以賽亞書 1 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 1:1-31

1猶大烏西雅約坦亞哈斯希西迦執政期間,亞摩斯的兒子以賽亞看到了以下有關猶大耶路撒冷的異象。

上帝責備叛逆的子民

2諸天啊,請聽!

大地啊,要側耳聽!

耶和華說:

「我把孩子撫育成人,

他們竟然背叛我。

3牛認識主人,

驢也認得主人的槽,

以色列卻不認識,

我的子民卻不明白。」

4唉!你們這罪惡的民族,

惡貫滿盈的百姓,

作惡的子孫,

敗壞的兒女!

你們背棄耶和華,

藐視以色列的聖者,

與祂疏遠。

5你們為什麼一再叛逆?

你們還要受責打嗎?

你們已經頭破血流,

身心疲憊。

6你們已經體無完膚,

從頭到腳傷痕纍纍,

傷口沒有清洗,

沒有包紮,也沒有敷藥。

7你們的土地荒涼,

城邑化為灰燼。

你們親眼目睹自己的田園被外族人侵吞、毀壞、變成不毛之地。

8僅存的錫安1·8 錫安」又稱「耶路撒冷」。城也像葡萄園裡的草棚、

瓜田中的茅舍、

被困無援的孤城。

9若不是萬軍之耶和華讓我們一些人存活,

我們早就像所多瑪蛾摩拉一樣滅亡了。

10你們這些「所多瑪」的首領啊,

要聆聽耶和華的話!

你們這些「蛾摩拉」的百姓啊,

要側耳聽我們上帝的訓誨!

11耶和華說:

「你們獻上許多祭物,對我有什麼用呢?

我厭煩公綿羊的燔祭和肥畜的脂肪,

我不喜歡公牛、羊羔和公山羊的血。

12「你們來敬拜我的時候,

誰要求你們帶著這些來踐踏我的院宇呢?

13不要再帶毫無意義的祭物了。

我憎惡你們燒的香,

厭惡你們的朔日1·13 朔日」即每月初一。、安息日和大會。

你們又作惡又舉行莊嚴的聚會,

令我無法容忍。

14我憎惡你們的朔日及其他節期,

它們成了我的重擔,

令我厭倦。

15你們舉手禱告,我必掩面不理。

即使你們禱告再多,

我也不會聽,

因為你們雙手沾滿鮮血。

16你們要洗淨自己,

停止作惡,

不要讓我再看見你們的惡行。

17你們要學習行善,

追求正義,

幫助受欺壓的,

替孤兒辯護,

為寡婦伸冤。」

18耶和華說:

「來吧,我們彼此理論!

你們的罪雖如猩紅,

也必潔白如雪;

你們的罪雖如緋紅,

也必白如羊毛。

19如果你們願意聽從,

就必享用這地方的美好出產。

20如果你們執意叛逆,

就必喪身刀下。」

這是耶和華親口說的。

21耶路撒冷啊,

你這忠貞的妻子竟變成了妓女!

你從前充滿公平,

是公義之家,

現在卻住著兇手。

22你曾經像銀子,現在卻像渣滓;

曾經像美酒,現在卻像攙了水的酒。

23你的首領是叛逆之徒,

與盜賊為伍,

個個收受賄賂,

貪圖好處,

不為孤兒辯護,

不替寡婦伸冤。

24所以,主——萬軍之耶和華,

以色列的大能者說:

「我要向我的敵人報仇雪恨。

25我必攻擊你,

用鹼煉淨你的渣滓,

除盡你的雜質。

26我必像從前一樣賜你審判官和謀士。

之後,你必被稱為公義之城、

忠信之邑。」

27耶和華必因祂的公正救贖錫安

必因祂的公義拯救城中悔改的人。

28但叛逆之輩和犯罪之徒必遭毀滅,

背棄耶和華的人必滅亡。

29你們必因在橡樹下,

在你們選擇的園子裡祭拜偶像而蒙羞。

30你們必像枯萎的橡樹,

又如無水的園子。

31你們中間有權勢的人必因他們的惡行而遭毀滅,

好像火花點燃枯木,無人能救。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 1:1-31

11:1 a Kbl 12:6 b Is 40:9 c Is 2:1 d 2By 26:22 e 2Bk 16:1Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

Eggwanga Ejjeemu

21:2 a Mi 1:2 b Is 30:1, 9; 65:2Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,

kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,

“Nayonsa ne ndera abaana

naye ne banjeemera.

31:3 Yer 8:7; 9:3, 6Ente emanya nannyini yo

n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,

naye Isirayiri tammanyi,

abantu bange tebantegeera.”

41:4 a Is 14:20 b Is 5:19, 24Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,

abantu abajjudde obutali butuukirivu,

ezzadde eryabakola ebibi,

abaana aboonoonyi!

Balese Mukama

banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,

basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

51:5 a Is 31:6 b Is 33:6, 24Lwaki mweyongera okujeema?

Mwagala mwongere okubonerezebwa?

Omutwe gwonna mulwadde,

n’omutima gwonna gunafuye.

