创世记 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 1:1-31

上帝创造天地

1太初,上帝创造了天地。 2那时,大地空虚混沌,还没有成形,黑暗笼罩着深渊,上帝的灵运行在水面上。 3上帝说:“要有光!”就有了光。 4上帝看光是好的,就把光和暗分开, 5称光为昼,称暗为夜。晚上过去,早晨到来,这是第一天1:5 这是第一天”或译“这是一天”。6上帝说:“水与水之间要有穹苍,把水分开。” 7果然如此。上帝开辟了穹苍,用穹苍将水上下分开。 8上帝称穹苍为天空。晚上过去,早晨到来,这是第二天。

9上帝说:“天空下面的水要聚在一处,使干地露出来。”果然如此。 10上帝称干地为陆地,称水汇聚的地方为海洋。上帝看了,感到满意。 11上帝说:“陆地要长出植物——各类结种子的菜蔬和结果子的树木,果子内都有籽。”果然如此, 12陆地长出了植物——各类结种子的菜蔬和结果子的树木,果子内都有籽。上帝看了,感到满意。 13晚上过去,早晨到来,这是第三天。

14上帝说:“天空要有光体,以区分昼夜,作记号,定节令,计算年日, 15发光普照大地。”果然如此。 16上帝造了两个大光体,较大的管白昼,较小的管黑夜,又造了星辰。 17上帝把这些光体摆列在天空,让它们发光普照大地, 18管理昼夜,分开明暗。上帝看了,感到满意。 19晚上过去,早晨到来,这是第四天。

20上帝说:“水中要充满各种动物,空中要有禽鸟飞翔。” 21上帝就造了海中的大鱼等各类水族和各类禽鸟。上帝看了,感到满意。 22上帝赐福给这一切生物,说:“水族要生养繁殖,充满海洋,禽鸟也要在地上多多地繁殖。” 23晚上过去,早晨到来,这是第五天。 24上帝说:“大地要繁衍各类动物——各类的牲畜、爬虫和野兽。”果然如此。 25上帝造了各类的野兽、牲畜和爬虫。上帝看了,感到满意。

上帝照自己的形象造人

26上帝说:“我们要照着我们的形象,按着我们的样子造人,让他们管理海里的鱼、空中的鸟和地上的牲畜及一切爬虫。” 27上帝就照着自己的形象造了人,祂照着自己的形象造了男人和女人。 28上帝赐福给他们,对他们说:“你们要生养众多,遍布地面,治理大地,管理海里的鱼、空中的鸟以及地上的各种动物。” 29上帝对人说:“看啊,我把地上所有结种子的菜蔬和所有树上有籽的果子都赐给你们作食物。 30我把植物赐给所有地上的走兽、空中的飞鸟及地上的爬虫作食物。”果然如此。 31上帝看了,感到非常满意。晚上过去,早晨到来,这是第六天。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 1:1-31

Entandikwa

11:1 a Yk 1:1-2 b Yob 38:4; Zab 90:2; Is 42:5; 44:24; 45:12, 18; Bik 17:24; Beb 11:3; Kub 4:11Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. 21:2 a Yer 4:23 b Zab 104:30Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.

31:3 a Zab 33:6, 9; 148:5; Beb 11:3 b 2Ko 4:6*Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. 4Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. 51:5 Zab 74:16Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.

61:6 Yer 10:12Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.” 71:7 Yob 38:8-11, 16; Zab 148:4Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. 8Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.

91:9 Yob 38:8-11; Zab 104:6-9; Nge 8:29; Yer 5:22; 2Pe 3:5Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. 10Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

111:11 Zab 65:9-13; 104:14Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. 12Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 13Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.

141:14 a Zab 74:16 b Yer 10:2 c Zab 104:19Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. 15Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. 161:16 a Zab 136:8 b Zab 136:9 c Yob 38:7, 31-32; Zab 8:3; Is 40:26Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. 17Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi, 181:18 Yer 33:20, 25enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. 19Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.

20Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” 211:21 Zab 104:25-26Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 221:22 nny 28; Lub 8:17Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” 23Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.

24Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. 251:25 Yer 27:5Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.

261:26 a Zab 100:3 b Lub 9:6; Yak 3:9 c Zab 8:6-8Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”

271:27 a 1Ko 11:7 b Lub 5:2; Mat 19:4*; Mak 10:6*Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,

mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;

n’abatonda omusajja n’omukazi.

281:28 Lub 9:1, 7; Lv 26:9Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”

291:29 Zab 104:14Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. 301:30 Zab 104:14, 27; 145:15Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.

311:31 a Zab 104:24 b 1Ti 4:4Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.