Ezeekyeri 40 – LCB & HOF

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 40:1-49

Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu

1Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo. 2Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga. 3N’antwala eyo, ne ndaba omusajja, ng’alabika ng’ayakolebwa mu kikomo, ng’ayimiridde mu mulyango ng’akutte omuguwa ogwa linena n’oluti olupima. 4Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”

Omulyango ogw’Ebuvanjuba okutuuka mu Luggya Olwa wabweru

5Ne ndaba bbugwe okwetooloola ekifo kya yeekaalu. Obuwanvu bw’oluti olupima olwali mu mukono gw’omusajja lwali emikono mukaaga, nga mita ssatu. Buli mukono gwali nga kitundu kya mita. N’apima bbugwe ng’omubiri gwayo mita ssatu, n’obugulumivu bwayo mita ssatu.

6Oluvannyuma n’alaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, n’alinnya amadaala n’apima omuziziko ogusooka ogw’omu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu. 7N’obusenge obw’abakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, n’obugazi mita ssatu, ng’ebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo n’omuziziko ogwokubiri. N’omuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso g’omuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu.

8Awo n’apima ekisasi eky’oku mulyango 9nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda y’ekisasi, n’omubiri ogw’empagi ezo gwali mita emu. Ekisasi eky’oku mulyango kyayolekera yeekaalu.

10Munda mu mulyango ogw’Ebuvanjuba mwalimu obusenge obw’abakuumi busatu ku njuyi zombi, bw’onsatule nga bwenkanankana obunene, nga n’ebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene. 11N’apima obugazi obw’awayingirirwa mu mulyango nga buli mita ttaano n’obugulumivu bwawo nga buli mita mukaaga n’ekitundu. 12Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, n’obusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi. 13N’oluvannyuma n’apima obugazi bw’akasolya ak’ekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko y’empagi okutuuka ku y’empagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 14Waaliwo embu bbiri ez’obusenge. N’apima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo. N’oluvannyuma n’apima n’ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo olulala, wonna awamu n’afuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi. 15N’okuva ku bwenyi bw’omulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano. 16Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate n’ekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali ag’obusenge obw’abakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi eby’enkindu.

Oluggya olw’Ebweru

17Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu. 18Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bw’olubalaza lwali lwenkanankana n’obuwanvu bw’omulyango, era ng’olubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi. 19N’oluvannyuma n’apima ekibangirizi okuva omulyango ogw’Ebuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru ow’oluggya olw’omunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo n’omulyango ogw’Obukiikakkono. N’ekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru w’oluggya olw’omunda nakyo kyali mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikakkono

20Awo n’apima obuwanvu n’obugazi obw’omulyango ogw’Obukiikakkono ogufuluma mu luggya olw’ebweru. 21Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 22Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo. 23Waaliwo omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogw’oluggya olw’omunda okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikaddyo

24Awo n’ankulembera n’antwala ku luuyi olw’Obukiikaddyo ne ndaba omulyango ogw’Obukiikaddyo, n’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, ng’ebigera byabyo byenkanankana n’ebirala. 25Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ng’amabanga ag’ebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ng’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 26Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko n’ebifaananyi eby’enkindu ebyayolebwa eruuyi n’eruuyi ku bisenge byagwo. 27Waaliwo n’omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikaddyo. N’apima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano.

Emiryango egy’Oluggya olw’Omunda

28Awo n’antwala mu luggya olw’omunda nga tuyita mu mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda, n’apima, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala gyonna. 29Obusenge bwagwo obw’abakuumi, n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 30Ebisasi eby’emiryango ebyetoolodde oluggya olw’omunda buli kimu kyali obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugulumivu mita bbiri n’ekitundu. 31Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda.

32Oluvannyuma n’antwala mu luggya olw’omunda ku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda, n’apima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala. 33Obusenge bwagwo n’amabanga gaagwo n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 34Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda.

35N’antwala ku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda n’alupima ng’ebipimo bye bimu ng’emiryango emirala. 36Obusenge bwagwo obw’abakuumi n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 37Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda.

