歷代志下 1 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 1:1-17

所羅門王求智慧

1大衛的兒子所羅門鞏固了自己的王位。因為他的上帝耶和華與他同在,使他極其偉大。

2所羅門召集所有以色列人,包括千夫長、百夫長、審判官、首領和族長, 3與他們一起去基遍的邱壇,因為那裡有上帝的會幕,是耶和華的僕人摩西在曠野製造的。 4大衛已經把上帝的約櫃從基列·耶琳搬到耶路撒冷,因為他在那裡為約櫃搭了一個帳篷。 5戶珥的孫子、烏利的兒子比撒列造的銅壇在基遍耶和華的會幕前,所羅門和會眾就在那裡求問耶和華。 6所羅門上到耶和華會幕前的銅壇那裡,獻上一千頭祭牲作為燔祭。

7當天晚上,上帝向所羅門顯現,問他:「你要我給你什麼?只管求吧。」 8所羅門回答說:「你厚待我父大衛,並讓我繼位。 9耶和華上帝啊,求你成就你給我父大衛的應許。你立我為王,使我統治這多如地上塵土的百姓。 10現在,求你賜我智慧和知識以帶領他們。不然,誰能治理這麼多的百姓呢?」 11上帝對所羅門說:「你既然有此心願,不為自己求富貴、資財、尊榮、長壽,也沒有求滅絕你的敵人,只求智慧和知識以治理我的子民——我交在你王權之下的百姓, 12我必賜你智慧和知識,並且我還要賜你空前絕後的富貴、資財和尊榮。」

13於是,所羅門基遍邱壇的會幕前回到耶路撒冷治理以色列

所羅門王的兵力和財富

14所羅門組建了戰車和騎兵,有一千四百輛戰車、一萬二千名騎兵,駐紮在屯車城和他所在的耶路撒冷15王使耶路撒冷的金銀多如石頭,使香柏木多如丘陵的無花果樹。 16所羅門的馬匹都是由王室商隊從埃及古厄按定價買來的。 17他們從埃及買來的車馬,每輛車六百塊銀子,每匹馬一百五十塊銀子,他們也把車馬賣給人諸王和亞蘭諸王。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 1:1-17

Sulemaani Asaba Amagezi

11:1 a 1Bk 2:12, 26; 2By 12:1 b Lub 21:22; 39:2; Kbl 14:43 c 1By 29:25Sulemaani mutabani wa Dawudi n’atebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era n’amugulumiza nnyo.

21:2 1By 9:1; 28:1Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe. 31:3 a Kuv 36:8 b Kuv 40:18Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu. 41:4 a 2Sa 6:2; 1By 15:25 b 2Sa 6:17; 1By 15:1Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema. 51:5 a Kuv 38:2 b Kuv 31:2 c 1By 13:3Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama. 6Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.

71:7 2By 7:12Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti, “Saba kyonna ky’oyagala nkuwe.”

81:8 1By 23:1; 28:5Sulemaani n’addamu Katonda nti, “Olazze kitange Dawudi ekisa n’okwagala kungi nnyo, n’onfuula omusika we. 91:9 a 2Sa 7:25; 1Bk 8:25 b Lub 12:2Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka ow’eggwanga eryenkana ng’enfuufu ku nsi mu bungi bwayo. 101:10 Kbl 27:17; 2Sa 5:2; Nge 8:15-16Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?”

111:11 Ma 17:17Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe, 121:12 a 1By 29:12 b 1By 29:25; 2By 9:22; Nek 13:26amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.”

13Awo Sulemaani n’ava mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu e Gibyoni n’addayo e Yerusaalemi. N’afuga Isirayiri.

141:14 1Sa 8:11; 1Bk 4:26; 9:19Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga. 151:15 1Bk 9:28; Is 60:5Kabaka n’afuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ng’amayinja; era n’afuula n’emivule okuba emingi ng’emisukamooli mu nsenyi. 16Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo. 171:17 Lu 1:9Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.