Matayo 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 2:1-23

Okukyala kw’Abagezigezi

12:1 a Luk 2:4-7 b Luk 1:5Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 22:2 a Yer 23:5; Mat 27:11; Mak 15:2; Yk 1:49; 18:33-37 b Kbl 24:17“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

3Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 52:5 Yk 7:42Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

62:6 2Sa 5:2; Mi 5:2“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,

toli mutono mu balangira ba Yuda,

kubanga omufuzi aliva mu ggwe,

alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

7Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”

9Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 112:11 a Is 60:3 b Zab 72:10Bwe baayingira mu nnyumba2:11 nnyumba: abasajja abagezi tebaakyalira Yesu mu kiraalo ky’ente ekiro lwe yazaalibwa. Bajja wayiseewo ebbanga, kyebaava bamusanga mu nnyumba ng’ali ne nnyina. Newaakubadde ng’ebirabo byali bisatu, tekitegeeza nti abasajja abagezi baali basatu oba nti baali bakabaka. ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 122:12 a Beb 11:7 b nny 13, 19, 22; Mat 27:19Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Okuddukira e Misiri

132:13 a Bik 5:19 b nny 12, 19, 22Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 152:15 Kuv 4:22, 23; Kos 11:1Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:

“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”

Okutta Abaana Abato

16Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,

182:18 Yer 31:15“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,

okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,

nga Laakeeri akaabira abaana be,

nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,

kubanga bonna baweddewo.”

Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi

192:19 nny 12, 13, 22Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”

21Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 222:22 a nny 12, 13, 19; Mat 27:19 b Luk 2:39Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo2:22 Alukerawo yali mutabani wa Kerode nga yafuga Buyudaaya ne Samaliya, era yafugira emyaka kkumi gyokka. Yali mukambwe nnyo ate nga wa ttima, kyeyava aggyibwa ku bufuzi, n’oluvannyuma ebitundu ebyo bye yafuganga, byafugibwa abaamasaza abaali balondeddwa Kayisaali. mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 232:23 a Luk 1:26; Yk 1:45, 46 b Mat 1:22 c Mak 1:24n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马太福音 2:1-23

智者来朝拜

1希律王执政期间,耶稣降生在犹太伯利恒城。

当时有几位智者2:1 智者”或译“占星家”下同7节和16节。从东方来到耶路撒冷2问道:“那生来做犹太人之王的在哪里呢?我们在东方看见祂的星,特来朝拜祂。”

3希律王听后,心里不安,全城的人都感到不安。 4希律王就召来祭司长和律法教师,问他们:“基督在哪里降生呢?”

5他们回答说:“在犹太伯利恒,因为先知这样记载,

6“‘犹大地区的伯利恒啊!

你在犹大各城中并不是最小的,

因为有一位君王要从你那里出来,

牧养我的以色列子民。’”

7于是,希律暗中召见那几位智者,仔细查问那星出现的准确时间, 8然后派他们去伯利恒,并吩咐道:“你们去仔细寻访那个小孩,找到了,就回来报信,我也好去朝拜祂。”

9他们听了王的吩咐,就去了。忽然,那颗曾在东方出现的星又出现在他们前面,引领他们来到小孩耶稣所在的地方,便停下来。 10他们看见那颗星,喜出望外。

11他们进了屋子,看见孩子和祂母亲玛丽亚,就俯伏在地上拜祂,并打开盛宝物的盒子献上黄金、乳香和没药作礼物。 12他们在梦中得到指示不可回希律那里,便改道返回了家乡。

逃往埃及

13他们离开之后,主的天使在梦中向约瑟显现,说:“起来,带着小孩子和祂母亲逃往埃及,住在那里等候我的通知,因为希律要寻找这孩子,杀害祂。” 14于是,约瑟起来带着孩子和祂母亲连夜逃往埃及15并在那里一直住到希律死了。这就应验了主借着先知所说的话:“我把儿子从埃及召出来。”

16希律见自己被智者愚弄,大为恼怒,便照着智者所说的时间推算,下令把伯利恒附近两岁以下的男孩杀光。 17这正应验了耶利米先知的话:

18“在拉玛有痛哭哀号的声音,

拉结在为儿女哀痛,

不肯接受安慰,

因为他们都死了!”

定居拿撒勒

19希律死后,主的天使在梦中向在埃及约瑟显现,说: 20“起来,带着孩子和祂母亲回以色列去吧!因为要杀害孩子的人已经死了。” 21约瑟就起来,带着孩子和祂母亲返回以色列

22约瑟听闻亚基劳继承父亲希律的王位统治犹太,就不敢回犹太。这时,他在梦中得到主的指示,便前往加利利地区, 23定居在拿撒勒镇。这应验了先知的话:“祂将被称为拿撒勒人。”