歷代志上 22 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志上 22:1-19

1大衛說:「耶和華上帝的殿和以色列人獻燔祭的壇要在這裡。」

大衛籌備建殿

2大衛下令召集住在以色列的外族人,派他們採鑿建上帝殿用的石頭。 3大衛預備了大量的鐵,用來做門扇的釘子和鉤子,又預備了不計其數的銅。 4他還預備了無數的香柏木,都是西頓人和泰爾人給他運來的。

5大衛說:「為耶和華建造的殿宇必須宏偉輝煌,聞名於世,而我的兒子所羅門年紀還輕、閱歷尚淺,所以我要為這殿預備材料。」因此,大衛在去世前為建殿預備了許多材料。

6大衛召來兒子所羅門,囑咐他要為以色列的上帝耶和華建造殿宇。 7他對所羅門說:「兒啊,我本想為我的上帝耶和華的名建造一座殿宇。 8但耶和華對我說,『你殺了許多人,打了很多仗,在我眼前使許多人血灑大地,因此你不可為我的名建造殿宇。 9你將生一個兒子,我必使他安享太平,不受四圍的仇敵侵擾。他的名字要叫所羅門,他執政期間,我必使以色列太平安寧。 10他將為我的名建造殿宇,他要做我的兒子,我要做他的父親,我要使他的王朝在以色列永遠長存。』

11「兒啊,願耶和華與你同在,使你亨通,照你的上帝耶和華的吩咐去建造祂的殿。 12願耶和華賜你聰明和智慧,以便你照祂的律法治理以色列13你若謹遵耶和華藉摩西吩咐以色列的律例和典章,就必亨通。你要剛強勇敢,不可驚慌害怕。 14看啊,我歷盡艱辛,為耶和華的殿預備了三千四百五十噸金子、三萬四千五百噸銀子和不計其數的銅和鐵。我還預備了木料和石頭。你還要多加預備。 15你有許多工匠,如鑿石匠、砌石匠、木匠等各種能工巧匠, 16還有不計其數的金匠、銀匠、銅匠和鐵匠。現在動工吧,願耶和華與你同在。」

17大衛又吩咐以色列的眾首領幫助他兒子所羅門18他說:「你們的上帝耶和華與你們同在,使你們四境平安。祂將這地方的居民交在我手中,使這地方被祂和祂的子民治理。 19現在,你們要全心全意地尋求你們的上帝耶和華,去建造耶和華上帝的聖所,好將祂的約櫃和聖潔器皿都放在裡面。」

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 22:1-19

122:1 Lub 28:17; 1By 21:18-29; 2By 3:1Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.”

Enteekateeka ey’okuzimba Yeekaalu

222:2 a 1Bk 9:21; Is 56:6 b 1Bk 5:17-18Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama. 322:3 nny 14; 1Bk 7:47; 1By 29:2-5Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito. 422:4 1Bk 5:6Yawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera.

522:5 1Bk 3:7; 1By 29:1Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.

622:6 Bik 7:47Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba. 722:7 a 1By 17:2 b 2Sa 7:2; 1Bk 8:17 c Ma 12:5, 11Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange. 822:8 a 1Bk 5:3 b 1By 28:3Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange. 922:9 a 1Bk 5:4 b 2Sa 12:24 c 1Bk 4:20Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe. 1022:10 a 1By 17:12 b 2Sa 7:13 c 2Sa 7:14; 2By 6:15Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’ 

1122:11 nny 16“Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera. 1222:12 1Bk 3:9-12; 2By 1:10Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. 1322:13 a 1By 28:7 b Ma 31:6; Yos 1:6-9; 1By 28:20Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.

1422:14 nny 3; 1By 29:2-5, 19“Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako. 15Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa 1622:16 nny 11; 2By 2:7zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”

1722:17 1By 28:1-6Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti, 1822:18 a nny 9; 1By 23:25 b 2Sa 7:1Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be. 1922:19 nny 7; 1Bk 8:6; 1By 28:9; 2By 5:7; 7:14Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”