Ebisenge gye Bategekera Ssaddaaka

38Waaliwo ekisenge n’oluggi lwakyo ekyaliraana ekisasi ku buli mulyango ogw’oluggya olw’omunda. Omwo ebiweebwayo ebyokebwa mwe byayozebwanga. 39Mu kisasi eky’emiryango mwalimu emmeeza bbiri oluuyi olumu n’endala bbiri oluuyi olulala kwe battiranga ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo olw’omusango. 40Era ebweru w’ekisasi ku mulyango, okumpi n’amadaala awayingirirwa ku mulyango oguli mu bukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri ne ku luuyi olulala olw’amadaala waliwo emmeza bbiri. 41Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw’omunda, n’emmeeza endala nnya ku luuyi olulala ng’oyimiridde mu mulyango, awamu z’emmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka. 42Era waaliwo n’emmeeza endala nnya ez’amayinja amateme ez’ebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita n’obugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo ebirala. 43Era waaliwo n’ewuuma ez’engalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama ey’ebiweebwayo.

Ebisenge bya Bakabona

44Mu luggya olw’omunda waaliyo ebisenge bibiri eby’abayimbi, ekimu ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, n’ekirala ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono. 45N’aŋŋamba nti, “Ekisenge ekyolekera Obukiikaddyo, kya bakabona abavunaanyizibwa yeekaalu, 46n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”

47N’apima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, n’ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.

Eyeekaalu

48N’antwala ku kisasi kya yeekaalu n’apima empagi ez’ekisasi ezaali eruuyi n’eruuyi olw’ekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri n’ekitundu ku luuyi olw’ebweru ate ng’empagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olw’omunda olw’empagi emu lwapima mita emu n’ekitundu, n’oluuyi olw’omunda olw’empagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu n’ekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu. 49Obugazi bw’omulyango ng’otaddeko n’empagi ez’enjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano n’ekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo n’empagi endala bbiri eruuyi n’eruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi.

Hoffnung für Alle

Hesekiel 40:1-49

Ein neuer Tempel

(Kapitel 40–48)

Die Vision vom zukünftigen Tempel

1Im 25. Jahr der Verbannung unseres Volkes, und zwar genau am 10. Tag des Neujahrsmonats, vierzehn Jahre nach der Zerstörung Jerusalems, wurde ich wieder vom Herrn ergriffen. 2In einer Vision führte er mich in das Land Israel und setzte mich auf einem hohen Berg nieder. Auf seiner Südseite entdeckte ich etliche Bauten, die wie eine Stadt aussahen. 3Der Herr brachte mich zum Eingangstor, und dort stand ein Mann, dessen Körper wie Bronze schimmerte. In der Hand hielt er eine Schnur aus Leinen und eine Messlatte. 4Er sagte zu mir: »Du Mensch, hör mir gut zu und sieh dir genau an, was ich dir zeigen werde. Achte auf alles, denn du bist hierhergebracht worden, damit ich es dir offenbare. Was du siehst, sollst du dem Volk Israel berichten!«

Das Osttor des Tempelbezirks

5Ich sah eine Mauer, die rings um den Tempelbezirk führte. Der Mann maß die Mauer aus; sie war genau eine Messlatte dick und ebenso hoch. Die Messlatte hatte eine Länge von gut 3 Metern40,5 Wörtlich: von 6 Ellen, jede Elle so lang wie eine gewöhnliche Elle und eine Handbreit. – Die Großelle war etwa 52 Zentimeter lang, die Messlatte entsprechend etwa 3,12 Meter. Die Maße werden im Folgenden gerundet angegeben, weil im Text das Verhältnis der einzelnen Maßangaben zueinander im Vordergrund steht..

6Dann stieg der Mann die Stufen zum Osttor hinauf und maß die vordere Schwelle des Tores aus; sie war etwas mehr als 3 Meter tief.

7-10Innen hatte das Torgebäude auf beiden Seiten drei Kammern. Jede war gut 3 Meter lang und ebenso breit. Die Mauern zwischen den Kammern waren 2,5 Meter dick.

Die hintere Torschwelle war – wie die vordere – etwas mehr als 3 Meter tief. Sie ging in eine Vorhalle über, die 4 Meter lang war. Die Mauerstücke rechts und links an ihrem Ausgang waren beide 1 Meter dick.

11-12Die sechs Kammern im Torgewölbe waren zum Torinneren hin durch eine Mauer von 0,5 Metern Höhe abgegrenzt.

Als Nächstes maß der Mann die Breite der Toröffnung. Sie betrug 6,5 Meter und innerhalb der Torangeln 5 Meter. 13Dann maß er die volle Breite des gesamten Torgebäudes, vom Dachansatz einer Kammer bis zum Dachansatz der ihr gegenüberliegenden. Es waren 12,5 Meter.

