耶利米書 10 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 10:1-25

上帝與偶像

1以色列人啊,聽聽耶和華對你們說的話吧! 2耶和華說:

「不要效法列國的行為。

他們被天象嚇倒,

你們卻不要因天象而害怕。

3他們信奉的毫無價值,

他們從林中砍一棵樹,

工匠用木頭雕刻偶像,

4以金銀作裝飾,

用釘子和錘子釘牢,

以免晃動。

5它們像瓜園中的稻草人,

不能說話,不能行走,

需要人搬運。

你們不要怕它們,

它們既不能害人,

也不能助人。」

6耶和華啊,你偉大無比,

你的名充滿力量!

7萬國的王啊,誰不敬畏你?

敬畏你是理所當然的。

因為萬國的智者和君王中無人能與你相比。

8他們都愚昧無知,

毫無用處的木製偶像能教導他們什麼呢?

9偶像上的銀片來自他施

金片來自烏法

都是匠人的製品,

這些偶像穿的藍色和紫色衣服是巧匠製作的。

10唯有耶和華是真神,

是永活的上帝,

是永恆的君王。

祂一發怒,大地便震動,

萬國都無法承受。

11你們要這樣對他們說:「那些神明沒有創造天地,它們將從天下消亡。」

12耶和華施展大能,

用智慧創造大地和世界,

巧妙地鋪展穹蒼。

13祂一聲令下,天上大水湧動;

祂使雲從地極升起,

使閃電在雨中發出,

祂從自己的倉庫吹出風來。

14人人愚昧無知,

工匠都因自己鑄造的偶像而慚愧,

因為這些神像全是假的,

沒有氣息。

15它們毫無價值,

荒謬可笑,

在報應的時候必被毀滅。

16雅各的上帝截然不同,

祂是萬物的創造者,

被稱為「萬軍之耶和華」,

以色列是祂的子民。

17被圍困的猶大人啊,

收拾行裝吧!

18因為耶和華說:

「看啊,這次我要把這地方的居民拋出去,

使他們苦不堪言。」

19我有禍了!因我的創傷難癒。

但我說:「這是疾病,我必須忍受。」

20我的帳篷已毀,

繩索已斷;

我的兒女都離我而去,

再沒有人為我支搭帳篷,

掛上幔子。

21首領愚昧,

沒有求問耶和華,

因此一敗塗地,

百姓如羊群四散。

22聽啊,有消息傳來,

喧囂的敵軍從北方衝來,

要使猶大的城邑荒涼,

淪為豺狼的巢穴。

23耶和華啊,人不能駕馭自己的命運,

不能左右自己的將來。

24耶和華啊,求你公正地懲罰我,

不要帶著怒氣懲罰我,

否則我將不復存在。

25求你向不認識你的列國和不求告你名的民族發烈怒,

因為他們吞噬、毀滅雅各

使他的家園一片荒涼。

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 10:1-25

Katonda ne bakatonda abalala

1Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 210:2 Lv 20:23Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Temugobereranga makubo g’amawanga

oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,

kubanga amawanga ge byeraliikirira.

310:3 Is 40:19Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;

batema omuti mu kibira,

omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.

410:4 Is 41:7Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,

bagukomerera n’enninga n’ennyondo

guleme okunyeenyanyeenya.

510:5 a 1Ko 12:2 b Zab 115:5, 7 c Is 41:24; 46:7Bakatonda bafaanana nga ssemufu

mu nnimiro y’ebibala,

era tebasobola kwogera

kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.

Tobatya,

tebayinza kukukola kabi konna,

wadde okukola akalungi n’akamu.”

610:6 Zab 48:1Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.

Oli mukulu,

era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.

710:7 Zab 22:28; Kub 15:4Ani ataakutye,

Ayi Kabaka w’amawanga?

Kubanga kino kye kikugwanira.

Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga

ne mu bwakabaka bwabwe bwonna

tewali ali nga ggwe.

810:8 Is 40:19; Yer 4:22Bonna tebalina magezi basirusiru,

abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.

910:9 Zab 115:4; Is 40:19Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,

ne zaabu eva e Yufazi,

ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze

byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.

Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.

1010:10 Zab 76:7Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,

era Kabaka ow’emirembe gyonna.

Bw’asunguwala, ensi ekankana,

amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu

1110:11 Zab 96:5; Is 2:18“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”

1210:12 Lub 1:1, 8; Yob 9:8; Is 40:22Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,

n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,

era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.

1310:13 a Yob 36:29 b Zab 135:7Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,

asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.

Amyansisa eggulu mu nkuba,

era n’aggya empewo mu mawanika ge.

14Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;

buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.

Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,

era tebiriimu bulamu.

1510:15 Is 41:24; Yer 14:22Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa

ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

1610:16 a Ma 32:9; Zab 119:57 b nny 12 c Zab 74:2 d Yer 31:35; 32:18Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,

ye Mutonzi w’ebintu byonna,

era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okuzikirira Okujja

1710:17 Ez 12:3-12Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,

mmwe abazingiziddwa.

1810:18 1Sa 25:29Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba nfuumuula abantu

mbaggye mu nsi eno,

era ndibaleetako ennaku

balyoke bawambibwe.”

1910:19 a Yer 14:17 b Mi 7:9Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange

ekinnuma ennyo.

Naye ate ne ŋŋamba nti,

“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”

2010:20 a Yer 4:20 b Yer 31:15; Kgb 1:5Eweema yange eyonooneddwa,

era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.

Tewali n’omu asigaddewo kaakano

kuzimba weema yange

wadde okuzimba ekigango kyange.

2110:21 Yer 23:2Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo

tebakyebuuza ku Mukama.

Noolwekyo tebakulaakulana

era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.

2210:22 Yer 9:11Wuliriza!

Amawulire gatuuse,

waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,

kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

Okusaba kwa Yeremiya

2310:23 Nge 20:24Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,

omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.

2410:24 a Zab 6:1; 38:1 b Yer 30:11Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,

si mu busungu bwo,

si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.

2510:25 a Zef 3:8 b Yob 18:21; Zab 14:4 c Zab 79:7; Yer 8:16 d Zab 79:6-7Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,

agatakutwala ng’ekikulu,

ku bantu abatakoowoola linnya lyo.

Kubanga bamazeewo Yakobo,

bamuliiridde ddala

era ne boonoona ensi ye.