Okubala 27 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okubala 27:1-23

Abawala ba Zerofekadi

127:1 a Kbl 26:33 b Yos 17:2, 3 c Kbl 36:1Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. 2Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, 327:3 a Kbl 26:65 b Kbl 16:2 c Kbl 26:33“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi. 4Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.”

527:5 a Kuv 18:19 b Kbl 9:8Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda. 6Mukama n’agamba Musa nti, 727:7 a Yob 42:15 b Yos 17:4“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.

8“Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. 9Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. 10Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. 1127:11 Kbl 35:29Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”

Yoswa Alondebwa Okusikira Musa

1227:12 a Kbl 33:47; Yer 22:20 b Ma 3:23-27; 32:48-52Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. 1327:13 a Kbl 31:2 b Kbl 20:28Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, 1427:14 a Kbl 20:12 b Kuv 17:7; Ma 32:51; Zab 106:32kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.

15Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti, 1627:16 Kbl 16:22Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, 1727:17 Ma 31:2; 1Bk 22:17; Ez 34:5; Zek 10:2; Mat 9:36; Mak 6:34afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”

1827:18 a Lub 41:38; Kbl 11:25-29 b nny 23; Ma 34:9Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo27:18 alimu omwoyo obuyinza Katonda bw’awa omuntu okukola n’obumalirivu, omusseeko omukono gwo. 1927:19 a Ma 3:28; 31:14, 23 b Ma 31:7Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 2027:20 Yos 1:16, 17Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 2127:21 a Yos 9:14 b Kuv 28:30Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”

22Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 27:1-23

女兒的繼承權

1西羅非哈約瑟之子瑪拿西的玄孫、瑪吉的曾孫、基列的孫子、希弗的兒子。他的女兒是瑪拉挪阿曷拉密迦得撒。她們前來, 2站在會幕門口對摩西以利亞撒祭司、眾首領和全體會眾說: 3「我們的父親死在曠野,他並沒有跟可拉一夥一起反叛耶和華,而是因自己的罪而死,沒有留下兒子。 4難道因為他沒有兒子,他的名字就要從族中消失嗎?請讓我們在父親的家族中分一份產業吧。」 5摩西就把她們的請求呈到耶和華面前。 6耶和華對摩西說: 7西羅非哈的女兒說得有理。你要從她們父親的家族中分一份產業給她們,讓她們繼承父親的產業。 8你要告訴以色列人,『人死後如果沒有兒子,就由女兒繼承產業; 9如果沒有女兒,就由其兄弟繼承; 10如果沒有兄弟,就由其父的兄弟繼承; 11如果其父沒有兄弟,就由其族中最近的親屬繼承。』」這是耶和華吩咐摩西頒佈給以色列人的律例。

約書亞接替摩西做首領

12耶和華對摩西說:「你上亞巴琳山去眺望我賜給以色列人的土地。 13看了以後,你就要像你哥哥亞倫一樣去祖先那裡了。 14因為會眾在曠野反叛我的時候,你們二人沒有按照我的指示取水,沒有在他們面前尊我為聖。」耶和華指的是米利巴泉事件,發生在曠野的加低斯15摩西對耶和華說: 16「耶和華啊,你是賜人生命的上帝,求你立一個人做會眾的首領, 17帶領他們或進或退,免得你的會眾像沒有牧人的羊群。」 18耶和華對摩西說:「的兒子約書亞心裡有聖靈,你把他召來,按手在他身上, 19讓他站在以利亞撒祭司和全體會眾面前,當著他們的面任命他做首領, 20把你的權柄賜給他,使以色列全體會眾都聽從他。 21遇到事情,他要去以利亞撒祭司那裡,讓祭司藉著烏陵為他求問我。他和全體會眾或進或出都要聽從以利亞撒的指示。」 22摩西遵命而行,把約書亞召來,讓他站在以利亞撒祭司和全體會眾面前, 23然後照耶和華的吩咐按手在他的頭上,任命他做首領。