Nekkemiya 10 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 10:1-39

1Abassaako emikono be bano:

Nekkemiya owessaza,

mutabani wa Kakaliya.

Ne Zeddekiya, 210:2 Ezr 2:2ne Seraya, ne Azaliya, ne Yeremiya,

310:3 1By 9:12ne Pasukuli, ne Amaliya, ne Malukiya,

4ne Kattusi, ne Sebaniya, ne Malluki,

510:5 1By 24:8ne Kalimu, ne Meremoosi, ne Obadiya,

6ne Danyeri, ne Ginnesoni, ne Baluki,

7ne Messulamu, ne Abiya, ne Miyamini,

8ne Maaziya, ne Birugayi ne Semaaya.

Abo be baali bakabona.

910:9 Nek 12:1Abaleevi be bano:

Yesuwa mutabani wa Azaniya, ne Binnuyi batabani ba Kenadaadi ne Kadimiyeeri

10n’abaabayambangako be ba Sebaniya, ne Kodiya,

ne Kerita, ne Peraya, ne Kanani,

11ne Mikka, ne Lekobu, ne Kasabiya,

12ne Zakkuli, ne Serebiya, ne Sebaniya,

13ne Kodiya, ne Baani ne Beninu.

14Abakulembeze b’abantu baali:

Palosi, ne Pakasumowaabu, ne Eramu, ne Zattu, ne Baani,

15ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi,

1610:16 Ezr 8:6ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini,

17ne Ateri, ne Keezeekiya, ne Azzuli,

18ne Kodiya, ne Kasumu, ne Bezayi,

19ne Kalifu, ne Anasosi, ne Nebayi,

2010:20 1By 24:15ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Keziri,

21ne Mesezaberi, ne Zadooki, ne Yadduwa,

22ne Peratiya, ne Kanani, ne Anaya,

2310:23 Nek 7:2ne Koseya, ne Kananiya, ne Kassubu,

24ne Kallokesi, ne Piruka, ne Sobeki,

25ne Lekumu, ne Kasabuna, ne Maaseya,

26ne Akiya, ne Kanani, ne Anani,

27ne Malluki, ne Kallimu ne Baana.

2810:28 a Zab 135:1 b 2By 6:26; Nek 9:2“Abantu abalala bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abaweereza b’omu yeekaalu, n’abo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olw’Amateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera 2910:29 Kbl 5:21; Zab 119:106beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, n’okugonderanga, amateeka gonna, n’ebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.

3010:30 Kuv 34:16; Ma 7:3; Nek 13:23“Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.

3110:31 a Nek 13:16, 18; Yer 17:27; Ez 23:38; Am 8:5 b Kuv 23:11; Lv 25:1-7 c Ma 15:1“Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogw’omusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.

32“Tunaatwalanga obuvunaanyizibwa okuwangayo eri Katonda waffe kimu kya kusatu ekya sekeri10:32 sekeri ze gulaamu nnya buli mwaka olw’obuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe: 3310:33 a Lv 24:6 b Kbl 10:10; Zab 81:3; Is 1:14 c 2By 24:5olw’emigaati egy’okulaga; olw’ekiweebwayo eky’obutta ekya buli kiseera, n’olw’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera, n’olw’ebiweebwayo ebya Ssabbiiti, n’eby’embaga y’omwezi ogwakaboneka, n’embaga ezaateekebwawo n’olw’ebintu ebyatukuzibwa; n’olw’ebiweebwayo olw’ekibi okutangiririra Isirayiri; n’olw’emirimu gyonna egy’omu nnyumba ya Katonda waffe.

3410:34 a Lv 16:8 b Nek 13:31“Ffe bakabona, n’Abaleevi, n’abantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.

3510:35 a Kuv 22:29; 23:19; Kbl 18:12 b Ma 26:1-11“Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.

3610:36 a Kuv 13:2; Kbl 18:14-16 b Nek 13:31“Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, n’ennyana ennume ezisooka ez’ente zaffe, n’ennyana z’amagana gaffe, n’ez’ebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.

