耶利米書 9 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 9:1-26

1真希望我的頭是水泉,

眼是淚泉,

好為我被殺的同胞晝夜哭泣;

2真希望我在曠野有棲身之處,

以便遠離我的同胞,

因為他們是一群不忠不貞之徒。

3耶和華說:

「他們鼓舌如簧,射出謊言,

遍地充滿詭詐,毫無誠實;

他們行惡不斷,

不認我是上帝。

4你們要提防鄰居,

不要信賴弟兄,

因為弟兄詭計多端,

鄰居滿口是非。

5他們彼此欺騙,不說真話;

他們說謊成性,

不知疲倦地肆意犯罪;

6他們充滿詭詐,

不認我是上帝。

這是耶和華說的。」

7因此,萬軍之耶和華說:

「看啊,我要熬煉、試驗這些罪惡的子民,

除此之外,我別無選擇。

8他們舌如毒箭,說話詭詐,

對鄰居口蜜腹劍。

9難道我不該懲罰他們嗎?

難道我不該報應這樣的民族嗎?

這是耶和華說的。」

10我要為眾山悲傷痛哭,

為曠野的草原唱哀歌,

因為那裡一片荒涼,杳無人跡,

聽不見牲畜的叫聲,

飛鳥和走獸也逃去無蹤。

11耶和華說:「我要使耶路撒冷淪為廢墟,

成為豺狼出沒之地;

我要使猶大的城邑荒涼,

不見人煙。」

12誰有智慧明白這事呢?誰曾受過耶和華的指教可以講解這事呢?為什麼這片土地被蹂躪,變得荒涼、杳無人跡? 13耶和華說:「這是因為他們棄絕我賜給他們的律法,不聽從我的話,不遵守我的命令, 14執迷不悟,隨從他們祖先的教導去供奉巴力。」 15因此,以色列的上帝——萬軍之耶和華說:「看啊,我要使這百姓吃苦艾,喝毒藥; 16我要把他們分散到他們及其祖先都不認識的列國;我要使敵人追殺他們,直到滅絕他們。」

17萬軍之耶和華說:

「把陪哭的婦人請來,

把最會哭的婦人帶來,

18叫她們速來為我的子民哀哭,

哭得他們淚盈滿眶,

哭得他們淚如泉湧。

19因為從錫安傳出哀鳴,

『我們滅亡了!

我們受了奇恥大辱!

我們的家園被毀,

我們只好背井離鄉。』」

20婦人啊,你們要聽耶和華的話,

接受祂的教誨;

你們要教導女兒哀哭,

教導鄰居唱輓歌。

21因為死亡從窗戶爬進我們的城堡,

吞滅街上的孩童和廣場上的青年。

22耶和華說:「人們必屍橫遍野,

像散佈在田野上的糞便,

又像收割者身後沒有收集的禾捆。」

23耶和華說:「智者不要誇耀自己的智慧,勇士不要誇耀自己的力量,富人不要誇耀自己的財富。 24若有人誇耀,就讓他誇耀自己認識我是耶和華,知道我喜歡在地上憑慈愛、公平和正義行事。這是耶和華說的。」 25耶和華說:「看啊,時候將到,我要懲罰所有只在身體受過割禮的人, 26就是埃及人、猶大人、以東人、亞捫人、摩押人和所有住在曠野、剃了鬢髮的人,因為這些人,包括以色列人,都沒有受過真正的割禮,沒有受過內心的割禮。」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 9:1-26

19:1 a Yer 13:17; Kgb 2:11, 18 b Is 22:4Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga

n’amaaso gange luzzi lwa maziga,

nnandikaabye emisana n’ekiro

olw’abantu bange be batta!

29:2 Yer 5:7-8; 23:10; Kos 4:2Woowe singa mbadde n’ekisulo

ky’abatambuze mu ddungu,

nnandivudde ku bantu bange

ne mbaleka

kubanga bonna benzi,

bibiina by’abasajja ab’enkwe.

39:3 Zab 64:3“Bategeka olulimi lwabwe

ng’omutego ogunasula obulimba;

bakulaakulanye mu ggwanga

naye nga tebayimiridde ku mazima,

kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;

era tebammanyi,”

bw’ayogera Mukama.

49:4 a Mi 7:5-6 b Lub 27:35“Mwegendereze mikwano gyammwe

era temwesiganga baganda bammwe:

kubanga buli wa luganda mulimba

na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.

5Buli muntu alimba muliraanwa we

era tewali n’omu ayogera mazima.

Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba

ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.

69:6 Yer 5:27Mubeera wakati mu bulimba;

mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

79:7 a Is 1:25 b Yer 6:27Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,

kiki ate kye nnaakolera abantu bange

kubanga boonoonye?

89:8 a nny 3 b Yer 5:26Olulimi lwabwe kasaale akatta,

lwogera bya bulimba,

buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,

naye mu mutima gwe ategeka kumutega.

99:9 Yer 5:9, 29Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”

bw’ayogera Mukama.

“Seesasuze ku ggwanga

eriri nga lino?”

109:10 Yer 4:25; 12:4; Kos 4:3Ndikaaba ne nkungubagira ensozi

era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.

Galekeddwa awo era tegayitwamu,

n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.

Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa

n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

119:11 a Is 34:13 b Is 25:2; Yer 26:9“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,

ekisulo ky’ebibe.

Era ndyonoona ebibuga bya Yuda

waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

129:12 Zab 107:43; Kos 14:9Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?

139:13 2By 7:19; Zab 89:30-32Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. 149:14 a Yer 2:8, 23 b Yer 7:24Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” 159:15 a Kgb 3:15 b Yer 8:14Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. 169:16 a Lv 26:33 b Ma 28:64 c Ez 5:2 d Yer 44:27; Ez 5:12Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”

179:17 2By 35:25; Mub 12:5; Am 5:16Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;

era mutumye abasingayo obumanyirivu.

189:18 Yer 14:17Leka bajje mangu

batukaabireko

okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,

n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.

199:19 Yer 4:13Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;

‘Nga tunyagiddwa!

Nga tuswadde nnyo!

Tuteekwa okuva mu nsi yaffe

kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”

209:20 Is 32:9-13Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,

era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.

Muyigirize bawala bammwe okukaaba,

era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.

219:21 2By 36:17Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,

kuyingidde mu mbiri zaffe,

okugoba abaana okubaggya ku nguudo,

n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.

229:22 Yer 8:2“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde

gijja kugwa ng’obusa ku ttale

ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa

emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”

239:23 a Mub 9:11 b 1Bk 20:11 c Ez 28:4-5Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,

oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge

oba omugagga mu bugagga bwe.

249:24 a 1Ko 1:31*; Bag 6:14 b 2Ko 10:17* c Zab 51:1; Mi 7:18 d Zab 36:6Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:

nti antegeera era ammanyi,

nti nze Mukama akola ebyekisa

n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,

kubanga mu byo mwe nsanyukira,”

bw’ayogera Mukama.

259:25 Bar 2:8-9“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 269:26 a Yer 25:23 b Lv 26:41; Bik 7:51; Bar 2:28Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”