Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zekkaliya 1

Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali

1Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:

Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama. Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna? Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?

“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”

Nnabbi Ayolesebwa Embalaasi

Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.

Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.

Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”

10 Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.” 11 Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”

12 Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” 13 Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.

14 Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi, 15 naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’

16 “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

17 “Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”

18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”

N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”

20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana. 21 Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”

N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒迦利亚书 1

呼唤人民归向耶和华

1大流士王二年八月,耶和华对易多的孙子、比利迦的儿子撒迦利亚先知说: “耶和华曾对你们的祖先大发怒气。 因此,你要告诉百姓,万军之耶和华说,‘你们要归向我,我就回到你们那里。这是万军之耶和华说的。 不要像你们的祖先一样。以前的先知曾呼唤他们要听从万军之耶和华的话,改邪归正,停止作恶,他们却置若罔闻,不予理会。这是耶和华说的。 现在你们的祖先在哪里呢?那些先知能活到永远吗? 然而,我吩咐我仆人——众先知的训言和律例岂不应验在你们祖先的头上了吗?后来他们悔改了,说,万军之耶和华按着我们的所作所为报应了我们,正如祂所言。’”

有关骑士的异象

大流士王二年十一月,即细罢特月二十四日,耶和华的话传给了易多的孙子、比利迦的儿子撒迦利亚先知。 我在夜间看到异象,见有人骑着一匹红马,站在谷中的番石榴树林间,后面有红马、棕马和白马骑士。 我就问:“主啊,这是什么意思?”那位跟我说话的天使说:“我会告诉你这是什么意思。” 10 站在番石榴树林间的那位对我说:“这些是耶和华派来巡视大地的。” 11 其他骑士向站在番石榴树林间的那位耶和华的天使报告说:“我们已经巡视了大地,到处都安宁平静。”

12 耶和华的天使说:“万军之耶和华啊,你向耶路撒冷和犹大的城邑发怒已经七十年了,还要多久你才会怜悯他们呢?” 13 耶和华用仁慈、安慰的话回答那位与我说话的天使。

14 那位天使对我说:“你要宣告,万军之耶和华说,‘我对耶路撒冷,对锡安充满了火热的爱。 15 我对安逸的列国充满愤怒,因为我只是对我的子民稍微不满,列国却大肆祸害他们。’ 16 因此,耶和华说,‘我必怀着怜悯的心回到耶路撒冷,我的殿必在那里重建,必有准绳丈量耶路撒冷。这是万军之耶和华说的。’ 17 你还要宣告,万军之耶和华说,‘我的城邑必再次繁荣昌盛,耶和华必再次安慰锡安,拣选耶路撒冷。’”

有关角和工匠的异象

18 我又举目观看,见有四个角。 19 于是,我问与我说话的天使:“这是什么?”他回答说:“这些是驱散犹大、以色列和耶路撒冷的角。” 20 耶和华又让我看见四个工匠。 21 于是我问:“他们来做什么?”他说:“这些角驱散了犹大,以致无人能抬头,但这些工匠是来威吓列国,并打掉他们用来攻击和驱散犹大的角。”