出埃及记 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 1:1-22

以色列人受欺压

1以色列的众子带着家眷跟雅各1:1 雅各”就是“以色列”,上帝为雅各改名以色列,故事参考创世记32:28一起去了埃及,以下是他们的名字: 2吕便西缅利未犹大3以萨迦西布伦便雅悯4拿弗他利迦得亚设5雅各的子孙总共有七十人。那时,约瑟已经住在埃及6后来,约瑟和他的弟兄以及同辈的人都相继去世。 7以色列人生养众多,人口大增,很快就遍布埃及,成为一个强大的民族。 8那时,埃及有一位不认识约瑟的新王登基, 9对他的百姓说:“你们看,以色列人比我们多,又比我们强。 10来吧!我们要设法阻止他们人口增长,否则一遇到战争,他们便会加入我们敌人的阵营来攻打我们,然后一走了之。”

11于是,埃及人派监工强迫以色列人服劳役,在比东兰塞两地为法老兴建储货城。 12以色列人越受奴役,人口增长得越快,散居的范围也越广,令埃及人感到恐惧。 13于是,埃及人更残酷地奴役他们, 14强迫他们和泥造砖,并做田间一切的苦工,使他们痛苦不堪。 15埃及王又命令两个希伯来的接生婆施弗拉普阿16“你们在替希伯来妇女接生的时候,如果看到生下的是男婴,就把他杀掉;如果是女婴,就让她活下来。” 17但这两个接生婆敬畏上帝,没有执行王的命令,而是保留了男婴的性命。 18埃及王召见那两个接生婆,质问她们:“你们为什么这样做?为什么让男婴活着?” 19她们回答说:“因为希伯来妇女跟埃及妇女不同。她们身体强健,我们还没有赶到,婴儿就生下来了。” 20-21因此,以色列人口继续增加,更加繁盛。因为这两个接生婆敬畏上帝,上帝便赐福给她们,使她们生儿育女。 22后来,法老命令全埃及的人把以色列人生的所有男婴都抛进尼罗河里,只让女婴活着。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 1:1-22

Abayisirayiri Babonyaabonyezebwa

11:1 Lub 46:8Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye:

2Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,

3ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,

4ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.

51:5 Lub 46:26Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu1:5 ebiwandiiko ebimu bigamba nsanvu; kyokka ebiwandiiko ebyasangibwa mu Nnyanja ey’Omunnyo bigamba nsanvu mu bataano; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.

61:6 Lub 50:26Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa. 71:7 Lub 46:3; Ma 26:5; Bik 7:17Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.

8Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 91:9 Zab 105:24-25N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi. 101:10 a Zab 83:3 b Bik 7:17-19Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”

111:11 a Kuv 3:7 b Lub 15:13; Kuv 2:11; 5:4; 6:6-7 c Lub 47:11 d 1Bk 9:19; 2By 8:4Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya. 131:13 Ma 4:20Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe. 141:14 Kuv 2:23; 6:9; Kbl 20:15; Zab 81:6; Bik 7:19Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.

Falaawo Awa Abazaalisa Ekiragiro

15Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa1:15 Sifira ne Puwa baali abazaalisa Abaebbulaniya., n’abagamba nti, 16“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.” 171:17 a nny 21; Nge 16:6 b Dan 3:16-18; Bik 4:18-20; 5:29Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama. 18Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”

191:19 Yos 2:4-6; 2Sa 17:20Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”

201:20 nny 12; Nge 11:18; Is 3:10Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 211:21 1Sa 2:35; 2Sa 7:11, 27-29; 1Bk 11:38Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.

221:22 Bik 7:19Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”