Abaruumi 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 5:1-21

Emirembe n’essanyu

15:1 Bar 3:28Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, 25:2 a Bef 2:18 b 1Ko 15:1 c Beb 3:6era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. 35:3 a Mat 5:12 b Yak 1:2, 3Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. 4Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. 55:5 a Baf 1:20 b Bik 2:33Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

65:6 a Bag 4:4 b Bar 4:25Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. 7Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. 85:8 Yk 15:13; 1Pe 3:18Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.

95:9 a Bar 3:25 b Bar 1:18Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. 105:10 a Bar 11:28; Bak 1:21 b 2Ko 5:18, 19; Bak 1:20, 22 c Bar 8:34Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe? 11So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Okufa mu Adamu n’Obulamu mu Kristo

125:12 a nny 15, 16, 17; 1Ko 15:21, 22 b Lub 2:17; 3:19; Bar 6:23Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa. 135:13 Bar 4:15Ekibi kyaliwo mu nsi ng’amateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olw’ebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo. 145:14 1Ko 15:22, 45Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma. 155:15 a nny 12, 18, 19 b Bik 15:11Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi. 16Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. 175:17 nny 12Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?

185:18 a nny 12 b Bar 4:25Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu. 195:19 a nny 12 b Baf 2:8Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.

205:20 a Bar 7:7, 8; Bag 3:19 b 1Ti 1:13, 14Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. 215:21 nny 12, 14Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

罗马书 5:1-21

与上帝和好

1我们既然因信而被称为义人,就借着我们的主耶稣基督与上帝和好了。 2我们又靠着祂,借着信进入现在所站的这恩典中,欢欢喜喜地盼望分享上帝的荣耀。 3不但如此,我们在苦难中也欢喜,因为知道苦难使人生忍耐, 4忍耐生品格,品格生盼望。 5这种盼望不会落空,因为上帝的爱借着所赐给我们的圣灵已倾注在我们心中。

6当我们还软弱无助的时候,基督就在所定的日期为罪人死了。 7为义人死,是罕见的;为好人死,也许有敢做的; 8但基督却在我们还做罪人的时候为我们死!上帝的爱就这样显明了。

9现在,我们既然因祂所流的血而被称为义人,岂不更要靠着祂免受上帝的烈怒吗? 10如果我们还与上帝为敌的时候,尚且可以借着上帝儿子的死亡与上帝和好,和好后的我们岂不更要借着祂儿子的生命得到拯救吗? 11不但如此,我们借着主耶稣基督与上帝和好之后,还要借着祂在上帝面前欢喜。

亚当与基督

12因此,罪怎样从一个人进入世界并带来了死亡,死亡也怎样临到了全人类,因为全人类都犯了罪。 13没有律法之前,罪已经在世上了;但没有律法,罪也不算为罪。 14事实上,从亚当摩西的时代,死亡一直辖制着人类,甚至连那些不与亚当犯同样罪的人也不能幸免。亚当是将要来的那位的预表。

15然而,上帝的洪恩远超过亚当的过犯。若因一人的过犯,众人都要死亡,那么上帝的恩典,也就是通过耶稣基督一人所赐的恩典,岂不要更丰富地临到众人吗? 16再者,上帝的恩赐不同于一人犯罪的后果。一人犯罪便带来审判和定罪,恩赐却使众人罪恶得赦、被称为义人。 17如果因一人的过犯,死亡就借着那人做了王,那么接受上帝洪恩又得到祂所赐之义的人,岂不更要借着耶稣基督一人在生命中做王吗?

18如此说来,因为一人的过犯,众人都被定罪;照样,因为一人的义行,众人都被称为义人,得到生命。 19因为一人的悖逆,众人成为罪人;照样,因为一人的顺服,众人将被称为义人。 20律法是后来颁布的,使过犯更多地显出来,只是哪里的罪越多,哪里的恩典就显得越丰富。 21罪怎样掌权带来死亡5:21 罪怎样掌权带来死亡”或译“罪怎样借着死亡掌权”。,恩典也照样借着义掌权,为要借着我们主耶稣基督带来永生。