14Die Vorhalle war 10 Meter breit. Durch sie gelangte man in den äußeren Tempelvorhof.40,14 So in Anlehnung an die griechische Übersetzung. Der hebräische Text ist nicht sicher zu deuten. 15Das ganze Torgebäude war von der vordersten Toröffnung bis zur Ausgangstür der Vorhalle 25 Meter lang.

16Die Kammern besaßen vergitterte Fenster an den Außen- und Innenwänden, und auch die Vorhalle hatte rundherum Fenster. Die Mauerstücke am Torausgang waren mit Palmwedeln verziert.

Der äußere Tempelvorhof

17-18Dann führte der Mann mich in den äußeren Vorhof. Dieser war entlang der Mauer mit Pflastersteinen ausgelegt. Das Pflaster reichte von der Innenseite der Mauer so weit in den Hof hinein, dass es mit dem Ausgang des Tores abschloss. Es lag tiefer als der restliche Boden des Vorhofs. Auf dem Pflaster waren ringsum dreißig Kammern angeordnet.

19Als Nächstes maß der Mann den Abstand zwischen dem Osttor – durch das wir in den äußeren Vorhof gekommen waren – und dem höher gelegenen Tor des inneren Vorhofs. Sie lagen sich genau gegenüber. Der Abstand betrug 50 Meter. Danach gingen wir zur Nordseite der äußeren Tempelmauer.

Das Nordtor

20Auch dort gab es ein Tor, das in den äußeren Vorhof führte. Der Mann maß seine Länge und Breite.

21Im Torgebäude befanden sich ebenfalls auf jeder Seite drei Kammern, die genauso groß waren wie die des Osttors. Auch die Vorhalle und das Mauerwerk an ihrem Ausgang hatten die gleichen Maße.

Insgesamt war das Torgebäude 25 Meter lang und 12,5 Meter breit. 22Vorhalle, Fenster und Palmwedel sahen genauso aus wie die des ersten Tores. Auf sieben Stufen stieg man zu ihm hinauf. Auch beim Nordtor führte die Vorhalle in den äußeren Vorhof.

23Wie beim Osttor befand sich genau gegenüber ein höher gelegenes Tor, durch das man in den inneren Vorhof gelangte. Der Mann maß den Abstand zwischen beiden, und es waren auch hier 50 Meter.

Das Südtor

24Danach führte er mich an die Südmauer des äußeren Vorhofs. Dort gab es ebenfalls ein Tor. Seine Vorhalle und das Mauerwerk an ihrem Ausgang hatten die gleichen Maße wie die der anderen Tore. 25Auch die Fenster im Torgebäude und in der Vorhalle entsprachen den vorigen Fenstern. Insgesamt war der Bau 25 Meter lang und 12,5 Meter breit. 26Sieben Stufen führten zu ihm hinauf, und die Vorhalle lag zum äußeren Vorhof hin. Die Mauerstücke rechts und links an ihrem Ausgang waren beide mit je einem Palmwedel verziert.

27Auch diesem Tor lag ein Tor gegenüber, das zum inneren Vorhof führte. Der Mann maß den Abstand aus; es waren wiederum 50 Meter.

Der innere Vorhof und seine Tore

28Dann ging der Mann mit mir durch das Südtor in den inneren Tempelvorhof und maß das Tor aus. Es war genauso groß wie die anderen Tore. 29-30Seine Kammern, die Vorhalle und das Mauerwerk an ihrem Ausgang hatten die gleichen Maße. Auch hier waren im Torgebäude und in der Vorhalle ringsherum Fenster eingelassen. Der Bau war 25 Meter lang und 12,5 Meter breit.40,29‒30 So nach der griechischen Übersetzung. Im hebräischen Text steht noch: Ringsum gab es Vorhallen, die 25 Ellen (12,5 Meter) lang und 5 Ellen (2,5 Meter) breit waren. 31Die beiden Mauerstücke waren mit Palmwedeln verziert. Die Vorhalle lag zum äußeren Vorhof hin, und der Aufgang zu ihr bestand aus acht Stufen.

