Daily Manna for Wednesday, February 12, 2020

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

1 Ebyomumirembe 16:23-31

Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
    mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
    n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
    era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
    naye Mukama ye yakola eggulu.
Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
    amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
    Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;
    musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
Mukankane mu maaso ge ensi yonna,
    weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
    boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”