Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Matayo 1

Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo

1Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:

Ibulayimu yazaala Isaaka,

Isaaka n’azaala Yakobo,

Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.

Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,

Pereezi n’azaala Kezirooni,

Kezirooni n’azaala Laamu.

Laamu yazaala Aminadaabu,

Aminadaabu n’azaala Nasoni,

Nasoni n’azaala Salumooni.

Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,

Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.

Obedi n’azaala Yese.

Yese yazaala Kabaka Dawudi.

Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.

Sulemaani yazaala Lekobowaamu,

Lekobowaamu n’azaala Abiya,

Abiya n’azaala Asa.

Asa n’azaala Yekosafaati,

Yekosafaati n’azaala Yolaamu,

Yolaamu n’azaala Uzziya.

Uzziya n’azaala Yosamu,

Yosamu n’azaala Akazi,

Akazi n’azaala Keezeekiya.

10 Keezeekiya n’azaala Manaase,

Manaase n’azaala Amosi,

Amosi n’azaala Yosiya.

11 Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.

12 Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:

Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,

Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.

13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,

Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,

Eriyakimu n’azaala Azoli.

14 Azoli n’azaala Zadooki,

Zadooki n’azaala Akimu,

Akimu n’azaala Eriwuudi.

15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,

Eriyazaali n’azaala Mataani,

Mataani n’azaala Yakobo.

16 Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.

Okuzaalibwa kwa Yesu

18 Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19 Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.

20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”

24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马太福音 1

耶稣基督的家谱

1耶稣基督是亚伯拉罕的子孙、大卫的后裔,以下是祂的家谱:

亚伯拉罕生以撒,

以撒生雅各,

雅各生犹大和他的兄弟,

犹大和她玛生法勒斯和谢拉,

法勒斯生希斯仑[a]

希斯仑生兰,

兰生亚米拿达,

亚米拿达生拿顺,

拿顺生撒门,

撒门和喇合生波阿斯,

波阿斯和路得生俄备得,

俄备得生耶西,

耶西生大卫王。

大卫和乌利亚的妻子生所罗门,

所罗门生罗波安,

罗波安生亚比雅,

亚比雅生亚撒,

亚撒生约沙法,

约沙法生约兰,

约兰生乌西雅,

乌西雅生约坦,

约坦生亚哈斯,

亚哈斯生希西迦,

10 希西迦生玛拿西,

玛拿西生亚们,

亚们生约西亚,

11 约西亚生耶哥尼雅和他的兄弟,

那时以色列人被掳往巴比伦。

12 被掳到巴比伦以后,

耶哥尼雅生撒拉铁,

撒拉铁生所罗巴伯,

13 所罗巴伯生亚比玉,

亚比玉生以利亚敬,

以利亚敬生亚所,

14 亚所生撒督,

撒督生亚金,

亚金生以律,

15 以律生以利亚撒,

以利亚撒生马但,

马但生雅各,

16 雅各生约瑟。

约瑟就是玛丽亚的丈夫,

那被称为基督[b]的耶稣就是玛丽亚生的。

17 这样,从亚伯拉罕到大卫共有十四代,从大卫到被掳至巴比伦也是十四代,从被掳至巴比伦到基督降生也是十四代。

耶稣的降生

18 以下是耶稣基督降生的经过。

耶稣的母亲玛丽亚和约瑟订了婚,还没有成亲就从圣灵怀了孕。 19 约瑟是个义人,不愿公开地羞辱她,便决定暗中和她解除婚约。 20 他正在考虑这事的时候,主的一位天使在梦中向他显现,说:“大卫的后裔约瑟,不要怕,把玛丽亚娶过来,因为她所怀的孕是从圣灵来的。 21 她将生一个儿子,你要给祂取名叫耶稣[c],因为祂要把自己的子民从罪恶中救出来。”

22 这一切应验了主借着先知所说的话: 23 “必有童贞女怀孕生子,祂的名字要叫以马内利,意思是‘上帝与我们同在’。” 24 约瑟醒来,就遵从主的天使的吩咐和玛丽亚结婚, 25 只是在她生下孩子之前没有与她同房。约瑟给孩子取名叫耶稣。

Notas al pie

  1. 1:3 ”希腊文是“亚兰”。
  2. 1:16 基督”意思是“受膏者”。
  3. 1:21 耶稣”意思是“救主”。