61:6 a Zab 38:3 b Is 30:26; Yer 8:22 c Luk 10:34Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe

temuli bulamu

wabula ebiwundu, n’okuzimba,

n’amabwa agatiiriika amasira

agatanyigibwanga, okusibibwa,

wadde okuteekebwako eddagala.

71:7 Lv 26:34Ensi yammwe esigadde matongo,

ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,

nga nammwe bennyini mulaba.

Bannamawanga1:7 Kino kyogera ku kulumbibwa kw’abantu b’omu Bwasuli mu biro bya Sennakeribu (2Bk 18:13). balidde ensi yammwe,

era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.

81:8 Yob 27:18Omuwala wa Sayuuni alekeddwa

ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,

ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu1:8 emyungu ziba bika bya nsujju; emu eyitibwa omungu,

ng’ekibuga ekizingiziddwa.

91:9 a Is 10:20-22; 37:4, 31-32 b Lub 19:24; Bar 9:29*Singa Mukama ow’Eggye

teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo

twandibadde nga Sodomu,

twandifuuse nga Ggomola.

101:10 a Is 28:14 b Is 3:9; Ez 16:49; Bar 9:29; Kub 11:8 c Is 8:20Muwulirize ekigambo kya Katonda

mmwe abafuzi ba Sodomu!

Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe

mmwe abantu b’e Ggomola!

111:11 a Zab 50:8 b Yer 6:20 c 1Sa 15:22; Mal 1:10“Ssaddaaka enkumu ze munsalira

zingasa ki?

Nkooye endiga ennume

enjokye eziweebwayo,

so sisanyukira musaayi gwa nte,

newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.

121:12 Kuv 23:17Bwe mujja mu maaso gange,

ani aba abayise

ne mujja okulinnyirira empya zange?

131:13 a Is 66:3 b Yer 7:9 c 1By 23:31Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;

obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.

Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe

zijjudde obutali butuukirivu.

141:14 a Lv 23:1-44; Kbl 28:11–29:39; Is 29:1 b Is 7:13; 43:22, 24Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,

emmeeme yange ebikyaye,

binfuukidde omugugu,

nkooye okubigumiikiriza.

151:15 a Is 8:17; 59:2; Mi 3:4 b Is 59:3Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe

nnaabakwekanga amaaso gange,

era ne bwe munaasabanga ennyo

siiwulirenga

kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

161:16 a Is 52:11 b Is 55:7; Yer 25:5Munaabe, mwetukuze

muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,

mulekeraawo okukola ebibi.

171:17 a Zef 2:3 b Zab 82:3Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,

mudduukirirenga abajoogebwa,

musalenga omusango gw’atalina kitaawe,

muwolerezenga bannamwandu.

181:18 a Is 41:1; 43:9, 26 b Zab 51:7; Kub 7:14“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”

bw’ayogera Mukama;

“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu

binaafuuka byeru ng’omuzira,

ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,

binaatukula ng’ebyoya by’endiga.

191:19 Ma 30:15-16; Is 55:2Bwe munaagondanga ne muwulira,

munaalyanga ebirungi eby’ensi;

201:20 a Is 3:25; 65:12 b Is 34:16; 40:5; 58:14; Mi 4:4naye bwe munaagaananga ne mujeemanga

ekitala kinaabalyanga,”

kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

211:21 Is 57:3-9; Yer 2:20Laba ekibuga ekyesigwa

bwe kifuuse ng’omwenzi!

Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!

Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,

naye kaakano batemu bennyini nnyini!

22Effeeza yo efuuse masengere,

wayini wo afuuse wa lujjulungu.

231:23 a Kuv 23:8 b Is 10:2; Yer 5:28; Ez 22:6-7; Zek 7:10Abafuzi bo bajeemu,

mikwano gya babbi,

bonna bawoomerwa enguzi,

era banoonya kuweebwa birabo;

tebayamba batalina ba kitaabwe,

so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.

241:24 Is 35:4; 59:17; 61:2; 63:4Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,

ow’amaanyi owa Isirayiri nti,

“Ndifuka obusungu ku balabe bange,

era ne nesasuza abo abankyawa.

251:25 Ez 22:22; Mal 3:3Era ndikukwatamu n’omukono gwange,

ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna

ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.

261:26 a Yer 33:7, 11 b Is 33:5; 62:1; Zek 8:3 c Is 60:14; 62:2Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye

n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.

Olwo olyoke oyitibwe

ekibuga eky’obutuukirivu,

ekibuga ekyesigwa.”

271:27 Is 35:10; 62:12; 63:4Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,

n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.

281:28 Zab 9:5; Is 24:20; 66:24; 2Bs 1:8-9Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,

n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

291:29 a Is 57:5 b Is 65:3; 66:17“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti

mwe mwenyumiririzanga,

n’olw’ennimiro

ze mweroboza.

30Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka

era ng’ennimiro etaliimu mazzi.

311:31 Is 5:24; 9:18-19; 26:11; 33:14; 66:15-16, 24N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,

n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,

era byombi biriggiira wamu

so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”