John 20 – NIV & LCB

New International Version

John 20:1-31

The Empty Tomb

1Early on the first day of the week, while it was still dark, Mary Magdalene went to the tomb and saw that the stone had been removed from the entrance. 2So she came running to Simon Peter and the other disciple, the one Jesus loved, and said, “They have taken the Lord out of the tomb, and we don’t know where they have put him!”

3So Peter and the other disciple started for the tomb. 4Both were running, but the other disciple outran Peter and reached the tomb first. 5He bent over and looked in at the strips of linen lying there but did not go in. 6Then Simon Peter came along behind him and went straight into the tomb. He saw the strips of linen lying there, 7as well as the cloth that had been wrapped around Jesus’ head. The cloth was still lying in its place, separate from the linen. 8Finally the other disciple, who had reached the tomb first, also went inside. He saw and believed. 9(They still did not understand from Scripture that Jesus had to rise from the dead.) 10Then the disciples went back to where they were staying.

Jesus Appears to Mary Magdalene

11Now Mary stood outside the tomb crying. As she wept, she bent over to look into the tomb 12and saw two angels in white, seated where Jesus’ body had been, one at the head and the other at the foot.

13They asked her, “Woman, why are you crying?”

“They have taken my Lord away,” she said, “and I don’t know where they have put him.” 14At this, she turned around and saw Jesus standing there, but she did not realize that it was Jesus.

15He asked her, “Woman, why are you crying? Who is it you are looking for?”

Thinking he was the gardener, she said, “Sir, if you have carried him away, tell me where you have put him, and I will get him.”

16Jesus said to her, “Mary.”

She turned toward him and cried out in Aramaic, “Rabboni!” (which means “Teacher”).

17Jesus said, “Do not hold on to me, for I have not yet ascended to the Father. Go instead to my brothers and tell them, ‘I am ascending to my Father and your Father, to my God and your God.’ ”

18Mary Magdalene went to the disciples with the news: “I have seen the Lord!” And she told them that he had said these things to her.

Jesus Appears to His Disciples

19On the evening of that first day of the week, when the disciples were together, with the doors locked for fear of the Jewish leaders, Jesus came and stood among them and said, “Peace be with you!” 20After he said this, he showed them his hands and side. The disciples were overjoyed when they saw the Lord.

21Again Jesus said, “Peace be with you! As the Father has sent me, I am sending you.” 22And with that he breathed on them and said, “Receive the Holy Spirit. 23If you forgive anyone’s sins, their sins are forgiven; if you do not forgive them, they are not forgiven.”

Jesus Appears to Thomas

24Now Thomas (also known as Didymus20:24 Thomas (Aramaic) and Didymus (Greek) both mean twin.), one of the Twelve, was not with the disciples when Jesus came. 25So the other disciples told him, “We have seen the Lord!”

But he said to them, “Unless I see the nail marks in his hands and put my finger where the nails were, and put my hand into his side, I will not believe.”

26A week later his disciples were in the house again, and Thomas was with them. Though the doors were locked, Jesus came and stood among them and said, “Peace be with you!” 27Then he said to Thomas, “Put your finger here; see my hands. Reach out your hand and put it into my side. Stop doubting and believe.”

28Thomas said to him, “My Lord and my God!”

29Then Jesus told him, “Because you have seen me, you have believed; blessed are those who have not seen and yet have believed.”

The Purpose of John’s Gospel

30Jesus performed many other signs in the presence of his disciples, which are not recorded in this book. 31But these are written that you may believe20:31 Or may continue to believe that Jesus is the Messiah, the Son of God, and that by believing you may have life in his name.

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 20:1-31

Okuzuukira kwa Yesu

1Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana. 2N’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo n’abagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”

3Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. 4Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana. 5N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana. 6Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo. 7N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali. 8N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza. 9Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu. 10Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.

Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene

11Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba, 12n’alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.

13Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?”

N’abaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!” 14Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.

15Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?”

Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, “Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”

16Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!”

Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.”

17Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”

18Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be

19Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 20Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

21N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” 22Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu. 23Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”

Yesu Alabikira Tomasi

24Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 25Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”

Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

26Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 27Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

29Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”

30Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. 31Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.