Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango
13:1 Yer 16:15“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
23:2 Ez 36:5Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,
ne mbasalira omusango
olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.
Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,
ne bagabana ensi yange.
33:3 Am 2:6Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,
n’abawala ne babatundamu omwenge
ne beenywera.
43:4 a Mat 11:21 b Is 34:8“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. 53:5 2By 21:16-17Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. 6Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.
73:7 Is 43:5-6; Yer 23:8“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. 83:8 a Is 60:14 b Is 14:2Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.
Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga
93:9 a Is 8:9 b Yer 46:4Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
103:10 a Is 2:4; Mi 4:3 b Zek 12:8Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
“Ndi wa maanyi.”
113:11 a Ez 38:15-16; Zef 3:8 b Is 13:3Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
123:12 Is 2:4“Amawanga geeteeketeeke
gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
133:13 a Kos 6:11; Mat 13:39; Kub 14:15-19 b Kub 14:20Kozesa oluwabyo lwo,
kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
ekibi kyabwe kinene nnyo.”
143:14 Is 34:2-8; Yo 1:15Abantu bukadde na bukadde
abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
n’emmunyeenye tezikyayaka.
163:16 a Am 1:2 b Ez 38:19 c Yer 16:19Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
173:17 a Yo 2:27 b Is 4:3“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
183:18 a Kuv 3:8 b Is 30:25; 35:6 c Kub 22:1-2 d Ez 47:1; Am 9:13“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
n’obusozi bulikulukusa amata,
n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
193:19 Ob 10Misiri erifuuka amatongo
n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
ensi mwe battira abantu abatalina musango.
203:20 Am 9:15Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
213:21 Ez 36:25Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”