启示录 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 1:1-20

1以下是上帝赐给耶稣基督的启示,让祂把将来要发生的事指示祂的众奴仆。因此,祂差遣天使告诉祂的奴仆约翰2约翰便为自己所看见的一切——上帝的道和耶稣基督做见证。 3那位宣读这预言的人和那些听见并遵守其中内容的人有福了,因为日期近了。

问候七教会

4-5约翰写信给你们亚细亚的七间教会。愿昔在、今在、以后永在的上帝,祂宝座前的七灵1:4-5 七灵”指的就是圣灵,数字七代表完全,不是说有七个灵。和耶稣基督赐给你们恩典和平安。耶稣基督是忠心的见证人,是首先从死里复活的,是世上君王的首领。祂爱我们,用自己的血救我们脱离罪恶, 6使我们成为祭司的国度1:6 成为祭司的国度”或译“成为国度,做祭司”。来事奉祂的父上帝。愿祂得到一切荣耀和权柄,一直到永永远远。阿们!

7看啊!祂要驾云降临,世人都要看见祂,包括曾经刺祂的人。地上的万族都必因祂而哀哭。这事必定实现。阿们!

8主上帝说:“我是阿拉法,我是俄梅加1:8 阿拉法”和“俄梅加”分别是希腊文第一个和最后一个字母,故此句意即“我是始,我是终”。,我是昔在、今在、以后永在的全能者。”

基督的显现

9约翰是你们的弟兄,在耶稣里和你们患难与共、同享国度、一起忍耐。我因传扬上帝的道、为主耶稣做见证而到了拔摩海岛上。 10主日,我被圣灵感动,听见身后有号角般响亮的声音说: 11“把你所看见的写在书上,然后送给以弗所士每拿别迦摩推雅推喇撒狄非拉铁非老底嘉七间教会。”

12我转身看究竟是谁在对我说话,我看见七个金灯台, 13有一位好像人子耶稣的站在这些灯台中间。祂长袍垂脚,金带围胸, 14头与发白如羊毛、洁白如雪,眼睛像火焰, 15双脚像炉中冶炼过的铜一样光亮,声音如同洪涛之声。 16祂右手拿着七颗星,口中吐出一把两刃的利剑,面貌如烈日放光。

17我一看见祂,便扑倒在祂脚前,像死了一样。祂把右手按在我身上,说:“不要害怕!我是首先的,我是末后的, 18我是永活者。我曾经死过,但看啊,我永永远远活着。我掌握死亡和阴间的钥匙。 19所以,你要将所看见的一切——现在和将来要发生的事都记录下来。 20你所看见在我右手中的七颗星和七个金灯台的奥秘是,七颗星代表七间教会的天使1:20 天使”或译“信使”或“使者”,下同,可能指教会的守护天使,或者是教会的领袖。,七个灯台代表七间教会。

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 1:1-20

Ennyanjula

11:1 Kub 22:16Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana 21:2 1Ko 1:6; Kub 12:17eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. 31:3 Luk 11:28Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigamb MAT – Mathayo o by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.

Okulamusa n’Okutendereza Mukama

41:4 Kub 3:1; 4:5Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.

Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,1:4 Amakanisa omusanvu gaali geeyawudde kilomita amakumi ataano nga gali mu ngeri ya nnekulungo, okuva ku Efeso okutuuka ku Lawodikiya, ekiri mu buvanjuba bwa Efeso. Ekitabo kyonna ekya kubikkulirwa kyaweerezebwa mu buli kkanisa 51:5 a Kub 3:14 b Bak 1:18 c Kub 17:14era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 61:6 a 1Pe 2:5 b Bar 11:36n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.

71:7 a Dan 7:13 b Zek 12:10Laba, ajja n’ebire,

na buli liiso lirimulaba,

n’abaamufumita balimulaba,

era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.

Weewaawo. Amiina!

81:8 a Kub 21:6 b Kub 4:8“Nze Alufa ne Omega,”1:8 Alufa ne Omega ze nnukuta ez’Oluyonaani. Alufa y’esooka, Omega n’esembayo. Katonda ye ntandikwa era ye nkomerero bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu

91:9 a Baf 4:14 b 2Ti 2:12Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 101:10 a Kub 4:2 b Kub 4:1Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,1:10 Olunaku lwa Mukama waffe: kye kikozesebwa okutegeeza olunaku olusooka olwa wiiki, era lujjukirwa nga lwe lunaku Yesu lwe yazuukirirako mu bafu. Lwe lunaku Abakristaayo kwe baakuŋŋaaniranga ne basolooza ebirabo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 111:11 a nny 4, 20 b Kub 3:1nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.”

121:12 Kuv 25:31-40Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 131:13 a Ez 1:26; Dan 7:13 b Dan 10:5; Kub 15:6Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 141:14 Dan 7:9; 10:6Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 151:15 a Dan 10:6 b Ez 43:2Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 161:16 a Kub 2:1; 3:1 b Is 49:2Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri1:16 Ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri ekyogerwako wano, kyali kiwanvu nga kifaanana ekitala kya Sirasiya mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

171:17 a Ez 1:28; Dan 8:17, 18 b Is 41:4; 44:6Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, 181:18 a Bar 6:9 b Kub 4:9, 10 c Kub 20:1era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe.

19“Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo. 201:20 a Zek 4:2 b nny 4, 11 c Mat 5:14, 15Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”