Yobu 33 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 33:1-33

133:1 Yob 13:6“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:

ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.

2Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,

ebigambo byange bindi ku lulimi.

333:3 Yob 6:28; 27:4; 36:4Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;

olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.

433:4 a Lub 2:7; Yob 10:3 b Yob 27:3Omwoyo wa Katonda ye yankola,

era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.

533:5 a nny 32 b Yob 13:18Onnyanukule nno bw’oba osobola,

teekateeka ebigambo byo onjolekere.

633:6 Yob 4:19Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.

Nange nava mu bbumba.

733:7 Yob 9:34; 13:21; 2Ko 2:4Tobaako ky’otya,

sijja kukunyigiriza.

8Ddala ddala oyogedde mpulira,

ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,

933:9 a Yob 10:7 b Yob 13:23; 16:17Ndi mulongoofu sirina kibi,

siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.

1033:10 Yob 13:24Kyokka Katonda anteekako omusango,

anfudde omulabe we.

1133:11 a Yob 13:27 b Yob 14:16Asiba ebigere byange mu nvuba,

antwala okuba omulabe we.

1233:12 Mub 7:20“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.

Katonda asinga omuntu.

1333:13 Yob 40:2; Is 45:9Lwaki omwemulugunyiza nti,

taddamu bigambo bya muntu yenna?

1433:14 Zab 62:11Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,

wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.

1533:15 Yob 4:13Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro

ng’otulo tungi tukutte abantu

nga beebase ku bitanda byabwe,

1633:16 Yob 36:10, 15aggula amatu g’abantu,

n’abalabula n’ebyekango,

17alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi

n’amalala,

1833:18 a nny 22, 24, 28, 30 b Yob 15:22aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,

n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.

1933:19 Yob 30:17“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,

n’alumwa olutatadde mu magumba ge,

2033:20 a Zab 107:18 b Yob 3:24; 6:6obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,

emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.

2133:21 Yob 16:8; 19:20Omubiri gwe gugwako ku magumba,

n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,

2233:22 Zab 88:3emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;

obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.

2333:23 Mi 6:8Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,

amuwolereza, omu ku lukumi,

okubuulira omuntu ekigwanidde;

2433:24 Is 38:17yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,

‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,

mmusasulidde omutango,’

2533:25 2Bk 5:14omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,

era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.

2633:26 a Yob 34:28 b Yob 22:26 c Zab 50:15; 51:12Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.

Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,

Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.

2733:27 a 2Sa 12:13 b Luk 15:21 c Bar 6:21Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,

Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,

naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.

2833:28 Yob 22:28Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;

kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

2933:29 1Ko 12:6; Bef 1:11; Baf 2:13“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu

emirundi ebiri oba esatu,

3033:30 Zab 56:13okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,

ekitangaala eky’obulamu kimwakire.

31“Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;

siriikirira nkubuulire.

32Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;

yogera kubanga njagala wejjeerere.

3333:33 Zab 34:11Bwe kitaba kityo, mpuliriza;

sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约伯记 33:1-33

1约伯啊,请听我言,

请留心听我每一句话。

2我要开口发言,

我话已在舌尖。

3我的话发自正直的心,

我的口如实陈明道理。

4上帝的灵创造了我,

全能者的气赋予我生命。

5如果你能,就反驳我,

站出来与我辩论。

6在上帝面前,我与你无异,

也是泥土造的。

7所以你不用惧怕我,

我不会对你施加压力。

8“你的话已进到我耳中,

我听见你说,

9‘我纯全无过,

我清白无罪,

10上帝却挑我的错,

与我为敌;

11祂给我戴上脚镣,

鉴察我的一举一动。’

12“我来答复你,你的话没有道理,

因为上帝比世人大。

13你为何向祂抱怨,

说祂不理会世人的话?

14上帝一再用各种方式说话,

然而世人却不明白。

15人躺在床上沉睡时,

在梦境和夜间的异象中,

16上帝开启他们的耳朵,

用警告惊吓他们,

17使他们离开罪恶,

不再骄傲,

18以免他们的灵魂坠入深坑,

他们的性命被刀剑夺去。

19“人因受罚而卧病在床,

骨头疼痛不止,

20以致毫无食欲,

对佳肴心生厌恶。

21他日渐消瘦,

只剩下骨头。

22他的灵魂临近深坑,

他的生命濒临死亡。

23如果一千天使中有一位能做他的中保,

指示他当行的事,

24上帝33:24 上帝”希伯来文是“他”,也可能指天使。就会怜悯他,说,‘别让他下坟墓,

我已得到他的赎金。’

25那时,他的皮肉将嫩如孩童,

他将恢复青春的活力。

26他向上帝祷告时必蒙悦纳,

他欢呼着朝见上帝,

再度被祂视为义人。

27他会当众歌唱说,

‘我犯了罪,颠倒是非,

祂却没有按我的罪报应我。

28祂救赎我的灵魂,使之免下深坑,

使我的生命得见光明。’

29“看啊,这都是上帝的作为,

祂一次次地恩待世人,

30从深坑救回人的灵魂,

使他沐浴生命之光。

31约伯啊,留心听我说,

不要作声,我要发言。

32你若有话,就答复我;

你只管说,我愿看到你的清白。

33否则,请听我言;

不要作声,我要传授你智慧。”