Daily Manna for Thursday, June 10, 2021

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Ebikolwa byʼAbatume 3:19-23

3:19 Bik 2:38Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 3:21 a Bik 1:11 b Mat 17:11 c Luk 1:70eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 3:22 Ma 18:15, 18Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 3:23 Ma 18:19Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’