1 Abakkolinso 9 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 9:1-27

Ebigwanira omutume ne by’ateekwa okukola

19:1 a 2Ko 12:12 b 1Ko 15:8 c 1Ko 3:6; 4:15Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? 29:2 2Ko 3:2, 3Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.

3Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. 49:4 1Bs 2:6Sirina buyinza kulya na kunywa? 59:5 a 1Ko 7:7, 8 b Mat 12:46Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa9:5 Keefa ye Peetero, ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? 69:6 Bik 4:36Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?

79:7 Ma 20:6; Nge 27:18Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? 8Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? 99:9 a Ma 25:4; 1Ti 5:18 b Ma 22:1-4Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 109:10 a Bar 4:23, 24 b 2Ti 2:6oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 119:11 Bar 15:27Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 129:12 a Bik 18:3 b 2Ko 11:7-12Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.

Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 139:13 Lv 6:16, 26; Ma 18:1Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 149:14 Mat 10:10; 1Ti 5:18Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.

159:15 a Bik 18:3 b 2Ko 11:9, 10Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa. 169:16 Bar 1:14; Bik 9:15Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 179:17 a 1Ko 3:8, 14 b Bag 2:7; Bak 1:25Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 189:18 2Ko 11:7; 12:13Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

199:19 a nny 1 b Bag 5:13 c Mat 18:15; 1Pe 3:1Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 209:20 Bik 16:3; 21:20-26; Bar 11:14Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 219:21 Bar 2:12, 14Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 229:22 a 1Ko 10:33 b Bar 11:14Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.

249:24 Bag 2:2; 2Ti 4:7; Beb 12:1Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 259:25 Yak 1:12; Kub 2:10Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 279:27 Bar 8:13Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

哥林多前書 9:1-27

使徒的權利

1我不是自由的嗎?我不是使徒嗎?我不是見過我們的主耶穌嗎?你們不是我在主裡工作的成果嗎? 2即使對別人來說我不是使徒,對你們來說我也是使徒,因為你們就是我在主裡作使徒的印證。

3對那些責難我的人,我的答覆是這樣: 4難道我們沒有權利接受弟兄姊妹供應的飲食嗎? 5難道我們沒有權利像主的兄弟、彼得和其他使徒一樣,娶信主的姊妹為妻,一同出入嗎? 6難道只有我和巴拿巴要自食其力嗎? 7有誰當兵要自備糧餉呢?有誰栽種葡萄園,卻不吃園中出產的葡萄呢?有誰牧養牛羊,卻不喝牛羊的奶呢?

8我這樣說難道只是人的觀點嗎?律法不也是這樣說的嗎? 9摩西的律法書上說:「牛在踩穀時,不可籠住牠的嘴。」難道上帝關心的只是牛嗎? 10祂這樣說難道不是為了我們嗎?這話的確是為我們寫的,因為耕耘的和打穀的農夫都應該存著分享收成的盼望勞作。 11既然我們在你們中間撒下了屬靈的種子,難道就不能從你們那裡得到物質上的收穫嗎? 12如果別人有權要求你們供應他們,我們豈不更有權嗎?可是我們從來沒有用過這權利,反而凡事忍耐,免得妨礙了基督的福音。

13你們難道不知道,在聖殿裡事奉的人可以吃聖殿裡的食物,在祭壇前事奉的人可以分享祭壇上的祭物嗎? 14同樣,主也曾吩咐:傳福音的人理當藉著福音得到生活的供應。

15但是,我完全沒有使用這權利,如今我談這些事,並不是要你們這樣待我。因為我寧死也不要讓人抹摋我所誇耀的。 16其實我傳福音並沒有什麼可誇的,因為這是我的任務,我不傳福音就有禍了! 17我若甘心樂意地傳福音,就可以得獎賞;我若不甘願,責任也已經委託給我了。 18我能得到什麼獎賞呢?就是我可以把福音白白地傳給人,不使用自己因傳福音而應有的權利。

19我雖然是自由之身,不受任何人支配,但我甘願成為眾人的奴僕,為了要得到更多的人。 20面對猶太人我就做猶太人,為了要贏得猶太人。面對守律法的人,我這不受律法束縛的人就守律法,為了要贏得守律法的人。 21面對沒有律法的人,我就像個沒有律法的人,為了要贏得沒有律法的人。其實我並非在上帝的律法之外,我是在基督的律法之下。 22面對軟弱的人我就做軟弱的人,為了要得軟弱的人。面對什麼人,我就做什麼人,為了要盡可能地救一些人。 23我做的一切都是為了福音的緣故,為了要與人分享福音的祝福。

24你們不知道嗎?在運動場上賽跑的人雖然個個都在跑,但冠軍只有一個。同樣,你們也要努力奔跑,好獲得獎賞。 25參加比賽的選手要接受嚴格的訓練,以求贏得桂冠,但這桂冠終必朽壞,我們要贏得的卻是永不朽壞的桂冠。 26因此,我奔跑不是漫無目標,我擊拳不是打空氣。 27我嚴格訓練自己,克服自身的軟弱,免得我傳福音給別人,自己卻被淘汰了。