Okubala 8 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okubala 8:1-26

Ekikondo ky’Ettaala

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 28:2 Kuv 25:37; Lv 24:2, 4“Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ”

3Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 48:4 a Kuv 25:18, 36; 25:18 b Kuv 25:9Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.

Obulongoofu bw’Abaleevi

5Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 68:6 Lv 22:2; Is 1:16; 52:11“Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu. 78:7 a Kbl 19:9, 17 b Lv 14:9; Ma 21:12 c Lv 14:8Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu. 88:8 Lv 2:1; Kbl 15:8-10Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi. 98:9 a Kuv 40:12 b Lv 8:3Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna. 108:10 Bik 6:6Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo. 118:11 Lv 7:30Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.

128:12 a Kuv 29:10 b Kuv 29:36“Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi. 13Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.

Abaleevi Bayawulwa ku Bantu

148:14 Kbl 3:12“Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange.

158:15 Kuv 29:24“Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 168:16 Kbl 3:12Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri. 178:17 a Kuv 4:23 b Kuv 13:2; Luk 2:23Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange. 188:18 Kbl 3:12Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri. 198:19 a Kbl 3:9 b Kbl 1:53 c Kbl 16:46Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”

20Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 218:21 a nny 7 b nny 12Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu. 22Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

23Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 248:24 a 1By 23:3 b Kuv 38:21; Kbl 4:3“Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; 25naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza. 26Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 8:1-26

安置七盞燈

1耶和華對摩西說: 2「你告訴亞倫,安放燈的時候,七盞燈都要照向燈臺的前面。」 3亞倫就照耶和華對摩西的吩咐把燈放好,使燈照向前方。 4整座燈臺,從燈座到上面的花苞,都是照耶和華對摩西的吩咐用金子錘製而成的。

為利未人行潔淨與奉獻禮

5耶和華對摩西說: 6「你要把利未人從其他以色列人中分別出來,潔淨他們。 7要用以下的方法潔淨他們,把潔淨水灑在他們身上,叫他們用剃刀剃淨全身,洗淨衣服,這樣他們就潔淨了。 8然後叫他們帶來一頭公牛犢及作素祭的調了油的細麵粉,你要另獻一頭公牛犢作贖罪祭。 9你要招聚以色列全體會眾,將利未人帶到會幕前, 10帶到耶和華面前,會眾要按手在他們身上。 11亞倫要把他們獻給耶和華,作為以色列人獻的搖祭,使他們可以事奉耶和華。 12利未人要按手在那兩頭公牛的頭上,然後你要把一頭作為贖罪祭,一頭作為燔祭獻給耶和華,好為利未人贖罪。 13你要讓利未人站在亞倫父子們面前,把他們當作搖祭獻給耶和華。 14這樣,你就把利未人從其他以色列人中分別出來,使他們歸給我。 15利未人被潔淨、當作搖祭獻上以後,就可以進會幕司職, 16因為在以色列人中,他們完全屬於我,我揀選他們歸我所有,以代替以色列人所有的長子。 17以色列人所有的長子和頭生的牲畜都屬於我。我擊殺埃及人所有的長子和頭生的牲畜那天,已把以色列人所有的長子和頭生的牲畜都分別出來,使之聖潔,歸給我。 18我現在已揀選利未人代替以色列人所有的長子, 19把他們交給亞倫父子們,替以色列人在會幕中司職,為以色列人贖罪,免得以色列人因接近聖所而遭禍。」

20摩西亞倫以色列全體會眾就按照耶和華對摩西的吩咐把利未人獻上。 21利未人自潔、洗淨衣服後,亞倫把他們當作搖祭獻給耶和華,又為他們贖罪,使他們潔淨。 22之後,利未人便進入會幕,在亞倫父子們的監督下司職。以色列人照耶和華對摩西的吩咐奉獻了利未人。

23耶和華對摩西說: 24「二十五歲以上的利未人都要到會幕司職, 25五十歲時退休。 26退休之後,他們可以協助本族弟兄看守會幕,不用再司職。你要這樣給他們分派工作。」