Obusungu bwa Yona n’Ekisa Kya Katonda
14:1 nny 4; Luk 15:28Naye Yona n’anyiiga nnyo. 24:2 a Yer 20:7-8 b Kuv 34:6; Zab 86:5, 15 c Yo 2:13N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano. 34:3 a 1Bk 19:4 b Yob 7:15Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
44:4 Mat 20:11-15Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga. 6Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo. 74:7 Yo 1:12Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa. 8Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?”
Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera. 114:11 a Yon 3:10 b Yon 1:2; 3:2Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”