Ebikolwa byʼAbatume 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 1:1-26

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

11:1 a Luk 1:1-4 b Luk 3:23Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, 21:2 a nny 9, 11; Mak 16:19 b Mat 28:19, 20 c Mak 6:30 d Yk 13:18okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 31:3 Mat 28:17; Luk 24:34, 36; Yk 20:19, 26; 21:1, 14; 1Ko 15:5-7Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. 41:4 Luk 24:49; Yk 14:16; Bik 2:33Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, 5‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”

61:6 Mat 17:11Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”

71:7 Mat 24:36Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe. 81:8 a Bik 2:1-4 b Luk 24:48 c Bik 8:1-25 d Mat 28:19Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”

91:9 nny 2Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.

101:10 Luk 24:4; Yk 20:12Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, 111:11 a Bik 2:7 b Mat 16:27ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”

121:12 a Luk 24:52 b Mat 21:1Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti. 131:13 a Bik 9:37; 20:8 b Mat 10:2-4; Mak 3:16-19; Luk 6:14-16Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:

Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,

ne Firipo ne Tomasi,

ne Battolomaayo, ne Matayo,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote1:13 Omuzerote Abazerote be baayeekeranga gavumenti y’Abaruumi mu biro ebyo”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.

141:14 a Bik 2:42; 6:4 b Luk 23:49, 55 c Mat 12:46Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.

Matiya Asikira Yuda

15Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 161:16 a nny 20 b Yk 13:18“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 171:17 a Yk 6:70, 71 b nny 25Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”

181:18 a Mat 26:14, 15 b Mat 27:3-10Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!

201:20 a Zab 69:25 b Zab 109:8“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,

“ ‘Ekibanja kye kizike,

so kireme okubeerangamu omuntu.’

‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’

21Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, 221:22 a Mak 1:4 b nny 8okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”

23Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. 241:24 a Bik 6:6; 14:23 b 1Sa 16:7; Yer 17:10; Bik 15:8; Kub 2:23Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, 25okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” 261:26 Bik 2:14Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 1:1-26

应许圣灵降临

1提阿非罗啊,在前一封信中,我从耶稣的生平和教导开始, 2一直谈到祂借着圣灵吩咐了自己选立的使徒,然后被接回天上。 3祂受难后用许多确凿的证据证实自己活着,在四十天之内屡次向使徒显现,与他们谈论上帝的国。 4有一次,耶稣和他们在一起吃饭的时候,叮嘱他们:“你们不要离开耶路撒冷,要在那里等候我对你们说过的天父的应许。 5因为从前约翰用水给你们施洗,但再过几天,你们要受圣灵的洗。”

6他们跟耶稣在一起的时候问祂:“主啊,你要在这时候复兴以色列国吗?” 7耶稣回答说:“天父照祂的权柄定下的时间、日期不是你们可以知道的。 8但圣灵降临在你们身上后,你们必得到能力,在耶路撒冷犹太全境和撒玛利亚,直到地极,做我的见证人。”

9耶稣说完这番话,就在他们眼前被提升天,被一朵云彩接去,离开了他们的视线。 10祂上升时,他们都定睛望着天空,忽然有两个身穿白衣的人站在他们身旁, 11说:“加利利人啊!你们为什么站在这里望着天空呢?这位离开你们被接到天上的耶稣,你们看见祂怎样升天,将来祂还要怎样回来。”

选立新使徒

12于是,他们从橄榄山回到耶路撒冷。橄榄山距离耶路撒冷不远,约是安息日允许走的路程1:12 按犹太人的传统,在安息日只能走约一公里远。13他们进城后,来到楼上自己住的房间。当时有彼得约翰雅各安得烈腓力多马巴多罗买马太亚勒腓的儿子雅各、激进党人西门雅各的儿子犹大14他们和耶稣的母亲玛丽亚、耶稣的弟弟们及几个妇女在一起同心合意地恒切祷告。

15那时,约有一百二十人在聚会,彼得站起来说: 16“弟兄们,关于带人抓耶稣的犹大,圣灵借着大卫的口早已预言,这经文必须要应验。 17这人原本是我们中间的一员,与我们同担使徒的职分。”

18犹大用作恶得来的钱买了一块田,他头朝下栽倒在那里,肚破肠流。 19这消息很快传遍了耶路撒冷,当地人称那块田为“亚革大马”,就是“血田”的意思。

20彼得继续说:“诗篇上写道,‘愿他的家园一片荒凉,无人居住’,又说,‘愿别人取代他的职位。’ 21-22所以,我们必须另选一个人代替犹大,与我们一同为主耶稣的复活做见证。他必须是从主耶稣接受约翰的洗礼起一直到主升天,始终与我们在一起的人。”

23被提名的有别号巴撒巴又叫犹士都约瑟马提亚两个人。 24-25大家便祷告说:“主啊!你洞悉人的内心,求你指明这两个人中你要拣选哪一个来担负使徒的职分。犹大丢弃了这职分,去了他该去的地方。” 26然后,他们抽签,抽中了马提亚,就把他列入十一使徒中。