Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ebyabaleevi 1

Etteeka ery’Ekiweebwayo Ekyokebwa

1Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti, “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’

“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa[a] nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama. Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye. Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi. Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo. Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

10 “Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo. 11 Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. 12 Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 13 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

14 “Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 15 Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 16 Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 17 Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

Notas al pie

  1. 1:3 ekiweebwayo ekyokebwa Ebika by’ensolo bisatu bye byaweebwangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okusinziira ku mbeera y’omuntu awaayo ssaddaaka: ente sseddume yaweebwangayo abantu abagagga; endiga n’embuzi (lunny 10) n’ebinyonyi (lunny 14) byaweebwangayo abantu abaavu (5:7; 12:8)

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

利未記 1

獻燔祭的條例

1耶和華在會幕裡呼喚摩西,對他說: 「你把以下條例告訴以色列人。

「如果你們有人獻祭給耶和華,要用牛羊作祭物。 如果用牛作燔祭,必須用毫無殘疾的公牛,在會幕門口獻上,便可蒙耶和華悅納。 獻祭者要把手放在牛頭上,所獻的燔祭便蒙悅納,為他贖罪。 他要在耶和華面前宰牛,然後祭司——亞倫的子孫要把牛血灑在會幕門口的祭壇四周。 獻祭者要剝掉牛皮,把牛切成塊。 祭司——亞倫的子孫要在祭壇上生火,把木柴擺在火上, 然後將肉塊、頭顱和脂肪都擺在祭壇燃燒的木柴上。 獻祭者要用水洗淨牛的內臟和腿。祭司要把這一切都放在壇上焚燒。這是燔祭,是蒙耶和華悅納的馨香火祭。

10 「如果用綿羊或山羊作燔祭,必須用毫無殘疾的公羊。 11 獻祭者要在祭壇北面,在耶和華面前宰羊。祭司——亞倫的子孫要把羊血灑在祭壇四周。 12 獻祭者將羊切成塊後,祭司要把肉塊、頭顱和脂肪擺在祭壇燃燒的木柴上。 13 獻祭者要用水洗淨羊的內臟和腿。祭司要把這一切都放在壇上焚燒。這是燔祭,是蒙耶和華悅納的馨香火祭。

14 「如果有人用鳥作燔祭,要用斑鳩或雛鴿。 15 祭司要把鳥帶到祭壇前,擰下鳥頭,放在祭壇上焚燒;要在祭壇旁放盡鳥血; 16 要除掉鳥的嗉子和羽毛,丟在祭壇東邊倒灰的地方。 17 祭司要抓著兩個翅膀把鳥撕開,但不可撕斷,然後把鳥放在壇上焚燒。這是燔祭,是蒙耶和華悅納的馨香火祭。