Nekkemiya 9 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 9:1-38

Abayirisirayiri Baatula Ebibi Byabwe

19:1 Yos 7:6; 1Sa 4:12Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe. 29:2 a Nek 13:3, 30 b Ezr 10:11; Zab 106:6Ab’ezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bannamawanga bonna, ne bayimirira mu bifo byabwe ne baatula ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe. 3Ne bayimirira we baali ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu, n’oluvannyuma ne baatula era ne basinza Mukama Katonda waabwe okumala essaawa endala nga ssatu. 49:4 Ezr 10:23Bano be Baleevi abaali bayimiridde ku madaala: Yesuwa, ne Baani, ne Kadumyeri, ne Sebaniya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani ne Kenani, abaakoowoolanga Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery’omwanguka. 59:5 Zab 78:4Awo Abaleevi, Yesuwa, ne Kadumyeri, ne Baani, ne Kasabuneya, ne Serebiya, ne Kodiya, ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti, “Muyimirire, mwebaze Mukama Katonda wammwe ow’emirembe n’emirembe.”

“Erinnya lyo ligulumizibwe, litiibwe era ligulumizibwe okukira okusinza kwonna n’okutendereza kwonna. 69:6 a Ma 6:4 b 2Bk 19:15 c Lub 1:1; Is 37:16 d Zab 95:5 e Ma 10:14Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, n’eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, n’ensi n’ebigirimu byonna, n’ennyanja n’ebigirimu byonna. Buli kintu gw’okiwa obulamu, era n’eggye ery’omu ggulu likusinza.

79:7 a Lub 11:31 b Lub 17:5“Ggwe Mukama Katonda, eyalonda Ibulaamu n’omuggya mu Uli eky’Abakaludaaya n’omutuuma Ibulayimu. 89:8 a Lub 15:18-21 b Yos 21:45 c Lub 15:6; Ezr 9:15Walaba omutima gwe nga mwesigwa gy’oli, n’okola naye endagaano, okuwa bazzukulu be ensi ey’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abayebusi, n’Abagirugaasi; era otuukiriza ekyo kye wasuubiza kubanga oli mutuukirivu.

99:9 a Kuv 3:7 b Kuv 14:10-30“Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri, n’owulira okukaaba kwabwe ku lubalama lw’Ennyanja Emyufu.9:9 ye Nnyanja ey’Ebitoogo 109:10 a Kuv 10:1 b Yer 32:20; Dan 9:15Waweereza obubonero obwewuunyisa n’ebyamagero eri Falaawo, n’eri abakungu be, n’eri abantu be bonna ab’ensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, n’okutuusa leero. 119:11 a Kuv 14:21; Zab 78:13 b Kuv 15:4-5, 10; Beb 11:29Wayawula mu mazzi g’ennyanja n’ogalaza ebbali n’ebbali mu maaso gaabwe, ne bayita wakati mu y’oku lukalu, naye abaali babagoberera wabazaaya mu buziba, ng’ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag’amaanyi. 129:12 a Kuv 15:13 b Kuv 13:21Emisana wakulemberanga abantu bo n’empagi ey’ekire, era n’ekiro wabakulemberanga n’empagi ey’omuliro okubamulisiza ekkubo lye baali bateekwa okukwata.

139:13 a Kuv 19:11 b Kuv 19:19 c Zab 119:137 d Kuv 20:1“Wava mu ggulu, n’okka ku Lusozi Sinaayi n’oyogera gye bali. Wabawa ebiragiro eby’obwenkanya, n’amateeka ag’amazima, byonna nga birungi. 149:14 Lub 2:3; Kuv 20:8-11Wabamanyisa Ssabbiiti yo entukuvu, era n’obawa ebiragiro n’amateeka ng’oyita mu muddu wo Musa. 159:15 a Kuv 16:4; Yk 6:31 b Kuv 17:6; Kbl 20:7-13 c Ma 1:8, 21Bwe baalumwa enjala wabawa emmere okuva mu ggulu, ne bwe baalumwa ennyonta n’obawa amazzi okuva mu lwazi; n’obagamba bagende balye ensi gye wabalayiririra.

