Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Eseza 1

Nnabagereka Vasuti Aggyibwa ku Bukulu

1Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. Mu kiseera ekyo Kabaka Akaswero we yafugira mu lubiri e Susani,[a] mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abakungu n’abaami be abakulu embaga. Abaduumizi ba magye aga Buperusi ne Bumeedi, n’abalangira n’abakungu b’amasaza bonna baagiriko.

Yayolesa obugagga n’ekitiibwa n’ettendo eby’obwakabaka bwe okumala emyezi mukaaga. Ennaku ezo bwe zaggwaako, Kabaka n’agabula abantu bonna okuva ku asemberayo ddala okutuuka ku asingirayo ddala ekitiibwa embaga endala eyali mu luggya, mu lubiri e Susani okumala ennaku musanvu. Oluggya lwalimu entimbe ez’engoye enjeru n’eza bbululu, nga zisibiddwa n’emiguwa egya linena omulungi n’olugoye olwa kakobe nga lusibiddwa n’empeta eza ffeeza ku mpagi ez’amayinja aganyirira. Waaliwo n’ebitanda[b] ebya zaabu n’effeeza ku lubalaza olwaliire n’amayinja aganyirira, amamyufu, n’ameeru, n’aga kyenvu n’amaddugavu. Mu kugabula kwa kabaka, wayini yaweerezebwa mu bikopo bya zaabu, nga buli kimu tekifanagana na kinnaakyo, ne wayini wa Kabaka yali mungi ddala. Buli mugenyi yanywanga nga bwe yayagala kubanga kabaka yalagira nti, “Buli mugenyi anywe nga bw’ayagala.”

Ne Nnabagereka Vasuti naye n’agabula abakyala embaga mu lubiri lwa Kabaka Akaswero.

10 Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi, 11 okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ng’atikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu n’abakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala. 12 Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti n’agaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka n’asunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka. 13 Naye Kabaka yalina empisa ey’okwebuuzanga ku bakugu mu by’amateeka, era n’ateesa n’abasajja abagezigezi abategeera ebifa ku nsonga eyo. 14 Amannya ga bakungu abo abakulu omusanvu mu bwakabaka bwe Buperusi ne Bumeedi ge gano: Kalusena, ne Sesali, ne Adumasa, ne Talusiisi, ne Meresi, ne Malusema ne Memukani. Bano be baamubeeranga ku lusegere.

15 Awo Kabaka n’ababuuza nti, “Okusinziira ku mateeka, Nnabagereka Vasuti agwanidde kibonerezo ki olw’obutagondera kiragiro kya Kabaka Akaswero ekimutuusibbwako abalaawe?” 16 Memukani n’addamu Kabaka n’abakungu nti, “Nnabagereka Vasuti asobezza nnyo, ate si eri Kabaka yekka, naye n’eri abakungu n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna Kabaka Akaswero by’afuga. 17 Era olw’enneeyisa Nnabagereka gye yeeyisizaamu, bwe kinaamanyibwa abakyala, nabo bajja kunyoomanga ba bbaabwe nga bagamba nti, ‘Nga Kabaka Akaswero yalagira Nnabagereka Vasuti okuleetebwa gy’ali, n’ajeema.’ 18 Era olunaku lwa leero abakyala bonna mu Buperusi ne Bumeedi aba bakungu abawulidde ku nneeyisa ya Nnabagereka bajjanga kweyisa mu ngeri y’emu eri abakungu ba Kabaka. Era obunyoomi wamu n’obutabanguko tebuggwengawo mu maka. 19 Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga. 20 Awo ekiragiro kya kabaka bwe kinaabuna mu bwakabaka bwonna, abakyala bonna banassangamu ba bbaabwe ekitiibwa okuva ku wawagulu okutuukira ddala ku wawansi asembayo.”

21 Ekigambo ekyo kyasanyusa nnyo Kabaka n’abakungu be, era Kabaka n’akola ng’ekiteeso kya Memukani bwe kyali. 22 N’aweereza obubaka eri ebitundu byonna eby’obwakabaka buli ssaza ebbaluwa yaayo, era buli bantu mu lulimi lwabwe nga bugamba nti buli musajja afugenga mu nnyumba ye.

Notas al pie

  1. 1:2 Susani kye kimu ku bibuga ebikulu ebina eby’Obwakabaka. Ebibuga ebirala byali Babulooni, Perusiyapoliisi ne Ekubatoni. Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi.
  2. 1:6 Abaperusi baalyanga bagalamidde ku bitanda

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以斯帖記 1

亞哈隨魯王大宴群臣

1亞哈隨魯在位期間,統治從印度到古實的一百二十七個省。 亞哈隨魯王在書珊城登基, 他在執政第三年大宴群臣,波斯和瑪代的將領、各省的貴族和大臣都在場。 整整一百八十天,他展示自己帝國的財富和王權的威榮。 之後,他又一連七天在御花園宴請書珊城裡所有的居民,無論尊卑。 御花園裡有白色的棉帳和藍色的彩帳,用細麻繩和紫色繩繫在大理石柱的銀環上。有金銀製成的床榻擺在各色斑岩、大理石、珍珠貝殼及其他貴重石頭鋪成的地上。 飲酒用的是各式各樣的金器皿,御酒大量供應,足顯王的慷慨。 喝酒有個規矩,不許勉強人,因為王吩咐過宮裡所有的侍從,招待各人要隨其所願。 瓦實提王后也在亞哈隨魯王的宮裡設宴招待女賓。

瓦實提王后被廢

10 第七天,亞哈隨魯王喝得心中暢快,就吩咐在王身邊服侍的米戶幔、比斯他、哈波拿、比革他、亞拔他、西達和甲迦七位太監, 11 去請瓦實提王后戴著后冠到王面前,向百姓和官員展現她的美貌,因為她非常美麗。 12 但瓦實提王后違抗太監所傳的諭旨,拒絕前來,王非常生氣,怒火中燒。

13 王有事習慣徵求通曉律例和法則之人的意見,於是他去問精通時務的哲士。 14 那時,靠近王的有甲示拿、示達、押瑪他、他施斯、米力、瑪西拿和米姆干七位波斯和瑪代的大臣,他們常見王的面,在國中身居高位。 15 王問他們:「瓦實提王后違抗太監所傳的諭旨,按律該如何處置她?」

16 米姆干當著王和大臣們的面說:「瓦實提王后不但冒犯了王,而且有害於舉國的臣民。 17 因為王后的事必傳到所有婦女的耳中,致使她們藐視自己的丈夫,因為她們會說,『亞哈隨魯王請瓦實提王后到他面前,她卻不去。』 18 今天,波斯和瑪代的貴婦聽到王后這事,也會如此對待王的大臣,藐視和惱怒之事必層出不窮。 19 王若願意,就請降旨不准瓦實提再到王面前,把她王后的位分賜給比她更好的女子,並將此諭旨寫入波斯和瑪代的律法,永不更改。 20 王的諭旨傳遍王遼闊的國境後,所有的婦女,無論丈夫貴賤,都必尊重他們。」

21 王和大臣們都贊同米姆干的建議,王便依照他的建議, 22 用各省的文字和各族的語言寫諭旨,通告各省,丈夫要做一家之主,說話有權柄。