利未记 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 1:1-17

献燔祭的条例

1耶和华在会幕里呼唤摩西,对他说: 2“你把以下条例告诉以色列人。

“如果你们有人献祭给耶和华,要用牛羊作祭物。 3如果用牛作燔祭,必须用毫无残疾的公牛,在会幕门口献上,便可蒙耶和华悦纳。 4献祭者要把手放在牛头上,所献的燔祭便蒙悦纳,为他赎罪。 5他要在耶和华面前宰牛,然后祭司——亚伦的子孙要把牛血洒在会幕门口的祭坛四周。 6献祭者要剥掉牛皮,把牛切成块。 7祭司——亚伦的子孙要在祭坛上生火,把木柴摆在火上, 8然后将肉块、头颅和脂肪都摆在祭坛燃烧的木柴上。 9献祭者要用水洗净牛的内脏和腿。祭司要把这一切都放在坛上焚烧。这是燔祭,是蒙耶和华悦纳的馨香火祭。

10“如果用绵羊或山羊作燔祭,必须用毫无残疾的公羊。 11献祭者要在祭坛北面,在耶和华面前宰羊。祭司——亚伦的子孙要把羊血洒在祭坛四周。 12献祭者将羊切成块后,祭司要把肉块、头颅和脂肪摆在祭坛燃烧的木柴上。 13献祭者要用水洗净羊的内脏和腿。祭司要把这一切都放在坛上焚烧。这是燔祭,是蒙耶和华悦纳的馨香火祭。

14“如果有人用鸟作燔祭,要用斑鸠或雏鸽。 15祭司要把鸟带到祭坛前,拧下鸟头,放在祭坛上焚烧;要在祭坛旁放尽鸟血; 16要除掉鸟的嗉子和羽毛,丢在祭坛东边倒灰的地方。 17祭司要抓着两个翅膀把鸟撕开,但不可撕断,然后把鸟放在坛上焚烧。这是燔祭,是蒙耶和华悦纳的馨香火祭。

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 1:1-17

Etteeka ery’Ekiweebwayo Ekyokebwa

11:1 a Kuv 19:3; 25:22 b Kbl 7:89Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti, 21:2 Lv 22:18-19“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’

31:3 a Kuv 12:5; Ma 15:21; Beb 9:14; 1Pe 1:19 b Lv 17:9“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa1:3 ekiweebwayo ekyokebwa Ebika by’ensolo bisatu bye byaweebwangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okusinziira ku mbeera y’omuntu awaayo ssaddaaka: ente sseddume yaweebwangayo abantu abagagga; endiga n’embuzi (lunny 10) n’ebinyonyi (lunny 14) byaweebwangayo abantu abaavu (5:7; 12:8) nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama. 41:4 a Kuv 29:10, 15; Lv 3:2 b 2By 29:23-24Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye. 51:5 a Lv 3:2, 8 b Beb 12:24; 1Pe 1:2Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 61:6 Lv 7:8Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi. 71:7 Lv 6:12Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo. 81:8 nny 12Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 91:9 a Kuv 29:18 b nny 13; Lub 8:21; Kbl 15:8-10; Bef 5:2Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

101:10 nny 3; Kuv 12:5“Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo. 111:11 nny 5Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. 12Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 13Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

141:14 Lub 15:9; Lv 5:7; Luk 2:24“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 151:15 Lv 5:9Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 161:16 Lv 6:10Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 171:17 a Lub 15:10 b Lv 5:8Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.