1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
ne gafuuka evvu.
2Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
32:3 a Zab 2:10 b Is 40:23Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
bw’ayogera Mukama.
42:4 a 2Bk 17:19; Kos 12:2 b Yer 6:19 c Ez 20:24 d Is 9:16 e Is 28:15 f 2Bk 22:13; Yer 16:12Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,
ne batakuuma biragiro bye nabawa
ne bagondera bakatonda ab’obulimba
bajjajjaabwe be baagobereranga.
52:5 Yer 17:27; Kos 8:14Ndiweereza omuliro ku Yuda
ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
62:6 Yo 3:3; Am 8:6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
72:7 Am 5:11-12; 8:4Balinnyiririra emitwe gy’abaavu
mu nfuufu,
n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.
Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu
ne boonoona erinnya lyange.
82:8 a Kuv 22:26 b Am 4:1; 6:6Bagalamira okumpi ne buli kyoto
ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
92:9 a Kbl 21:23-26; Yos 10:12 b Ez 17:9; Mal 4:1“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
okutuuka ku mirandira egyali wansi.
102:10 a Kuv 20:2; Am 3:1 b Ma 2:7 c Kuv 3:8; Am 9:7Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
weetwalire ensi y’Abamoli.
112:11 a Ma 18:18; Yer 7:25 b Kbl 6:2-3; Bal 13:5“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
bw’ayogera Mukama.
122:12 Is 30:10; Yer 11:21; Am 7:12-13; Mi 2:6“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
13“Laba, ndibasesebbula
ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
142:14 a Yer 9:23 b Zab 33:16; Is 30:16-17Abanguwa tebaliwona,
n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
152:15 Ez 39:3Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
162:16 Yer 48:41Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
balidduka bukunya!”
bw’atyo bw’ayogera Mukama.