Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Balam 1

1Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Abayisirayiri ne babuuza Mukama Katonda nti, “Ani mu ffe alisooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa?”

Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.

Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni[a] nti, “Tugende ffenna mu kitundu kyaffe ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani, era naffe tuligenda nammwe mu kitundu ekyabaweebwa.” Awo ne bagenda bonna.

Yuda n’alumba Abakanani n’Abaperezi e Bezeki era Mukama n’amuwa obuwanguzi n’abattamu abasajja omutwalo mulamba. Ne bagwikiriza Adonibezeki mu Bezeki; ne bamulwanyisa era ne batta abasajja be. Naye Adonibezeki ne yeemulula, ne bamuwondera, ne bamukwata era ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja[b].

Adonibezeki ne yejjusa n’agamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n’ebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi w’emmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi n’afiira eyo. Abasajja ba Yuda ne balumba ekibuga Yerusaalemi ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala, oluvannyuma ne bakyokya.

Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo. 10 Ate Yuda n’alumba Abakanani abaabeeranga e Kebbulooni (edda ekyayitibwanga Kiriasualuba), mu lutalo olwali eyo mwe battira Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.

11 Ate n’avaayo n’alumba abaabeeranga e Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi. 12 Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.” 13 Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.

14 Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?” 15 N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga. 16 Abazzukulu b’Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga eky’enkindu ne bagendera wamu n’abasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu n’abantu baayo.

17 Awo Yuda n’agenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma[c]. 18 Era Yuda n’awamba Gaza, Asukulooni ne Ekuloni n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga bino.

19 Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali ag’ekyuma. 20 Kebbulooni n’ekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, n’akifuumulamu batabani ba Anaki abasatu. 21 Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

22 N’abasajja ba Yusufu ne balumba Beseri era Mukama yali wamu nabo. 23 Abasajja ba Yusufu ne batuma abakessi okuketta ekibuga ky’e Beseri edda ekyayitibwanga Luzi. 24 Abakessi bwe baalaba omusajja ng’ava mu kibuga ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde tulage omulyango oguyingira mu kibuga naffe tunaakuyisa bulungi.” 25 Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza n’ekitala abantu b’omu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna. 26 Omusajja oyo n’asengukira mu nsi y’Abakiiti, n’azimbayo n’ekibuga n’akituuma Luzi, n’okutuusa kaakano bwe kiyitibwa.

27 Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo. 28 Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo ky’okugobwa mu nsi eyo. 29 Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri. 30 Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano n’abakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo. 31 Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde ab’omu Sidoni n’ab’omu Alaba n’ab’omu Akuzibu n’ab’omu Keruba n’ab’omu Afiki yadde ab’omu Lekobu, 32 naye Abakanani ne bakkirizibwa okubeera awamu n’abantu ba Aseri. 33 Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye n’abakkirizanga okubeeranga awamu n’abantu be nga bwe bamusasula omusolo. 34 Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi y’Abamoli ey’omu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi. 35 Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye ab’omu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo. 36 Ensalo y’Abamoli yayitanga awo ng’oyambuka Akulabbimu n’okweyongerayo.

Notas al pie

  1. 1:3 Simyoni Bazzukulu ba Simyoni n’abantu ba Yuda baali bazzukulu ba Leeya.
  2. 1:6 ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja Empisa ey’okusalako engalo ensajja n’ebigere ebisajja yakozesebwanga nnyo ku basibe mu bitundu ebyo. Ekyali kigendererwa mu kyo, kwe kulaba ng’abasibe tebadduka.
  3. 1:17 Koluma kitegeeza Kuzikiriza

