犹大书 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

犹大书 1:1-25

1我是耶稣基督的奴仆、雅各的兄弟犹大,现在写信给蒙父上帝呼召、眷爱、被耶稣基督看顾的人。

2愿上帝丰丰富富地赐给你们怜悯、平安和慈爱!

捍卫真道

3亲爱的弟兄姊妹,我一直迫切地想写信跟你们谈谈我们所共享的救恩,但现在我觉得有必要写信劝勉你们竭力护卫一次就完整地交给圣徒的真道。 4因为有些不敬虔的人偷偷地混进你们中间,以上帝的恩典作借口,放纵情欲,否认独一的主宰——我们的主耶稣基督。圣经上早已记载,这样的人必受到审判。

前车之鉴

5以下的事情,你们虽然都知道,但我还要再提醒你们:从前上帝1:5 上帝”有些抄本作“主”。把祂的子民从埃及救出来,后来把其中不信的人灭绝了。 6至于不守本分、擅离岗位的天使,上帝也用锁链将他们永远囚禁在幽暗里,等候最后审判的大日子到来。 7此外,所多玛蛾摩拉及其附近城镇的人同样因为荒淫无度、沉溺于变态的情欲而遭到永火的刑罚。这些事都成为我们的警戒。

假教师的恶行

8同样,这些做梦的人玷污自己的身体,不服权柄,亵渎有尊荣的。 9当天使长米迦勒摩西的尸体跟魔鬼争辩的时候,尚且不敢用毁谤的话谴责它,只说:“愿主责罚你!” 10这些人却毁谤自己不明白的事,像没有理性的野兽一样凭本能行事,结果自取灭亡。 11他们大祸临头了!他们步了该隐的后尘,为谋利而重蹈巴兰的谬误,又像可拉一样因叛逆而灭亡。 12这些人在你们的爱宴中是败类1:12 败类”希腊文是“暗礁”或“污点”的意思。。他们肆无忌惮地吃喝,是只顾喂养自己的牧人;是没有雨的云,随风飘荡;是深秋不结果子的树,被连根拔起,彻底枯死。 13他们是海中的狂涛,翻动着自己可耻的泡沫,是流荡的星星,有幽幽黑暗永远留给他们。

14亚当的第七代子孙以诺曾经针对这些人说预言:“看啊!主率领祂千万的圣者一同降临, 15要审判所有的人,按不虔不敬的罪人所行的恶事和他们亵渎上帝的话定他们的罪。” 16这些人满腹牢骚,怨天尤人,放纵自己的邪情私欲。他们口出狂言,为了谋利而阿谀奉承他人。

牢记警告

17亲爱的弟兄姊妹,要谨记主耶稣基督的使徒从前给你们的警告。 18他们曾对你们说:“末世的时候,必定有不敬虔、好讥笑的人放纵自己的邪情私欲。” 19这些人制造分裂,血气用事,心中没有圣灵。

20亲爱的弟兄姊妹,你们要在至圣的真道上造就自己,在圣灵的引导下祷告, 21常在上帝的爱中,等候我们主耶稣基督施怜悯赐给你们永生。

22那些心存疑惑的人,你们要怜悯他们; 23有些人,你们要将他们从火中抢救出来;还有些人,你们要怀着畏惧的心怜悯他们,甚至要厌恶被他们的邪情私欲玷污的衣服。

祝颂

24愿荣耀归给我们的救主——独一的上帝!祂能保守你们不失足犯罪,使你们无瑕无疵、欢欢喜喜地站在祂的荣耀面前。 25愿荣耀、威严、能力和权柄借着我们的主耶稣基督都归给祂,从万世以前直到现今,一直到永永远远。阿们!

Luganda Contemporary Bible

Yuda 1:1-25

11 a Mat 13:55; Bik 1:13 b Bar 1:6, 7 c Yk 17:12Nze, Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira abaagalwa bonna abaayitibwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumibwa Yesu Kristo.

22 2Pe 1:2Ekisa kya Katonda, n’emirembe, n’okwagala byeyongerenga mu mmwe.

Abayigiriza ab’Obulimba

33 a Tit 1:4 b 1Ti 6:12Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwe ntyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. 44 a Bag 2:4 b Tit 1:16; 2Pe 2:1Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.

55 Kbl 14:29; Zab 106:26Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza, 66 2Pe 2:4, 9ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. 77 a Ma 29:23 b 2Pe 2:6Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.

Okukozesa Olulimi Oluvvoola

88 2Pe 2:10Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika. 99 a Dan 10:13, 21 b Zek 3:2Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!” 1010 2Pe 2:12Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.

1111 a Lub 4:3-8; 1Yk 3:12 b 2Pe 2:15 c Kbl 16:1-3, 31-35Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.

1212 a 2Pe 2:13; 1Ko 11:20-22 b Nge 25:14; 2Pe 2:17 c Bef 4:14 d Mat 15:13Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira; 1313 a Is 57:20 b Baf 3:19 c 2Pe 2:17oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera.

1414 a Lub 5:18, 21-24 b Ma 33:2; Dan 7:10Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo. 1515 a 2Pe 2:6-9 b 1Ti 1:9Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.” 1616 2Pe 2:18Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.

Okugumiikiriza

1717 2Pe 3:2Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 1818 a 1Ti 4:1 b 2Pe 2:1bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 1919 1Ko 2:14, 15Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.

2020 a Bak 2:7 b Bef 6:18Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 2121 Tit 2:13; 2Pe 3:12nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.

22Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, 2323 a Am 4:11; Zek 3:2-5 b Kub 3:4n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.

Okusaba okw’Okutendereza

2424 a Bar 16:25 b 2Ko 4:14 c Bak 1:22Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu; 2525 a Yk 5:44; 1Ti 1:17 b Beb 13:8 c Bar 11:36Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.