1 Abakkolinso 8 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 8:1-13

Ebiweereddwayo eri bakatonda abalala

18:1 a Bik 15:20 b Bar 15:14Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba. 28:2 a 1Ko 3:18 b 1Ko 13:8, 9, 12; 1Ti 6:4Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya. 38:3 Bar 8:29; Bag 4:9Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.

48:4 a nny 1, 7, 10 b 1Ko 10:19 c Ma 6:4; Bef 4:6Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. 58:5 2Bs 2:4Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi. 68:6 a Mal 2:10 b Bar 11:36 c Bef 4:5 d Yk 1:3Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

78:7 Bar 14:14; 1Ko 10:28Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka. 88:8 Bar 14:17Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.

98:9 a Bag 5:13 b Bar 14:1Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza. 10Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. 118:11 Bar 14:15, 20Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo! 128:12 Mat 18:6Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. 138:13 Bar 14:21Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

哥林多前書 8:1-13

祭偶像的食物

1關於獻給偶像的祭物,我們知道大家都有這方面的知識,但知識會使人自高,唯有愛心才能造就人。 2若有人自以為知道些什麼,其實他需要知道的,他還不知道。 3但如果有人愛上帝,這人是上帝所認識的。

4論到吃獻給偶像的祭物,我們知道世上的偶像算不得什麼,只有一位上帝,此外別無他神。 5雖然天上地上有許多被稱為神的,好像有許多神、許多主, 6但我們只有一位神,就是父上帝,祂是萬物的源頭,是我們的歸宿。我們也只有一位主,就是耶穌基督,萬物都是藉著祂存在,我們也是藉著祂存在。

7不過,並不是所有的人都有這種知識。有些人因為以前拜慣了偶像,現在吃到某些食物就覺得是祭過偶像的,因而良心不安,覺得自己被玷污了。 8其實食物並不能改變上帝對我們的看法,我們不吃也沒有損失,吃了也不會更好。

9但你們要小心,不要讓你們的自由絆倒那些信心軟弱的人。 10如果有人看見你這明白以上道理的人竟然坐在偶像的廟中吃喝,他雖然良心不安,豈不還是會放膽吃獻給偶像的祭物嗎? 11這樣,你的知識反而令那軟弱的人,就是基督捨命救回的弟兄沉淪。 12你們這樣得罪弟兄,傷了他脆弱的良心,就是得罪基督。 13所以,如果我吃某些食物會令我的弟兄在信仰上跌倒,我就情願永遠不吃8·13 不吃」希臘文是「不吃肉」。,免得令他們跌倒。