歷代志上 23 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志上 23:1-32

利未人的職務

1大衛年紀老邁,壽數將盡,就立他兒子所羅門以色列王。 2他召集了以色列的眾首領、祭司和利未人。 3凡三十歲以上的利未人都在統計之列,共有三萬八千男子, 4其中有兩萬四千人在耶和華的殿裡司職,六千人做官長和審判官, 5四千人守門,四千人用大衛提供的樂器頌讚耶和華。 6大衛利未革順哥轄米拉利的子孫分成班次。

7革順的兒子有拉但示每8拉但有長子耶歇,還有細坦約珥,共三個兒子, 9都是拉但族的族長。示每的兒子有示羅密哈薛哈蘭三人。 10示每的兒子還有雅哈細拿耶烏施比利亞四人。 11雅哈是長子,細拿是次子。耶烏施比利亞的子孫不多,所以合為一族。

12哥轄暗蘭以斯哈希伯崙烏薛四個兒子。 13暗蘭的兒子是亞倫摩西亞倫和他的子孫永遠被分別出來事奉耶和華,向祂獻至聖之物,在祂面前燒香,奉祂的名祝福,直到永遠。 14上帝的僕人摩西的子孫歸在利未支派的名下。 15摩西的兒子是革舜以利以謝16革舜的長子是細布業17以利以謝只有一個兒子利哈比雅,但利哈比雅子孫眾多。 18以斯哈的長子是示羅密19希伯崙的長子是耶利雅,次子是亞瑪利亞,三子是雅哈悉,四子是耶加緬20烏薛的長子是米迦,次子是耶西雅

21米拉利的兒子是抹利姆示抹利的兒子是以利亞撒基士22以利亞撒終生沒有兒子,只有女兒,同族人基士的兒子娶了她們為妻。 23姆示的三個兒子是末力以得耶利摩24以上是利未各宗族的子孫,他們登記在各自族長的名下,凡二十歲以上的男子都在耶和華的殿裡任職。 25大衛說:「以色列的上帝耶和華已使祂的子民安享太平,祂永遠住在耶路撒冷26利未人再不用抬聖幕和其中的器皿了。」 27按照大衛臨終時的囑咐,二十歲以上的利未人都已被統計。 28他們的任務是幫助亞倫的子孫在耶和華的殿裡司職,管理殿的院子和廂房,負責潔淨聖物等事務。 29他們還負責供餅、做素祭的細麵粉、無酵薄餅的調和、烤製、分量和尺寸。 30他們每天早晚要肅立、頌讚耶和華, 31每逢安息日、朔日23·31 朔日」即每月初一。或其他節期,他們要按照規定的數目將燔祭獻給耶和華, 32並負責看守會幕和聖所,幫助他們的親族——亞倫的子孫在耶和華的殿裡供職。

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 23:1-32

Abaleevi

123:1 a 1Bk 1:33-39; 1By 28:5 b 1Bk 1:30; 1By 29:28Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.

2Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi. 323:3 a nny 24; Kbl 8:24 b Kbl 4:3-49Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana. 423:4 a Ezr 3:8 b 1By 26:29; 2By 19:8Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi. 523:5 a 1By 15:16 b Nek 12:45Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”

623:6 2By 8:14; 29:25Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

7Abaana ba Gerusoni baali

Ladani ne Simeeyi.

8Batabani ba Ladani baali

Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.

9Batabani ba Simeeyi baali

Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu,

era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.

10Batabani ba Simeeyi omulala

Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya,

be bana bonna awamu.

11Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.

1223:12 Kuv 6:18Batabani ba Kokasi baali

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.

1323:13 a Kuv 6:20; 28:1 b Kuv 30:7-10; Ma 21:5 c Kbl 6:23Batabani ba Amulaamu baali

Alooni ne Musa.

Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. 1423:14 Ma 33:1Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.

1523:15 Kuv 18:4Batabani ba Musa baali

Gerusomu ne Eryeza.

1623:16 1By 26:24-28Mu bazzukulu ba Gerusomu,

Sebweri ye yali omukulu.

17Mu bazzukulu ba Eryeza,

Lekabiya ye yali omukulu.

Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.

18Mu batabani ba Izukali,

Seromisi ye yali omukulu.

1923:19 1By 24:23Mu batabani ba Kebbulooni,

Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.

20Mu batabani ba Wuziyeeri,

Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.

2123:21 1By 24:26Batabani ba Merali baali

Makuli ne Musi.

Batabani ba Makuli baali

Eriyazaali ne Kiisi.

22Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.

23Batabani ba Musi baali

Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.

2423:24 Kbl 4:3; 10:17, 21Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama. 2523:25 1By 22:9Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, 2623:26 Kbl 4:5, 15; 7:9Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.” 27Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.

2823:28 2By 29:15; Nek 13:9; Mal 3:3Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. 2923:29 a Kuv 25:30 b Lv 2:4-7; 6:20-23 c Lv 19:35-36Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. 3023:30 1By 9:33; Zab 134:1Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi, 3123:31 a 2Bk 4:23 b Lv 23:4; Kbl 28:9–29:39; Bak 2:16ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.

3223:32 a Kbl 1:53; 1By 6:48 b Kbl 3:6-8, 38 c 2By 23:18; 31:2Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.