Ekyamateeka Olwokubiri 1 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 1:1-46

Musa Ayogera nga Katonda bw’Anaakulembera Abayisirayiri

1Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. 21:2 a Kuv 3:1 b Kbl 13:26; Ma 9:23Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu1:2 Mu biro biri entambula yali ya njawulo okuva e Kolebu1:2 Kolebu Erinnya ly’Olusozi Kolebu eddala ly’Olusozi Sinaayi. okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri.

31:3 a Kbl 33:38 b Ma 4:1-2Awo ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwaka ogw’amakumi ana, Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira. 41:4 a Kbl 21:21-26 b Kbl 21:25 c Kbl 21:33-35; Yos 13:12Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka w’Abamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

5Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti:

61:6 a Kbl 10:13 b Kuv 3:1Mukama Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala; 71:7 a Yos 10:40 b Ma 11:24kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati. 81:8 Lub 12:7; 15:18; 17:7-8; 26:4; 28:13Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo Mukama Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo n’ezzadde lyabwe eririddawo.’ 

Okulonda Abakulembeze

91:9 Kuv 18:18“Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bw’omu. 101:10 a Lub 15:5 b Ma 10:22; 28:62Mukama Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ng’emmunyeenye ez’oku ggulu mu bungi bwammwe. 111:11 Lub 22:17; Kuv 32:13Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza. 12Kale, nze obw’omu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, n’okubamalirawo ennyombo zammwe? 131:13 Kuv 18:21Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’ 14Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu ky’otuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’

151:15 Kuv 18:25“Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna. 161:16 a Ma 16:18; Yk 7:24 b Lv 24:22Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye. 171:17 a Lv 19:15; Ma 16:19; Nge 24:23; Yak 2:1 b 2By 19:6 c Kuv 18:26Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ 18Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.”

Alipoota y’Abakessi

191:19 a Ma 8:15; Yer 2:2, 6 b nny 2; Kbl 13:26Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea. 20Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwadde. 211:21 Yos 1:6, 9, 18Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”

22Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”

231:23 Kbl 13:1-3Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu. 241:24 Kbl 13:21-25Baasitula ne bambuka mu nsi eyo ey’ensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta. 251:25 Kbl 13:27Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo.

Okwemulugunya kwa Isirayiri

261:26 Kbl 14:1-4“Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. 271:27 Ma 9:28; Zab 106:25Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. 281:28 a Kbl 13:32 b Kbl 13:33; Ma 9:1-3Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki1:28 Anaki baali batuuze b’omu Kanani, era baayitibwanga gasajja. nabo twabalabayo.’ ” 29Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. 301:30 Kuv 14:14; Ma 3:22; Nek 4:20Mukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. 311:31 Ma 32:10-12; Is 46:3-4; 63:9; Kos 11:3; Bik 13:18Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”

321:32 Zab 106:24; Yud 5Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, 331:33 a Kuv 13:21; Zab 78:14 b Kbl 10:33songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.

341:34 Kbl 14:23, 28-30Mukama bwe yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala nnyo, n’alayira nti, 351:35 Zab 95:11“Tewalibaawo n’omu ku bantu bano, ab’omulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe, 361:36 Kbl 14:24; Yos 14:9okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama n’omutima gwe gwonna.”

371:37 a Ma 3:26; 4:21 b Kbl 20:12Nange Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n’aŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo. 381:38 a Kbl 14:30 b Ma 31:7 c Ma 3:28Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo. 391:39 a Kbl 14:3 b Is 7:15-16Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira. 401:40 Kbl 14:25Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olw’omu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.”

Isirayiri Awangulwa mu Lutalo

41Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.

421:42 Kbl 14:41-43Mukama n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”

43Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi. 441:44 Zab 118:12Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma. 45Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa. 461:46 Kbl 20:1; Bal 11:17Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 1:1-46

前言

1以下是摩西以色列人說的話。當時以色列人在約旦河東的曠野、疏弗對面的亞拉巴,即巴蘭陀弗拉班哈洗錄底撒哈之間。 2何烈山取道西珥山到加低斯·巴尼亞,需十一天。 3在離開埃及後第四十年的十一月一日,摩西把耶和華的一切吩咐告訴了以色列人。 4那時,他已經打敗了希實本亞摩利西宏以及盤踞在以得來亞斯她錄巴珊5摩西約旦河東的摩押講解律法,說: 6「我們的上帝耶和華在何烈山對我們說,『你們在這裡已經住了多日, 7現在該啟程前往亞摩利人的山區、亞拉巴地區、山地、丘陵、南地、沿海一帶、迦南黎巴嫩,直到幼發拉底河。 8看啊,我把那片土地賜給你們了,你們去佔領吧,那是耶和華起誓賜給你們祖先亞伯拉罕以撒雅各和他們後裔的地方。』

