Yoswa 12 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 12:1-24

Bakabaka Abaawangulwa

112:1 Ma 3:8Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.

212:2 Ma 2:36Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,

312:3 a Yos 11:2 b Yos 13:20ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,

412:4 a Kbl 21:21, 33; Ma 3:11 b Ma 1:4ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

512:5 a Ma 3:10 b 1Sa 27:8 c Ma 3:14Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.

612:6 Kbl 32:29, 33; Yos 13:8Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

712:7 Yos 11:17Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu. 812:8 Yos 11:16Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.

912:9 a Yos 6:2 b Yos 8:29Kabaka w’e Yeriko omu,ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseri omu,1012:10 Yos 10:23ne kabaka w’e Yerusaalemi omu,ne kabaka w’e Kebbulooni omu,11ne kabaka w’e Yalamusi omu,ne kabaka w’e Lakisi omu,1212:12 Yos 10:33n’ow’e Egulooni omu,n’ow’e Gezeri omu,13ne kabaka w’e Debiri omu,n’ow’e Gederi omu,1412:14 Kbl 21:1n’ow’e Koluma omu,n’ow’e Yaladi omu,15n’ow’e Libuna omu,n’ow’e Adulamu omu,1612:16 Yos 7:2n’ow’e Makkeda omu,n’ow’e Beseri omu,1712:17 1Bk 4:10ne kabaka ow’e Tappua omu,n’owe Keferi omu,1812:18 Yos 13:4n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni omu,19n’ow’e Madoni omu,n’ow’e Kazoli omu,2012:20 Yos 11:1ne kabaka w’e Simuloni Meroni omu,ne kabaka w’e Akusafu omu,21n’ow’e Taanaki omu,n’ow’e Megiddo omu,2212:22 a Yos 19:37; 20:7; 21:32 b 1Sa 15:12n’ow’e Kedesi omu,ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri omu,2312:23 Yos 11:2ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli omu,ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali12:23 Girugaali Si y’omu ne Girugaali oli aliraanye Yeriko omu,2412:24 Zab 135:11; Ma 7:24n’ow’e Tiruza omu.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約書亞記 12:1-24

被擊敗的諸王

1以色列人在約旦河東岸殺死了兩個王,佔據了他們的領土:自亞嫩谷直到黑門山,包括東面的整個亞拉巴2這兩個王一個是住在希實本亞摩利西宏。他統轄的地區從亞嫩谷旁的亞羅珥,包括山谷中部和基列的一半,直到亞捫人邊境的雅博河。 3他的領土還包括約旦河谷東部:從加利利海至亞拉巴海,也就是鹽海,到伯·耶西末,直到毗斯迦的山麓。 4另一個王是巴珊,他原是利乏音的遺民,住在亞斯她錄以得來5他所統轄的地區包括黑門山、撒迦、整個巴珊,直到基述人和瑪迦人的邊境,還包括基列的另一半,直到希實本西宏的國界。 6耶和華的僕人摩西帶領以色列人征服了這兩個王,摩西把他們的土地分給呂便支派、迦得支派和瑪拿西半個支派的人作產業。 7約書亞帶領以色列人征服了約旦河西的諸王,佔領的土地包括從黎巴嫩谷地的巴力·迦得直到西珥哈拉山。約書亞以色列的支派把這些土地分給以色列人。 8那裡有山區、丘陵、河谷、山坡、曠野和南地,就是人、亞摩利人、迦南人、比利洗人、希未人、耶布斯人住的地方。 9這些王是耶利哥王、伯特利附近的王、 10耶路撒冷王、希伯崙王、 11耶末王、拉吉王、 12伊磯倫王、基色王、 13底璧王、基德王、 14何珥瑪王、亞拉得王、 15立拿王、亞杜蘭王、 16瑪基大王、伯特利王、 17他普亞王、希弗王、 18亞弗王、拉沙崙王、 19瑪頓王、夏瑣王、 20伸崙·米崙王、押煞王、 21他納王、米吉多王、 22基低斯王、迦密附近的約念王、 23多珥山上的多珥王、吉甲戈印王、 24得撒王,共三十一個王。