出埃及记 37 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 37:1-29

约柜

1比撒列用皂荚木造了一个柜,长一点一米,宽六十六厘米,高六十六厘米。 2这柜子里外都包上纯金,还镶了一圈金边。 3他造了四个金环,安在柜的四个脚上,每边两个环, 4又用皂荚木造了两根横杠,外面包上金, 5然后把横杠穿过柜旁的金环,便于抬柜。 6他用纯金造施恩座,长一点一米,宽六十六厘米。 7又在施恩座的两端用金子打造两个基路伯天使, 8这两个基路伯天使跟施恩座连在一起, 9在施恩座的两端,面对面朝向施恩座,向上展开翅膀遮盖施恩座。

桌子

10他用皂荚木造了一张桌子,长八十八厘米,宽四十四厘米,高六十六厘米。 11整张桌子都包上纯金,四周镶上金边。 12在桌子四周造一个八厘米宽的外框,上面也镶上金边。 13他又造四个金环,安在桌子四角的桌腿上, 14金环靠近外框,以便穿横杠抬桌子。 15他用皂荚木造两根横杠,外面包金,用来抬桌子。 16又用纯金造桌子上的器具,就是盘、碟及献酒用的杯和瓶。

17他用纯金造了一座灯台,灯台的灯座、灯柱、油杯、花瓣和花苞都是用一块纯金打成的。 18灯台两边各伸出三个分枝,共有六个分枝。 19每个分枝都伸出三个杏花形状、有花瓣和花苞的油杯,六个分枝都是这样。 20灯台上有四个杏花形状、有花瓣和花苞的杯。 21灯台上每一对分枝的相连处有花苞,三对分枝都是这样。 22整座灯台,包括一切装饰,都是用一块纯金打成的。 23他又用纯金为这座灯台造了七个灯盏,以及灯剪和灯花盘。 24造整座灯台和灯台的器具共用了三十四公斤纯金。

造香坛

25他又用皂荚木造了一座方形的香坛,长宽各四十五厘米,高九十厘米,坛的四角与坛连成一体, 26坛顶、坛的四面和坛上的角状物包上纯金,四周镶上金边。 27他造了两个金环,安在坛两侧的金边下面, 28又用皂荚木造横杠,包上金,穿在两个环里,用来抬香坛。

29他又用调制香料的方法制作圣膏油和纯净芬芳的香。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 37:1-29

Essanduuko ey’Endagaano Ekolebwa

137:1 a Kuv 31:2 b Kuv 30:6; 39:35; Ma 10:3Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu. 237:2 nny 11, 26N’agibikkako zaabu omuka ennyo kungulu ne munda, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. 3N’agiweeseza empeta nnya eza zaabu, n’azisiba ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 4N’abajja emisituliro mu muti ogwa akasiya, n’agibikkako zaabu, 5n’agisonseka mu mpeta ziri okusituzanga essanduuko.

637:6 Kuv 26:34; 31:7; Beb 9:5N’akolerako ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo bwali mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 737:7 Ez 41:18N’akolerako ne bakerubi babiri mu zaabu omuweese ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. 8Kerubi omu yamuteeka ku ludda lumu olw’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ne kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga bakerubi bombi beekutte wamu n’ekisaanikirako, ye ntebe ey’okusaasira. 937:9 a Beb 9:5 b Ma 10:3Ebiwaawaatiro bya bakerubi yabikola nga bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikirizza ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. Bakerubi ne batunulagana nga boolekedde ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira.

Emmeeza Ekolebwa

1037:10 Beb 9:2N’akola n’emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, n’obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 1137:11 nny 2N’agibikkako zaabu omuka ennyo, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. 12N’agikolerako olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwebungulula olukugiro olwo. 13N’aweesa empeta nnya eza zaabu, n’azisiba mu nsonda ennya awali amagulu gaayo ana. 1437:14 nny 27Empeta ezo yazissa kumpi n’olukugiro ziyisibwemu emisituliro gy’emmeeza. 15N’akola emisituliro gy’emmeeza mu muti gwa akasiya, n’agibikkako zaabu. 16N’akola mu zaabu omuka, ebikozesebwa eby’okubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, n’ebijiiko byako, n’ebibya eby’okufukanga ebiweebwayo eby’okunywa.

Ekikondo ky’Ettaala

1737:17 Beb 9:2; Kub 1:12Yakola ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo n’enduli, n’ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 18Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 19Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna. 20Ku kikondo ky’ettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi gyabyo n’ebimuli byako. 21Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna. 2237:22 nny 17; Kbl 8:4Emitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.

2337:23 Kuv 40:4, 25Ekikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka. 24Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.

Ekyoto eky’Okwoterezangako Obubaane

2537:25 a Kuv 30:34-36; Luk 1:11; Beb 9:4; Kub 8:3 b Kuv 27:2; Kub 9:13Yakola ekyoto, mu miti gy’akasiya, okwoterezangako obubaane, nga kyenkanankana sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; n’obugulumivu bwa sentimita kyenda; n’amayembe gaakyo nga gali mu muti gumu nakyo. 26Ekyoto yakisiigako zaabu omuka kyonna, waggulu ne mu mbiriizi ne ku mayembe, n’akolerako omuge ogwa zaabu okukyebungulula. 2737:27 nny 14Wansi w’omuge mu mbiriizi z’ekyoto zombi, yakolerako empeta bbiri eza zaabu, okuyisangamu emisituliro gyakyo nga wabaddewo gye kitwalibwa. 2837:28 Kuv 25:13Emisituliro yagikola mu muti gwa akasiya, n’agisiigako zaabu.

2937:29 a Kuv 31:11 b Kuv 30:1, 25; 39:38N’atabula amafuta amatukuvu ag’okwawula, n’ateekateeka obubaane obulongosebbwa ennyo, ng’abutabudde bulungi ng’omukugu mu byakaloosa bwe yandikoze.