Abaruumi 1 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 1:1-32

11:1 a 1Ko 1:1 b Bik 9:15 c 2Ko 11:7Nze Pawulo, omuddu1:1 Omukkiriza eyeeteeka mu kifo ky’omuddu eri Kristo talina bwetwaze wadde eddembe erirye ku bubwe. Akola ebyo byokka mukama we by’alagira. wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, 21:2 Bag 3:8gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, 31:3 Yk 1:14ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, 4eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe. 51:5 a Bik 9:15 b Bik 6:7Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye. 61:6 Kub 17:14Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.

71:7 a Bar 8:39 b 1Ko 1:3Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.1:7 abatukuvu kitegeeza omuntu ayawuliddwa.

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.

Pawulo Ayagala Okukyala mu Ruumi

81:8 a 1Ko 1:4 b Bar 16:19Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna. 91:9 a 2Ti 1:3 b Baf 1:8Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo, 101:10 Bar 15:32nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala.

111:11 Bar 15:23Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, 12kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina. 131:13 Bar 15:22, 23Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.

141:14 1Ko 9:16Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru, 151:15 Bar 15:20era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.

161:16 a 2Ti 1:8 b 1Ko 1:18 c Bik 3:26 d Bar 2:9, 10Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. 171:17 a Bar 3:21 b Kbk 2:4; Bag 3:11; Beb 10:38Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”

Obusungu bwa Katonda eri abantu

181:18 Bef 5:6; Bak 3:6Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. 191:19 Bik 14:17Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. 201:20 Zab 19:1-6Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.

211:21 Yer 2:5; Bef 4:17, 18Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 221:22 1Ko 1:20, 27Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 231:23 Zab 106:20; Yer 2:11; Bik 17:29ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.

241:24 a Bef 4:19 b 1Pe 4:3Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 251:25 a Is 44:20 b Yer 10:14 c Bar 9:5Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

261:26 a nny 24, 28 b 1Bs 4:5 c Lv 18:22, 23Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. 271:27 Lv 18:22; 20:13Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.

281:28 nny 24, 26Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. 291:29 2Ko 12:20Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, 301:30 2Ti 3:2era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. 311:31 2Ti 3:3Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. 321:32 a Bar 6:23 b Zab 50:18; Luk 11:48Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

羅馬書 1:1-32

問候

1我是基督耶穌的奴僕保羅,蒙召作使徒,奉命傳上帝的福音。 2這福音是上帝從前藉著眾先知在聖經中應許的, 3講的是上帝的兒子——我們的主耶穌基督的事。從肉身來說,祂是大衛的後裔; 4從聖潔的靈來看,祂從死裡復活,用大能顯明自己是上帝的兒子。 5我們從祂領受了恩典並成為使徒,要帶領萬民信從祂,使祂的名得榮耀。 6你們也是其中蒙召信從耶穌基督的人。 7我問候所有住在羅馬、上帝所愛、蒙召做聖徒的人。願我們的父上帝和主耶穌基督賜給你們恩典和平安!

保羅渴望去羅馬

8首先,我藉著耶穌基督為各位感謝我的上帝,因為你們的信心正在傳遍天下。 9-10我在祂兒子的福音事工上全心事奉的上帝可以為我做見證:我如何在禱告中常常想到你們,並求上帝讓我照祂的旨意最終能去你們那裡。 11因為我實在想見你們,好將一些屬靈的恩賜分給你們,使你們堅固, 12也可以說是藉著我們彼此的信心互相激勵。

13弟兄姊妹,我希望你們知道,我曾多次計劃去你們那裡,要在你們中間收穫一些福音的果子,像在其他外族人中一樣,只是至今仍有攔阻。 14不論是希臘人、非希臘1·14 非希臘人」希臘文是「未開化的人」,指在希臘、羅馬文化影響之外的人。、智者、愚人,我對他們都有義務。 15所以,我也切望能將福音傳給你們在羅馬的人。

16我不以福音為恥,因為這福音是上帝的大能,要拯救一切相信的人,先是猶太人,然後是希臘人。 17這福音顯明了上帝的義,這義始於信,終於信,正如聖經上說:「義人必靠信心而活。」

人類的罪惡

18上帝的烈怒從天上降下,要懲罰一切心中無神、行為不義、壓制真理的人。 19有關上帝的事情,可以讓人類知道的都已經顯而易見,因為上帝已經向人類顯明了。 20自從創造天地以來,上帝永恆的大能和神性是明明可知的,雖然肉眼看不見,但透過受造之物就可以領悟,因而人類毫無藉口推說不知。 21他們雖然明知有上帝,卻不把祂當作上帝,既不將榮耀歸給祂,也不感謝祂。他們的思想因此變得荒謬無用,無知的心也變得昏暗不明。 22他們自以為聰明,其實愚不可及, 23以必朽的人、飛禽、走獸和爬蟲的形像來取代永恆上帝的榮耀。

24因此,上帝任憑他們隨從內心的情慾行污穢的事,玷污彼此的身體。 25他們把上帝的真理當作謊言,祭拜、供奉受造之物,卻不敬拜、事奉造物主。主是永遠值得稱頌的。阿們!

26因此,上帝任憑他們放縱可恥的情慾。女人放棄正常的兩性關係,做出變態反常的事。 27男人也背棄了和女人正常的兩性關係,慾火焚燒,同性之間彼此貪戀。男人和男人做出羞恥不堪的事,他們必在自己的身體上遭受應得的報應。

28既然他們故意不認識上帝,上帝就任憑他們心思敗壞,做不當做的事。 29他們心裡塞滿了各種不義、邪惡、貪婪、陰險、嫉妒、兇殺、紛爭、詭詐、惡毒;說長道短、 30背後批評、怨恨上帝、欺侮別人、心驕氣傲、自高自大、自我吹捧、無惡不作、違背父母、 31愚鈍無知、不守信用、無情無義、毫無憐憫。 32他們明知,按上帝公義的法則,做這些事的人該死,不但執迷不悟,還喜歡別人跟他們同流合污。