Okubala 12 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okubala 12:1-16

Miryamu ne Alooni Bawakanya Musa

112:1 Kuv 2:21Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olw’omukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi. 212:2 a Kbl 16:3 b Kbl 11:1Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira.

312:3 Mat 11:29Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.

4Amangwago Mukama n’ayogera ne Musa, ne Alooni ne Miryamu n’abagamba nti, “Mujje, mwensatule, mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Bonsatule ne bagenda. 512:5 Kbl 11:25Mukama Katonda n’akkira mu mpagi ey’ekire, n’ayimirira ku mulyango gwa Weema n’ayita Alooni ne Miryamu. Bombi bwe baasembera 612:6 a Lub 15:1; 46:2 b Lub 31:10; 1Bk 3:5; Beb 1:1n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange:

“Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda,

nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba

njogera naye mu birooto.

712:7 a Yos 1:1-2; Zab 105:26 b Beb 3:2, 5Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa;

mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.

812:8 a Ma 34:10 b Kuv 20:4; Zab 17:15Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso,

njogera butereevu so si mu ngero;

alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda.

Kale, lwaki temwatidde

okuwakanya omuddu wange Musa?”

Miryamu Agengewala

912:9 Lub 17:22Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubabuubuukira, n’abaviira. 1012:10 a Kuv 4:6; Ma 24:9 b 2Bk 5:1, 27Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde; 1112:11 2Sa 19:19; 24:10n’agamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe. 12Tomuleka omubiri gwe okufaanana ng’ogw’omwana omuwere azaalibwa ng’ali ng’afudde, ng’omubiri gwe guweddemu ensa.”

1312:13 Is 30:26; Yer 17:14Musa n’akaabirira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Katonda, nkwegayirira omuwonye.”

1412:14 a Ma 25:9; Yob 17:6; 30:9-10; Is 50:6 b Lv 13:46; Kbl 5:2-3Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.” 15Bw’atyo Miryamu n’asibirwa ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; abantu ne batasitula kutambula okutuusa Miryamu lwe yakomezebwawo.

1612:16 Kbl 11:35Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 12:1-16

米利暗受罰

1米利暗亞倫摩西娶了一個古實的女子而批評他,說: 2「難道耶和華只藉著摩西說話嗎?祂不也藉著我們說話嗎?」耶和華聽見了這話。 3其實摩西為人十分謙和,比世上任何人都謙和。 4耶和華立刻對摩西亞倫米利暗說:「你們三人都到會幕去。」他們就去了。 5耶和華在雲柱中降臨,站在會幕門口呼喚亞倫米利暗,二人就走到前面。 6耶和華說:「你們聽我說,你們中間若有先知,我耶和華必在異象中向他顯現,在夢中跟他說話。 7但我不是這樣對待我的僕人摩西,他是我子民中最忠心的人, 8我跟他面對面說話,清清楚楚,不用謎語,他看得見我的形像。你們怎敢批評我的僕人摩西?」 9耶和華向他們發怒,然後離去。 10雲彩從會幕上離開的時候,米利暗身上患了痲瘋病,像雪一樣白。亞倫見狀, 11便對摩西說:「我主啊,求你不要因我們愚昧犯罪而懲罰我們。 12求你不要讓她像那一出母腹便半身腐爛的死胎。」 13於是,摩西呼求耶和華:「上帝啊,求你醫治她!」 14耶和華對摩西說:「如果她父親在她臉上吐唾沫,她豈不也要蒙羞七天嗎?現在把她關在營外,七天後再讓她回來。」 15於是,米利暗被關在營外七天,民眾等她回營後才繼續前行。 16他們離開哈洗錄,到巴蘭曠野安營。