1 Abakkolinso 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 1:1-31

11:1 a Bar 1:1; Bef 1:1 b 2Ko 1:1 c Bik 18:17Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene1:1 Sossene alabika okuba nga ye mukulembeze w’ekkuŋŋaaniro ayogerwako mu Bik 18:17 owooluganda1:1 owooluganda kitegeeza mukkiriza munnange, 21:2 a Bik 18:1 b Bar 1:7tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe; 31:3 Bar 1:7ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.

Okwebaza

41:4 Bar 1:8Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu, 51:5 a 2Ko 9:11 b 2Ko 8:7mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna, 61:6 Kub 1:2era ng’obujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe, 71:7 Baf 3:20; Tit 2:13; 2Pe 3:12muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 81:8 1Bs 3:13Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. 91:9 a Is 49:7; 1Bs 5:24 b 1Yk 1:3Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okw’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.

10Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu. 11Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo. 121:12 a 1Ko 3:4, 22 b Bik 18:24 c Yk 1:42Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.

131:13 Mat 28:19Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? 141:14 a Bik 18:8; Bar 16:23 b Bik 19:29Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo. 15Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange. 161:16 1Ko 16:15Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna. 171:17 a Yk 4:2 b 1Ko 2:1, 4, 13Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda

181:18 a 2Ko 2:15 b Bar 1:16Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 191:19 Is 29:14Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,

ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

201:20 a Is 19:11, 12 b Yob 12:17Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 221:22 Mat 12:38Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 231:23 a Luk 2:34; Bag 5:11 b 1Ko 2:14naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 241:24 a Bar 8:28 b nny 30; Bak 2:3naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 251:25 a nny 18 b 2Ko 13:4Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 271:27 a Yak 2:5 b nny 20Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 281:28 Bar 4:17era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 291:29 Bef 2:9waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 301:30 a Yer 23:5, 6 b Bar 3:24Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 311:31 Yer 9:23, 24nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

哥林多前书 1:1-31

问候

1我是按上帝旨意蒙召做基督耶稣使徒的保罗,同所提尼弟兄, 2写信给在哥林多的上帝的教会,就是在基督耶稣里得以圣洁、蒙召做圣徒的,以及各地求告我们主耶稣基督之名的人。基督是他们的主,也是我们的主。

3愿我们的父上帝和主耶稣基督赐给你们恩典和平安!

保罗的感恩

4我常常为你们感谢我的上帝,因为祂在基督耶稣里赐给了你们恩典, 5使你们在基督里凡事富足,有全备的口才和知识。 6这样,我为基督所做的见证就在你们身上得到了证实。 7因此,你们在殷切等候我们主耶稣基督再来的期间,并不缺少任何属灵的恩赐。 8我们的主耶稣基督必扶持你们到底,使你们在祂再来的日子无可指责。 9上帝是信实的,祂呼召你们是要你们与祂的儿子——我们的主耶稣基督相交。

信徒要同心合意

10亲爱的弟兄姊妹,我奉主耶稣基督的名劝你们,要同心合意,不可结党纷争,要团结一致, 11因为革来家的人把各位弟兄姊妹的事情告诉了我,说你们中间有纷争。 12我的意思是你们有人说:“我是跟随保罗的”,有人说:“我是跟随亚波罗的”,有人说:“我是跟随彼得的”,有人说:“我是跟随基督的”。 13难道基督是分成几派的吗?替你们钉十字架的是保罗吗?你们是奉保罗的名受洗的吗?

14感谢上帝,除了基利司布该犹以外,我没有为你们任何人施洗, 15所以没有人能说是奉我的名受洗的。 16不错,我也曾为司提法纳的家人施洗,除此以外,我不记得还为谁施洗了。 17基督不是差遣我去为人施洗,而是去传扬福音,而且不用高言大智,免得基督十字架的能力被抹杀。

上帝的智慧

18因为十字架之道在将要灭亡的人看来是愚昧的,但对我们这些得救的人来说却是上帝的大能, 19正如圣经上说:“我要摧毁智者的智慧,废弃明哲的聪明。”

20这个世代所谓的智者、学者、雄辩家在哪里?上帝岂不是把这世上的智慧都变成愚昧了吗? 21上帝运用自己的智慧不让世人凭自己的智慧去认识祂,祂乐意采用世人看为愚昧的道理去拯救那些相信的人,这就是上帝的智慧。

22犹太人要看神迹,希腊人寻求智慧, 23但我们传讲被钉十字架的基督。这对犹太人来说是绊脚石,对外族人来说是愚昧的。 24但对于蒙召的人,无论是犹太人还是希腊人,基督是上帝的能力、上帝的智慧。 25因为上帝的“愚昧”也胜过世人的智慧,上帝的“软弱”也胜过世人的刚强。

26弟兄姊妹,想想你们蒙召时的情形。按人的标准来衡量,你们当中称得上有智慧的不多,有能力的不多,出身名门望族的也不多。 27但上帝拣选了世人看为愚昧的,要使智者羞愧;上帝拣选了世上软弱的,要使强者蒙羞; 28上帝拣选了世上卑贱的、被藐视的和无足轻重的,要使世人看为举足轻重的变得无足轻重。 29这样,谁都不能在上帝面前自夸了。

30上帝使你们活在基督耶稣里,祂使基督耶稣成为我们的智慧、公义、圣洁和救赎。 31所以,正如圣经上说:“要夸耀,就当夸耀主的作为。”