Yobu 32 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 32:1-22

Eriku Ayogera

132:1 Yob 10:7; 33:9Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. 232:2 a Lub 22:21 b Yob 27:5; 30:21Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. 3Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. 4Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. 5Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.

632:6 Yob 15:10Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,

“Nze ndi muto mu myaka,

mmwe muli bakulu,

kyenavudde ntya

okubabuulira kye ndowooza.

7Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,

n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.

832:8 a Yob 27:3; 33:4 b Nge 2:6Kyokka omwoyo oguli mu muntu,

nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.

932:9 1Ko 1:26Abakadde si be bokka abalina amagezi,

wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.

10“Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,

nange mbabuulire kye mmanyi.

11Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,

nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.

12Nabawulirizza bulungi.

Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;

tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.

1332:13 Yer 9:23Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;

muleke Katonda amuwangule so si bantu.’

14Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,

era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.

15“Basobeddwa, tebalina kya kwogera,

ebigambo bibaweddeko.

16Kaakano nsirike busirisi,

nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?

17Nange nnina eky’okwogera,

era nnaayogera kye mmanyi,

18kubanga nzijjudde ebigambo,

era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.

19Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,

ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.

20Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,

nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.

2132:21 Lv 19:15; Yob 13:10; Mat 22:16Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,

era sijja na kuwaana muntu yenna.

22Kubanga singa mpaaniriza,

Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约伯记 32:1-22

以利户的回答

1三人见约伯自以为义,便不再回答他。 2那时,族的布西巴拉迦的儿子以利户约伯很恼火,因为约伯自以为义,不承认上帝的公义。 3他对约伯的三个朋友也很恼火,因为他们说约伯有罪,却无法回答约伯的质问32:3 因为他们说约伯有罪,却无法回答约伯的质问”有古卷作“因为他们无法回答约伯的质问,因而置上帝于不公”。4由于不及他们年长,以利户便等他们说完才向约伯发言。 5他见三人无法回答约伯,很恼火, 6就说:

“我年纪轻,你们是长辈,

所以我畏惧,不敢陈明观点。

7我想,前辈当先发言,

长者当传授智慧。

8但只有人里面的灵——

全能者的气息赐人悟性。

9长者不一定有智慧,

年老不一定明白是非。

10因此,请听我说,

我也要陈明观点。

11看啊,我一直等候你们发言,

倾听你们的理论,

等你们斟词酌句。

12我仔细聆听,

发现你们无人能驳倒约伯

无人能答复他。

13你们不要说,‘我们找到了智慧,

使他折服的是上帝而非人。’

14约伯没有与我辩论,

我也不会用你们的理论答复他。

15“他们惊慌失措,无言以对,

再也说不出话来。

16难道他们不说话,站在那里无言以对,

我就要等下去吗?

17我也要作出答复,

陈明我的观点。

18因为我心里积满了话,

我里面的灵催促我说出来。

19我里面像盛满了酒,却没有出口,

又如将要破裂的新酒袋。

20我要一吐为快,

我要开口答复。

21我不看人的情面,

也不奉承人。

22我不善奉承,

否则,造物主会很快把我除掉。