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

士師記 1

猶大支派攻打迦南人

1約書亞去世以後,以色列人求問耶和華:「我們哪一個支派先上去攻打迦南人呢?」 耶和華說:「猶大支派先去,我已把那片土地交在他們手中了。」 猶大人對西緬人說:「請跟我們一同到我們分得的地方攻打迦南人,我們也會同樣幫助你們。」於是,西緬人便與猶大人同去。 猶大人攻打迦南人和比利洗人,耶和華使他們得勝,在比色殺了一萬敵軍。 他們又在那裡遇見亞多尼·比色,與他交戰,打敗了他帶領的迦南人和比利洗人。 亞多尼·比色逃跑,他們追上去擒住他,砍掉他的大拇指和大腳趾。 亞多尼·比色說:「從前七十個王的大拇指和大腳趾被我砍掉,在我桌下撿食物碎屑,現在上帝照我的行為報應我了。」他們把他帶到耶路撒冷,他死在那裡了。

猶大人攻陷耶路撒冷,殺了城內的所有居民,並放火焚城。 隨後,他們下去攻打住在山區、南地和丘陵的迦南人, 10 又進攻住在希伯崙的迦南人,殺了示篩、亞希幔和撻買。希伯崙從前叫基列·亞巴。

11 他們從那裡出兵攻打底璧,那裡從前叫基列·西弗。 12 迦勒說:「誰攻取基列·西弗,我就把女兒押撒嫁給他。」 13 迦勒的兄弟基納斯的兒子俄陀聶攻取了那城,迦勒便把女兒押撒嫁給他。 14 押撒出嫁的時候,勸丈夫向她父親要一塊田。她剛下驢,迦勒便問她:「你想要什麼?」 15 她回答說:「求你恩待我,你既然把南部的乾地賜給我,求你也把水泉給我吧。」於是,迦勒把上泉和下泉都給了她。

16 摩西岳父的後代基尼人和猶大人一同離開棕樹城[a],到猶大南部曠野的亞拉得附近,跟當地人一起居住。 17 之後,猶大人隨西緬人一起攻打洗法城內的迦南人,徹底毀滅了那城。因此那城叫何珥瑪[b] 18 猶大人又奪取了迦薩、亞實基倫和以革倫三座城邑及周圍地區。 19 耶和華與猶大人同在。他們攻佔了山區,卻沒能趕走平原的居民,因為那裡的人有鐵戰車。 20 照摩西的吩咐,迦勒得到了希伯崙。他把亞衲三族的人從那裡趕走。 21 便雅憫人沒有趕走居住在耶路撒冷的耶布斯人,耶布斯人至今仍和他們住在一起。

22 約瑟家族也上去攻打伯特利,耶和華與他們同在。 23 他們先派人去打探伯特利,那裡從前名叫路斯。 24 探子看見一個人從城裡出來,就對他說:「請你告訴我們進城的路,我們必善待你。」 25 那人便告訴他們進城的路,他們殺了城內所有的居民,只放走了那人及其全家。 26 後來,那人搬到赫人的地方,築了一座城,稱之為路斯,沿用至今。

27 瑪拿西人沒有趕走伯·善、他納、多珥、以伯蓮和米吉多眾城邑及周圍村莊的居民,因為這些迦南人執意住在那裡。 28 以色列人強盛時,就強迫他們服勞役,卻沒有全部趕走他們。

29 以法蓮人沒有趕走住在基色的迦南人,這些迦南人仍然住在他們當中。

30 西布倫人沒有趕走基倫和拿哈拉的居民,這些迦南人仍然住在他們當中,為他們服勞役。

31 亞設人沒有趕走亞柯、西頓、亞黑拉、亞革悉、黑巴、亞弗革和利合的居民, 32 於是亞設人住在這些迦南人當中。

33 拿弗他利人沒有趕走伯·示麥和伯·亞納的居民,於是就住在這些迦南人當中,強迫他們服勞役。

34 亞摩利人強迫但人住在山區,不准他們下到平原。 35 亞摩利人執意住在希烈山、亞雅倫和沙賓,但約瑟家族強盛時,就強迫他們服勞役。 36 亞摩利人的邊界從亞克拉濱山坡起,一直到西拉以北。

Notas al pie

  1. 1·16 棕樹城」即「耶利哥」。
  2. 1·17 何珥瑪」意思是「覆滅之城」。