32Als Nächstes führte mich der Mann durch das Osttor in den inneren Vorhof und maß es aus. Es war genauso groß wie die anderen Tore. 33Seine Kammern, die Vorhalle und das Mauerwerk an ihrem Ausgang hatten die gleichen Maße. Auch hier waren im Torgebäude und in der Vorhalle ringsum Fenster eingelassen. Der Bau war 25 Meter lang und 12,5 Meter breit. 34Die beiden Mauerstücke waren mit Palmwedeln verziert. Die Vorhalle des Tores lag zum äußeren Vorhof hin, und der Aufgang bestand aus acht Stufen.

35Dann brachte der Mann mich zum Nordtor und maß es aus. Auch dieses war genauso gebaut wie die anderen Tore des inneren Vorhofs. 36Seine Kammern, die Vorhalle und das Mauerwerk an ihrem Ausgang hatten die gleichen Maße. Auch hier besaßen Torgebäude und Vorhalle ringsum Fenster. Der Bau war 25 Meter lang und 12,5 Meter breit. 37Die beiden Mauerstücke waren mit Palmwedeln verziert. Die Vorhalle des Tores lag zum äußeren Vorhof hin, und der Aufgang bestand aus acht Stufen.

Die Räume im inneren Vorhof

38Am Eingang zum Nordtor war eine Kammer angebaut.40,38 Evtl. gilt dies auch für die anderen Tore des inneren Vorhofs. Der hebräische Text ist nicht klar zu deuten. Hier wurden die Eingeweide und Schenkel der Tiere gereinigt, die für das Brandopfer bestimmt waren.40,38 Wörtlich: Dort spülte man das Brandopfer ab. – Vgl. 3. Mose 1,9.13. Durch die Tür dieses Raumes kam man in die Vorhalle des Tores. 39Dort standen auf jeder Seite zwei Tische. Auf ihnen sollten die Tiere für die Brand-, Sünd- und Schuldopfer geschlachtet werden. 40An den beiden Außenwänden der Vorhalle, rechts und links vom Toreingang, waren ebenfalls je zwei Tische aufgestellt. 41So standen auf jeder Seite des Tores vier Tische, auf denen geschlachtet wurde; insgesamt waren es acht.

42Die vier Tische in der Vorhalle bestanden aus Quadersteinen. Sie waren 0,75 Meter lang, ebenso breit und 0,5 Meter hoch. Auf ihnen legte man alles bereit, was man brauchte, um die Tiere für die Brandopfer und alle übrigen Opfer zu schlachten. 43Auch das Fleisch der Tiere wurde dort aufbewahrt. In die Wände des Torgebäudes waren ringsum Haken eingeschlagen, die eine Handbreit aus der Wand ragten. 44Dann gingen wir in den inneren Vorhof. Neben dem Nordtor und dem Südtor lag je ein Raum40,44 So nach der griechischen Übersetzung. Der hebräische Text lautet: lagen Räume für die Sänger., der sich zum inneren Vorhof hin öffnete; der am Nordtor war nach Süden offen, der am Südtor nach Norden. 45Der Mann sagte zu mir: »Der Raum neben dem Nordtor ist für die Priester bestimmt, die den Tempeldienst versehen, 46und der Raum neben dem Südtor für die Priester, die am Altar die Opfer darbringen. Sie alle sind Nachkommen von Zadok, als Einzige aus dem Stamm Levi dürfen sie dem Herrn in seinem Tempel dienen.« 47Als Nächstes maß der Mann den inneren Vorhof aus. Er hatte einen quadratischen Grundriss und war 50 Meter lang und ebenso breit. Vor dem Tempel stand der Altar.

Der Tempel

48Der Mann führte mich in die Vorhalle des Tempels. Das Mauerwerk rechts und links von ihrem Eingang war je 2,5 Meter dick. Der Toreingang hatte eine Breite von 7 Metern; zusätzlich nahmen die Mauerstücke links und rechts davon je 1,5 Meter ein.40,48 So nach der griechischen Übersetzung. Der hebräische Text lautet: Der Toreingang war auf beiden Seiten 3 Ellen (1,5 Meter) breit. 49Die ganze Vorhalle war 10 Meter breit und 6 Meter40,49 So nach der griechischen Übersetzung. Der hebräische Text lautet: 11 Ellen (5,5 Meter). lang. Zehn Stufen führten zu ihr hinauf.40,49 So nach der griechischen Übersetzung. Der hebräische Text lautet: Stufen führten zu ihr hinauf. Neben den Mauerstücken auf beiden Seiten des Eingangs stand je eine Säule.