3710:37 a Lv 23:17; Kbl 18:12 b Lv 27:30; Kbl 18:21 c Ma 14:22-29 d Ez 44:30“Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira. 3810:38 Kbl 18:26Kabona, ow’omu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu eby’ekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.10:38 Mu luggya lwa Yeekaalu mwalingamu amawanika omwaterekebwanga ebintu ebitukuvu. 3910:39 Ma 12:6; Nek 13:11, 12Abantu ba Isirayiri okwo nga kw’otadde n’Abaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe eby’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, n’omuzigo mu mawanika, ebintu eby’omu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, n’abakuuma wankaaki n’abayimbi gye babeera.

“Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

尼希米記 10:1-39

在約上蓋印的人

1在上面蓋印的有哈迦利亞的兒子尼希米省長,以及西底迦

2祭司有西萊雅亞撒利雅耶利米3巴施戶珥亞瑪利雅瑪基雅4哈突示巴尼瑪鹿5哈琳米利末俄巴底亞6但以理近頓巴錄7米書蘭亞比雅米雅民8瑪西亞璧該示瑪雅

9利未人有亞散尼的兒子耶書亞希拿達的子孫賓內甲篾10以及他們的弟兄示巴尼荷第雅基利他毗萊雅哈難11米迦利合哈沙比雅12撒刻示利比示巴尼13荷第雅巴尼比尼努

14民眾首領有巴錄巴哈·摩押以攔薩土巴尼15布尼押甲比拜16亞多尼雅比革瓦伊亞丁17亞特希西迦押朔18荷第雅哈順比賽19哈拉亞拿突尼拜20抹比押米書蘭希悉21米示薩別撒督押杜亞22毗拉提哈難亞奈雅23何細亞哈拿尼雅哈述24哈羅黑毗利哈朔百25利宏哈沙拿瑪西雅26亞希雅哈難亞南27瑪鹿哈琳巴拿

約的內容

28其餘的民眾、祭司、利未人、殿門守衛、歌樂手、殿役和所有與外族人隔離以便遵從上帝律法的人,以及他們的妻子和兒女等所有能夠明白的人, 29都跟隨他們的貴族同胞起誓要謹遵上帝藉祂僕人摩西頒佈的律法,遵守我們的主耶和華的一切誡命、典章和律例。 30我們不將女兒嫁給當地的人,也不為兒子娶當地的女子。 31如果這地方的居民在安息日或其他聖日帶來貨物和五穀要賣給我們,我們必不購買。我們每逢第七年必不耕種,也必不追討債務。

32我們為自己定下律例,每人每年捐獻四克銀子,供我們上帝的殿使用, 33以支付供餅、日常獻的素祭和燔祭,安息日、朔日10·33 朔日」即每月初一。和其他節期所獻的聖物,為以色列人獻上的贖罪祭,以及我們上帝殿中的各項費用。 34我們的祭司、利未人和民眾抽籤,決定每年哪一族要在指定的時間把獻祭時所需用的木材帶到我們上帝的殿裡,按照律法的規定燒在我們的上帝耶和華的壇上。 35我們把每年地裡初熟的物產和各種樹上初熟的果子獻到耶和華的殿裡。 36我們按照律法的規定獻上我們的長子和頭胎的牛羊,把他們帶到我們上帝的殿中,交給在那裡供職的祭司。 37我們把上好的麵團、舉祭、各樣果子、新酒和新油交給祭司,收進我們上帝殿的庫房裡,並把我們地裡收成的十分之一交給利未人,這是他們在我們所有城邑的出產中當收取的份。 38利未人收取十分之一的時候,要有亞倫子孫中的一位祭司陪同,利未人要從這十分之一中抽出十分之一帶到我們上帝的殿中,收進庫房裡。 39以色列人和利未人要將這些五穀、新酒和新油作為舉祭帶到收藏聖所器皿的地方,即供職的祭司、殿門守衛和歌樂手所住的房子。這樣,我們便不會忽略我們上帝的殿。