摩西設立首領

9「那時,我對你們說,『我無法獨自承擔管理你們的重任, 10因為你們的上帝耶和華使你們人丁興旺,以致今天人數多如天上的星星。 11願你們祖先的上帝耶和華使你們人數更增千倍,照祂的應許賜福給你們。 12但我怎能獨自擔當解決你們問題和爭端的重任呢? 13你們要從各支派中選出有智慧、有見識、受尊重的人,我要立他們做你們的首領。』 14你們都同意這樣的做法。 15於是,我把各支派中有智慧和受敬重的人立為你們的首領,即千夫長、百夫長、五十夫長、十夫長和其他官長,治理你們。 16我吩咐這些官員要聆聽案件,公正地審理同胞之間或與外族人之間的訴訟, 17不可偏私,不分貴賤,不懼情面,因為判決來自上帝。如果案件太難,可以交給我處理。 18那時,我把一切當行之事都告訴了你們。

派人打探迦南

19「我們照我們上帝耶和華的吩咐,從何烈山出發,走過你們所見的那大而可怕的曠野,前往亞摩利山區,來到加低斯·巴尼亞20我對你們說,『我們的上帝耶和華賜給我們的亞摩利山區到了。 21看啊,你們祖先的上帝耶和華已把那片土地賜給你們,你們要照著祂的應許去佔領那裡,不要懼怕,不要氣餒。』 22你們來對我說,『我們要先派人去打探那地方,回來好告訴我們當走哪條路,當佔哪些城。』 23我同意你們的建議,便從你們當中選出十二人,每支派選一人。 24他們前往山區,到了以實各谷,打探那地方。 25他們帶回來一些那裡的果子,稟告說,『我們的上帝耶和華賜給我們的地方很好。』

26「但你們卻違背你們上帝耶和華的命令,不肯上去。 27你們在帳篷中埋怨說,『耶和華憎恨我們,所以才領我們離開埃及,要把我們交在亞摩利人手裡,讓他們消滅我們。 28我們怎能上去呢?那些弟兄的報告令我們膽戰心驚,他們說那裡的人比我們高大,城邑雄偉,城牆高達雲霄,還有亞衲人在那裡。』 29我對你們說,『不要驚慌,不要怕他們。 30你們的上帝耶和華必帶領你們,為你們爭戰,正如祂當著你們的面在埃及所行的一樣。 31你們在曠野曾目睹你們的上帝耶和華像父親抱兒子一樣,一路把你們抱到這地方。』 32-33祂為你們開路,為你們找安營的地方,夜間用火柱、白天用雲柱為你們引路。儘管如此,你們還是不信靠你們的上帝耶和華。

懲罰叛逆

34「你們的埋怨惹耶和華發怒,祂起誓說, 35『這邪惡的一代沒有一人能看見我起誓要賜給他們祖先的佳美之地, 36只有耶孚尼的兒子迦勒能看見,我必把他所踏之地賜給他和他的後代,因為他全心全意地跟從我。』 37因為你們的緣故,耶和華也向我發怒,說,『你也不能進入那片土地, 38但你的助手——的兒子約書亞可以進入。你要鼓勵他,因為他將帶領以色列承受那片土地。 39你們說你們的子女會被擄去,但這些還不知善惡的孩子都將進入那片土地,我要把那裡賜給他們,他們將佔領那裡。 40而你們要掉頭,沿紅海的路回到曠野。』

41「於是,你們對我說,『我們得罪了耶和華,現在我們願意遵從我們的上帝耶和華的吩咐,上去作戰。』你們便各自拿起兵器,以為可以輕易攻佔山區。 42但耶和華讓我告訴你們,『不要上去作戰,以免被敵人擊敗,因為耶和華不會與你們同在。』 43我把耶和華的話轉告了你們,但你們不聽,違背耶和華的命令,擅自前往山區。 44住在山區的亞摩利人蜂擁出擊,打敗了你們,從西珥追殺你們,一直追到何珥瑪45你們回來在耶和華面前哭泣,但耶和華不理會你們的哭聲。 46因此,你們在加低斯住了很久。