169:16 Ma 1:26-33; 31:29“Naye bo bajjajjaffe ne beekulumbaza ne bakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera biragiro byo. 179:17 a Zab 78:42 b Kbl 14:1-4 c Kuv 34:6 d Kbl 14:17-19 e Zab 78:11Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka. 189:18 Kuv 32:4Ne bwe beebumbira ennyana ensanuuse ne boogera nti, ‘Ono ye katonda wammwe eyabaggya mu Misiri,’ ne bakola n’ebitasaana bingi, mu kusaasira kwo okungi tewabaleka mu ddungu.

19“Emisana, empagi ey’ekire teyalekerawo kubaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, newaakubadde ekiro, empagi ey’omuliro nayo teyalekerawo kubaakira mu kkubo lye baali bateekwa okukwata. 209:20 a Kbl 11:17; Is 63:11, 14 b Kuv 16:15 c Kuv 17:6Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga n’amazzi okumalawo ennyonta yaabwe. 219:21 a Ma 2:7 b Ma 8:4Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so n’engoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.

229:22 a Kbl 21:21 b Kbl 21:33“Wabawa obwakabaka n’amawanga, n’obawa na buli nsonda ey’ebyalo. Baalya ensi ya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. 23Wayaza abazzukulu baabwe ne baba bangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, n’obaleeta mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagirye. 249:24 Yos 11:23Bazzukulu baabwe baayingira ne balya ensi, ne bawangula Abakanani abaabeeranga mu nsi, n’obawaayo mu mikono gyabwe wamu ne bakabaka baabwe, n’abantu b’ensi zaabwe ne babakola nga bwe baagala. 259:25 a Ma 6:10-12 b Kbl 13:27; Ma 32:12-15Baawamba ebibuga ebyaliko bbugwe n’ensi enjimu, ne batwala amayumba agaali gajudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, enzizi ezasimibwa edda, n’ennimiro ez’emizabbibu, n’ennimiro ez’emizeeyituuni, n’emiti egy’ebibala mingi nnyo. Baalya ne bakkuta era ne banyirira, n’okubasanyusa n’obasanyusanga olw’obulungi bwo.

269:26 a 1Bk 14:9 b Mat 21:35-36 c Bal 2:12-13“Naye tebaakugondera, baakujeemera ne batagoberera mateeka go. Batta bannabbi bo, abaababuuliriranga okudda gy’oli; baakola ebitasaana. 279:27 a Bal 2:14 b Zab 106:45Kyewava obawaayo eri abalabe baabwe ne bababonyaabonya. Naye nga babonaabona bwe batyo, ne bakukaabirira, n’obawulira okuva mu ggulu, n’olw’okusaasira kwo okungi ennyo n’obaweereza abaabanunula era abaabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.

289:28 Zab 106:43“Naye bwe baafunanga emirembe, baddangamu okukola ebibi mu maaso go. Kyewava obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, babafuge. Bwe baakukaabiriranga nate, ng’obawulira okuva mu ggulu, n’obalokolanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kuli.

299:29 a Zab 5:5; Is 2:11; Yer 43:2 b Ma 30:16 c Zek 7:11-12“Wabalabula okuddamu okugoberera amateeka go, naye ne baba b’amalala, ne batagondera biragiro byo. Baajeemera ebiragiro, ebireetera omuntu obulamu bw’aba ng’abigondedde. Baakunyooma ne bakuvaako, ne bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira. 309:30 2Bk 17:13-18; 2By 36:16Wabagumiikiriza okumala emyaka mingi, Omwoyo wo n’abayigirizanga ng’ayita mu bannabbi bo, naye ne batassaayo mwoyo, kyewava obawaayo mu mukono gw’abamawanga agabaliraanye. 319:31 Is 48:9; Yer 4:27Naye olw’okusaasira kwo okungi, tewabaviirako ddala so tewabaleka, kubanga oli Katonda ow’ekisa era ajjudde okusaasira.

