Malaki 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Malaki 2:1-17

Okulabula Bakabona

12:1 nny 7“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. 22:2 Ma 28:20Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.

32:3 a Kuv 29:14 b 1Bk 14:10“Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange. 42:4 Kbl 3:12Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 52:5 a Ma 33:9 b Kbl 25:12“Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange. 62:6 a Ma 33:10 b Yer 23:22; Yak 5:19-20Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.

72:7 a Yer 18:18 b Kbl 27:21 c Lv 10:11“Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama ow’Eggye. 82:8 Yer 18:15Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 92:9 1Sa 2:30“Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”

Okulabula eri Abatali Beesigwa mu Maka

102:10 a 1Ko 8:6 b Kuv 19:5Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?

112:11 a Nek 13:23 b Ezr 9:1; Yer 3:7-9Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale. 122:12 a Ez 24:21 b Mal 1:10Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!

132:13 Yer 14:12Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako. 142:14 Nge 5:18Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.

152:15 a Lub 2:24; Mat 19:4-6 b 1Ko 7:14Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

162:16 Ma 24:1; Mat 5:31-32; 19:4-9“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

Olunaku olw’Okusala Omusango

172:17 Is 43:24Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe.

Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?”

Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

玛拉基书 2:1-17

1祭司们啊,这诫命是传给你们的。 2万军之耶和华说:“如果你们不听从我的话,也不从内心尊崇我的名,我必使咒诅临到你们,把你们的福气变成咒诅。事实上,因为你们不把我的诫命放在心上,我已经咒诅了你们。 3我必斥责你们的子孙,把你们祭牲的粪便抹在你们脸上,又把你们和粪便一同丢掉, 4你们便知道我这样告诫你们,是为了维持我与你们祖先利未所立的约。这是万军之耶和华说的。 5我与他所立的是生命和平安之约,我将生命和平安赐给他,使他心存敬畏。他就尊崇我,敬畏我的名。 6他口中教导真理,嘴里毫无诡诈。他与我同行,过着平安正直的生活,并引导许多人远离罪恶。 7祭司的嘴唇应持守知识,人民应从他口中寻求训诲,因为他是万军之耶和华的使者。 8然而,你们却偏离正道,你们的教导使许多人跌倒,破坏了我和利未所立的约。”这是万军之耶和华说的。 9“因此,我必使你们在众人面前遭藐视、轻贱。因为你们不遵守我的道,在教导上偏心待人。”

10难道我们不是出于同一位父亲,由同一位上帝所造吗?为何我们竟彼此欺骗,背弃上帝与我们祖先所立的约呢? 11犹大人不忠贞,在以色列耶路撒冷做了可憎的事,他们娶信奉外邦神明的女子为妻,亵渎了耶和华所爱的圣所。 12愿耶和华从雅各的帐篷中铲除所有做这事并献供物给万军之耶和华的人!

13另外,你们哀哭悲叹,眼泪甚至淹没了耶和华的祭坛,因为耶和华不再理会你们的供物,不再悦纳你们所献的。 14你们还问为什么。因为耶和华在你和你的发妻中间作证,她是你的配偶,是你盟约的妻子,你却对她不忠。 15上帝不是把你们结合为一体,叫你们肉体和心灵都归祂吗2:15 此句希伯来文语意不清。?祂为何这样做?是为了得敬虔的后裔。所以,你们要小心谨慎,不可对自己的发妻不忠。 16以色列的上帝耶和华说:“我憎恶休妻和以暴虐待妻子的人。所以你们要小心谨慎,不可有不忠的行为。”这是万军之耶和华说的。 17你们说的话使耶和华厌烦,然而,你们还说:“我们在何事上令祂厌烦呢?”因为你们说:“耶和华将所有作恶者视为好人,并且喜悦他们”,还说:“公义的上帝在哪里?”