lub 47:31‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”

6Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”

7Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, 8n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. 9N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.

1050:10 a 2Sa 1:17; Bik 8:2 b 1Sa 31:13; Yob 2:13Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.

12Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 1350:13 Lub 23:20; Bik 7:16Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.

1550:15 Lub 37:28; 42:21-22Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.” 16Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti 17tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.

1850:18 a Lub 37:7 b Lub 43:18Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.” 1950:19 Bar 12:19; Beb 10:30Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 2050:20 a Lub 37:20 b Mi 4:11-12 c Bar 8:28 d Lub 45:5Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 2150:21 Lub 45:11; 47:12Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.

Okufa kwa Yusufu

2250:22 Lub 25:7; Yos 24:29Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 2350:23 a Yob 42:16 b Kbl 32:39, 40N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.

2450:24 a Lub 48:21 b Kuv 3:16-17 c Lub 15:14 d Lub 12:7; 26:3; 28:13; 35:12Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.” 2550:25 Lub 47:29-30; Kuv 13:19; Yos 24:32; Beb 11:22Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”

2650:26 nny 2Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.

Chinese Contemporary Bible 2022 (Simplified)

创世记 50:1-26

安葬雅各

1约瑟伏在父亲身上痛哭,亲吻他, 2然后吩咐医生用香料保存父亲的遗体。医生遵命而行, 3按照常例花了四十天用香料处理遗体。埃及人为他哀悼七十天。

4哀悼的日子完了,约瑟对法老宫中的人说:“如果你们恩待我, 5请告诉法老,我父亲死前要我起誓把他葬在迦南他自己预备好的坟地。请准许我到迦南去安葬我父亲,我办完丧事就回来。” 6法老说:“去按照你的誓言埋葬你父亲吧。” 7于是,约瑟启程去埋葬他的父亲,随行的有法老所有的臣仆和埃及所有的达官显贵, 8以及约瑟全家、他的众弟兄和雅各的家眷,只有他们的孩子和牛羊仍然留在歌珊9随行的还有大队车辆和骑兵,人数众多。 10他们来到约旦河附近的亚达麦场,在那里痛哭哀悼。约瑟为父亲哭丧七天。 11迦南人看见他们在亚达麦场痛哭,就说:“埃及人在痛哭哀悼。”因此,约旦河附近的那个地方叫亚伯·麦西50:11 “亚伯·麦西”意思是“埃及人在哀哭”。12雅各的儿子们遵照父亲的遗言, 13把父亲的遗体带回迦南,安葬在幔利附近、麦比拉田间的洞里。洞和田地都是亚伯拉罕以弗仑买来作坟地的。 14葬礼之后,约瑟就跟众弟兄和一切随行的人返回埃及

上帝的美好旨意

15约瑟的哥哥们见父亲死了,就说:“约瑟会不会怀恨在心,因我们以前恶待他而报复我们呢?” 16于是,他们派人去对约瑟说:“你父亲临终时交待这样的话给你, 17‘从前你哥哥们恶待你,求你饶恕他们的罪恶和过犯。’我们是你父亲的上帝的仆人,求你饶恕我们的罪恶。”约瑟听见这些话,就哭了。 18约瑟的哥哥们来见他,俯伏在他面前,说:“我们是你的奴仆。” 19约瑟对他们说:“你们不要害怕,我岂能代替上帝? 20从前你们是要加害于我,但上帝有祂的美意,祂借此保全许多人的性命,正如今日的光景。 21因此,你们不要害怕,我会照顾你们和你们的儿女。”约瑟好言好语地宽慰他们。

约瑟去世

22约瑟和他父亲全家住在埃及约瑟享年一百一十岁。 23他看到了以法莲的孙子,也曾把玛拿西的儿子玛吉刚出生的孩子抱在膝上。 24一天,约瑟对他的弟兄们说:“我快要死了,但上帝必看顾你们,带你们离开这里,回到祂起誓应许给亚伯拉罕以撒雅各的地方。” 25约瑟以色列的子孙起了誓,并说:“上帝必看顾你们,你们要把我的骸骨带回迦南。” 26约瑟享年一百一十岁。他们把他的遗体用香料保存好,放在棺材里,停放在埃及