329:32 a Zab 24:8 b Ma 7:9“Kale nno, Ayi Katonda waffe, omukulu ow’ekitiibwa, Katonda ow’entiisa, akuuma endagaano ye ey’okwagala, toganya bizibu bino byonna kututuukako: ebizibu ebyatuuka ne ku bakabaka baffe, ne ku bakulembeze baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna okuva mu biro ebya bakabaka b’e Bwasuli n’okutuusa leero. 339:33 a Lub 18:25 b Yer 44:3; Dan 9:7-8, 14Mu byonna ebitutuukako, wali wa bwenkanya, era omwesigwa naye ffe nga tukola bibi byereere. 349:34 a 2Bk 23:11 b Yer 44:17Bakabaka baffe, n’abakulembeze baffe, ne bakabona baffe, ne bajjajjaffe, tebaagobereranga mateeka go, nga tebassaayo mwoyo ku biragiro byo newaakubadde nga wabalabulanga. 359:35 a Is 63:7 b Ma 28:45-48Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi.

369:36 Ma 28:48; Ezr 9:9“Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu n’ebirungi ebirala by’ereeta. 379:37 Ma 28:33; Kgb 5:5Olw’ebibi byaffe, ebikungulwa eby’ensi eyo ebingi bitwalibwa bakabaka be wassaawo okutufuga. Batufuga n’ente zaffe nga bwe baagala, era tuli mu nnaku nnyingi nnyo.”

Endagaano ey’Abantu ne Katonda waabwe

389:38 a 2By 23:16 b Is 44:5“Olw’ebyo byonna, tukola naawe endagaano ey’enkalakkalira, ne tugiteeka mu buwandiike; abakulembeze baffe, n’Abaleevi baffe, ne bakabona baffe ne bagissaako omukono n’envumbo zaabwe.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

尼希米記 9:1-38

以色列人認罪禱告

1這月二十四日,以色列人聚集禁食。他們身披麻衣,頭撒塵土。 2以色列人與其他外族人隔離,站著承認自己的罪惡和祖先的過犯。 3他們站在自己的地方,宣讀他們上帝耶和華的律法書,長達三個小時9·3 三個小時」希伯來文是「一天的四分之一」。。他們又用了三個小時認罪,敬拜他們的上帝耶和華。 4利未耶書亞巴尼甲篾示巴尼布尼示利比巴尼基拿尼站在臺上,大聲呼求他們的上帝耶和華。 5利未耶書亞甲篾巴尼哈沙尼示利比荷第雅示巴尼毗他希雅說:「起來稱頌你們的上帝耶和華,直到永永遠遠。耶和華啊,你榮耀的聖名當受稱頌!願你的名被尊崇,超過一切稱頌和讚美!

6「你,唯有你是耶和華!你造了天、天上的天和天上的萬象、地和地上的一切、海和海中的一切,你賜給他們生命。眾天軍都敬拜你。 7你是耶和華上帝,你揀選了亞伯蘭,帶他離開迦勒底吾珥,又給他改名為亞伯拉罕8你知道他對你忠心,就與他立約,把迦南人、人、亞摩利人、比利洗人、耶布斯人及革迦撒人的土地賜給他的後代。你實現了你的應許,因為你是公義的。

