Okujeema kw’Omuntu
13:1 2Ko 11:3; Kub 12:9; 20:2Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”
2Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro, 3kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ”
43:4 Yk 8:44; 2Ko 11:3Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. 53:5 Is 14:14; Ez 28:2Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.”
63:6 a Yak 1:14-15; 1Yk 2:16 b 1Ti 2:14Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. 7Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala.
83:8 a Ma 23:14 b Yob 31:33; Zab 139:7-12; Yer 23:24Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. 9Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”
10N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”
11N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
12Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”
133:13 2Ko 11:3; 1Ti 2:14Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?”
Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”
143:14 a Ma 28:15-20 b Is 65:25; Mi 7:17Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino
okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka
n’ez’omu nsiko,
oneekululiranga ku lubuto lwo
era onoolyanga nfuufu
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
153:15 a Yk 8:44; Bik 13:10; 1Yk 3:8 b Is 7:14; Mat 1:23; Kub 12:17 c Bar 16:20; Beb 2:14Nteeka obulabe
wakati wo n’omukazi,
ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;
ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,
naawe onoolibojjanga ekisinziiro.
163:16 1Ko 11:3; Bef 5:22N’agamba omukazi nti,
“Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto,
onoozaaliranga mu bulumi;
musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga
kyokka anaakufuganga.”
173:17 a Lub 5:29; Bar 8:20-22 b Yob 5:7; 14:1; Mub 2:23N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,
“ensi ekolimiddwa ku lulwo;
mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
183:18 Zab 104:14Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu,
onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro.
193:19 a 2Bs 3:10 b Lub 2:7; Zab 90:3; 104:29; Mub 12:7Mu ntuuyo zo
mw’onoggyanga ekyokulya,
okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,
kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
20Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna.
21Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. 223:22 Kub 22:14Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” 233:23 a Lub 2:8 b Lub 4:2Bw’atyo Mukama Katonda n’agoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 243:24 a Kuv 25:18-22 b Zab 104:4 c Lub 2:9Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.