1Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
2Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. 3Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
Adamu ne Kaawa
4Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
5Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. 6Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. 7Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. 8Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. 9Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
10Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. 11Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; 12ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. 13Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.2:13 Kuusi, mu Ndagaano Enkadde, ly’erinnya ly’ekifo mu Lwebbulaniya eky’e Sudaani oba Buwesiyopya. Omugga ye Kiyira. 14N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
15Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. 16Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, 17naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
18Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” 19Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. 20Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya.
Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. 21Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. 22Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
23Omusajja n’agamba nti,
“Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,
ye nnyama ey’omu nnyama yange,
anaayitibwanga mukazi;
kubanga aggyibbwa mu musajja.”
24Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
1På den måde blev himlen og jorden og alt liv skabt. 2Skaberværket var nu fuldført, og Gud hvilede på den syvende dag. 3Han velsignede den og indviede den til hviledag.
Hvordan Gud skaber de to første mennesker
4Da Gud skabte verden, 5var der først ingen grønne planter eller buske på jorden, for han havde endnu ikke ladet det regne. Der var heller ingen mennesker til at dyrke jorden. 6Men der vældede vand frem af jorden og vandede dens overflade.
7Så formede Gud et menneske af jorden og blæste livsånde i dets næsebor, så det blev et levende væsen. 8Gud havde plantet en have i Eden mod øst, og dér anbragte han nu det menneske, som han havde skabt. 9Gud havde plantet alle slags smukke træer i haven, træer med en mængde frugt. Midt i haven stod livets træ og træet, der giver kendskab til både godt og ondt. 10I Eden udsprang en flod, som vandede haven. Uden for haven delte den sig i fire mindre floder. 11Den første flod hedder Pishon. Den bugter sig omkring landet Havila, hvor der findes guld 12af fin kvalitet samt bedellium2,12 Betydningen omstridt. Enten en perle eller en slags ædelsten eller en velduftende og kostbar salve fremstillet af saften fra et bestemt træ. og ædelsten. 13Den anden flod kaldes Gihon. Den løber gennem landet Kush. 14Den tredje flod kaldes Tigris. Den løber langs med Assyriens østgrænse. Den fjerde flod kaldes Eufrat.
15Gud satte mennesket, Adam, i Edens have, for at han skulle passe den, 16-17og han sagde til ham: „Du må spise frugten fra alle træerne i haven undtagen det træ, som giver kendskab til både godt og ondt. Hvis du spiser af den frugt, skal du dø.”
18Derpå sagde Gud: „Det er ikke godt for Adam at være alene. Jeg vil give ham en livsledsager,2,18 Mere ordret: „en hjælper, der passer til ham.” Også i v. 20. der passer til ham.” 19Gud havde af jorden formet alle slags dyr og fugle. Dem førte han nu hen til Adam for at se, hvad han ville kalde dem; og hvad Adam kaldte dem, blev deres navn. 20Adam navngav alle fuglene og de vilde og tamme dyr, men han fandt ikke nogen passende ledsager iblandt dem. 21Derfor lod Gud Adam falde i en dyb søvn. Mens han sov, tog Gud et af hans ribben og lukkede stedet til igen med kød. 22Af ribbenet byggede han en kvinde og førte hende hen til Adam.
23„Ja!” udbrød Adam. „Det er knogler af mine knogler og kød af mit kød! Hun skal hedde kvinde, for hun er taget ud af manden.2,23 På hebraisk er ordet for „kvinde” (isha) afledt af ordet for „mand” (ish).” 24Derfor skal en mand forlade sin far og mor og knytte sig nært til sin kone, og de to skal blive ét.
25Adam og hans kone var begge nøgne, men de skammede sig ikke over deres nøgenhed.