出埃及记 36 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 36:1-38

1摩西说:“比撒列亚何利亚伯以及所有蒙耶和华赐智慧聪明、有技能、懂得如何建造圣所的人,都要按照耶和华的吩咐去做。”

2于是,摩西召来比撒列亚何利亚伯和所有蒙耶和华赐智慧、有技能、愿意参与建造的人。 3他们从摩西那里领取了以色列百姓奉献出来建造圣所的一切礼物。每天早上,百姓仍然甘心乐意地来奉献礼物, 4以致所有建造圣所的能工巧匠都放下自己的工作, 5前来对摩西说:“百姓的奉献太多了,我们建造耶和华吩咐的圣所用不了。”

6于是,摩西传令全营:“大家不用再为圣所奉献礼物了。”百姓这才停止奉献。 7因为所献的材料已经足够建造圣所,而且绰绰有余。

8工人中的能工巧匠用十幅幔子做成了圣幕,幔子用细麻线和蓝色、紫色、朱红色的线织成,上面精工绣制了基路伯天使。 9每幅幔子的尺寸都一样,长十二米、宽两米。 10又把每五幅幔子连在一起,共连成两幅大幔子。 11然后在每幅大幔子边缘钉上了蓝色的扣环, 12每幅各钉上五十个扣环,都是两两相对。 13又做了五十个金钩,把两幅大幔子连在一起,成为圣幕。

14比撒列用山羊毛织成十一幅幔子,做圣幕的罩棚, 15每幅幔子的尺寸都一样,长十三米、宽两米。 16然后把五幅连成一大幅,余下的六幅又连成一大幅。 17又在这两幅大幔子边缘各钉上五十个对称的扣环, 18再用五十个铜钩,把两幅大幔子连在一起,成为一个罩棚, 19并在罩棚上面盖一层染成红色的公羊皮,再盖一层海狗皮做顶盖。

20他用皂荚木做支撑圣幕的木板, 21每块木板长四米,宽六十六厘米, 22上面都有两个接榫,用来把木板连接在一起。圣幕的所有木板都这样做。 23圣幕的南面共有二十块木板, 24在这些木板下面又造了四十个带凹槽的银底座,每块木板下面有两个,套在木板的两个接榫上。 25圣幕北面也有二十块木板, 26木板下面同样有四十个带凹槽的银底座,每块木板下面有两个银底座。 27圣幕的后面,就是西面,有六块木板, 28圣幕的两个拐角各有两块木板, 29木板的下端连于底座,顶端用一个环固定。两个拐角都要这样做。 30这样后面共有八块木板,每块木板下面各有两个银底座,一共是十六个银底座。

31-32他用皂荚木做横闩,圣幕左右两边和后面的墙板上各有五根横闩, 33拦腰固定墙板的那根横闩从这端贯穿到那端。 34所有的木板和横闩都包上金,并在木板上造金环,用来穿横闩。

35他用细麻线和蓝色、紫色、朱红色的线织成一幅幔子,精工绣上基路伯天使, 36把这幅幔子挂在四根用皂荚木造的柱子上,柱子外面包上金,加上金钩,四根柱子下面有四个银底座。 37他又用细麻线和蓝色、紫色、朱红色的线绣制圣幕的门帘, 38用皂荚木做五根挂门帘的柱子,上面有金钩,柱顶和横杆包上金。柱子的五个底座是铜造的。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 36:1-38

136:1 a Kuv 28:3 b Kuv 25:8“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”

236:2 a Kuv 31:2 b Kuv 31:6 c Kuv 25:2; 35:21, 26; 1By 29:5Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola. 336:3 Kuv 35:29Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya. 4Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya Mukama ne bava ku mirimu gyabwe, 536:5 2By 24:14; 31:10; 2Ko 8:2-3ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”

6Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo; 736:7 1Bk 7:47kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era n’okufikkawo.

Eweema ya Mukama Ekolebwa

8Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi. 9Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 10Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, n’emitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo. 11Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala. 12Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye. 1336:13 nny 18Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; eweema ya Mukama n’ebeera wamu nga nnamba.

14Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema. 15Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana. 16Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, n’entimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo. 17Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’entimbe ekomererayo ku bwazo, n’eŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gw’entimbe omulala ku bwazo. 1836:18 nny 13Ne bakola ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ez’entimbe ezo ng’ekintu ekimu. 19Ne bakola ekibikka ku Weema mu maliba g’endiga ennume nga gannyikiddwa mu langi emyufu; okwo ne babikkako amaliba g’ente ey’omu nnyanja.

20Awo ne babajja embaawo mu muti gwa akasiya ne baziyimiriza ne zikola entobo ya Weema. 21Buli lubaawo lwali mita nnya n’ekitundu obuwanvu, ate ng’obugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu. 22Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obw’okukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ez’entobo ya Weema ya Mukama bwe baazikola bwe batyo. 23Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 24era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 25Ate ku ludda olw’obukiikakkono olw’Eweema ya Mukama ne bakolerayo embaawo amakumi abiri, 26n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo. 27Ne bakola embaawo mukaaga, ne baziteeka ku ludda olw’emabega wa Weema, lwe lw’ebugwanjuba; 28era ne bakola embaawo endala bbiri ne bazissa ku nsonda ez’oku ludda olwo olw’ebugwanjuba. 29Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza n’empeta. 30Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri.

31Ne bakola emikiikiro mu muti gwa akasiya. Emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 32n’emikiikiro etaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, n’emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 33Ne bassaayo omulabba nga guyita wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 34Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne bakola empeta eza zaabu ne bazisibisa emikiikiro; n’emikiikiro nagyo ne bagibikkako zaabu.

Eggigi Likolebwa

3536:35 Kuv 39:38; Mat 27:51; Luk 23:45; Beb 9:3Baakola eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi alangiddwa; era omukozi omukugu n’atungiramu bakerubi. 36Ne baliwanika n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezaabajjibwa mu muti gwa akasiya, nga zibikkiddwako zaabu, era nga zisimbiddwa mu ntobo eza ffeeza. 3736:37 Kuv 27:16Ne bakola olutimbe olw’omu mulyango gwa Weema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu alangiddwa obulungi. 38Ne balukolera empagi ttaano nga bazibazze mu muti gwa akasiya, ne baziteekako n’amalobo gaazo. Ne babikka zaabu kungulu ku mpagi ne ku bisiba byazo. Entobo zaazo ettaano ne bazikola mu kikomo.