9「你看見我們祖先在埃及所受的苦,又聽見他們在紅海邊的呼求, 10就行神蹟奇事對付法老及其所有的臣僕和國民,因為你知道他們對以色列人行事狂傲。你使自己威名遠揚直到今日。 11你在我們祖先面前把海水分開,使他們在海中走乾地過去;你把追趕他們的人扔進深海,好像把石頭扔進大水中。 12白天,你用雲柱帶領他們;夜間,你用火柱照亮他們當走的路。 13你降臨在西奈山,從天上與他們說話,賜給他們公正的典章、信實的律法、美好的律例和誡命。 14你使他們知道你的神聖安息日,藉你僕人摩西賜給他們誡命、律例和法度。 15他們餓了,你賜下天糧給他們吃;他們渴了,你使磐石流出水給他們喝。你吩咐他們去佔領你起誓賜給他們的土地。 16但我們的祖先行事狂傲,頑固不化,不肯聽從你的誡命。 17他們拒絕聽從,忘記了你為他們所行的奇事,頑固不化,自立首領要回埃及做奴隸。但你是樂意饒恕,有恩典,有憐憫,不輕易發怒,充滿慈愛的上帝,你沒有離棄他們。 18縱使他們為自己鑄造了一頭牛犢,聲稱那是把他們帶出埃及的上帝,大大褻瀆了你, 19你還是對他們大施憐憫,沒有在曠野離棄他們。白天,雲柱沒有離開他們,仍然引導他們前行;夜間,火柱仍然照亮他們當走的路。 20你差遣你良善的靈去教導他們,沒有停止賜他們嗎哪吃,也沒有停止賜他們水喝。 21在曠野的四十年間,你供養他們,使他們一無所缺,他們的衣服沒有穿破,腳也沒有走腫。

22「你將列國和萬民賜給他們,為他們劃分疆界,他們佔領了希實本西宏巴珊的土地。 23你使他們的子孫多如天上的星星,你帶領他們進入你應許他們祖先的土地。 24他們的子孫進去佔領了那地方,你在他們面前制伏了那裡的迦南人,把迦南諸王和那地方的人交在他們手裡,任由他們處置。 25他們奪取堅固的城池、肥沃的土地、裝滿美物的房屋、挖好的水井、葡萄園、橄欖園以及各樣的果樹。他們吃得飽足,身體發胖,享受你的厚恩。

26「然而,他們不順從你,背叛你,把你的律法拋在背後,又殺掉勸誡他們歸向你的眾先知,大大褻瀆了你。 27於是你把他們交在欺壓他們的仇敵手中。他們在患難中向你呼求,你就從天上垂聽,懷著豐盛的憐憫賜給他們拯救者,把他們從仇敵手中拯救出來。 28可是,他們得享平安後,又在你面前作惡,於是你離棄他們,把他們交在敵人手中,使敵人統治他們。他們回轉向你呼求,你就從天上垂聽,你一次次地懷著憐憫拯救他們。 29你警告他們,要使他們遵守你的律法,但他們行事狂傲,不聽從你的誡命,干犯你的典章。人若遵行這典章就必存活,但他們背棄你,頑固不化,不肯聽從。 30你多年來容忍他們,差遣你的靈藉著你的眾先知警告他們,但他們依然不肯聽從,於是你把他們交在列邦手中。 31然而,你大施憐憫,沒有完全毀滅他們,也沒有離棄他們,因為你是有恩典和憐憫的上帝。

32「因此,我們的上帝啊,你是偉大、全能、可畏、守約、施慈愛的上帝,求你不要輕看我們的王、首領、祭司、先知、祖先和你的子民從亞述諸王時代直到今天所受的苦難。 33在這臨到我們的一切事上,你都是公義的,因為你行事信實,我們行事邪惡。 34我們的王、首領、祭司和祖先沒有遵行你的律法,也沒有留心聽從你的誡命和你給他們的警告。 35他們即使在本國,在你賜給他們廣闊肥沃的土地上得享你的厚恩,也不事奉你,不離開惡道。 36今天,我們淪為奴隸,在你賜給我們祖先的土地上,在你讓我們祖先享用其出產和各樣美物的土地上,我們淪為奴隸。 37因為我們的罪過,這地方的豐富出產都歸給了那些你派來統管我們的王。他們隨意統管我們和我們的牲畜。我們生活在極大的苦難中。

38「鑒於這一切,我們鄭重立約,記載下來。我們的首領、利未人和祭司都在上面蓋了印。」