约翰一书 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰一书 3:1-24

上帝的儿女

1你们看,父上帝何等爱我们,称我们为祂的儿女!我们也实在是祂的儿女,世人之所以不认识我们,是因为他们不认识父上帝。 2亲爱的弟兄姊妹,我们现在是上帝的儿女,将来如何还未显明。但我们知道,当主显现的时候,我们必会像祂,因为我们必见到祂的本体。 3凡心存这种盼望的人都会自洁,因为主是圣洁的。

4犯罪的人都违背上帝的律法,违背上帝的律法就是罪。 5你们知道,耶稣降世是为了除掉人的罪,祂自己并没有罪。 6住在祂里面的人不会一直犯罪;一直犯罪的人既没见过祂也不认识祂。

7孩子们,不要受人迷惑,要知道行义的才是义人,正如主是公义的。 8一直犯罪的人是属魔鬼的,因为魔鬼从起初便犯罪,但上帝儿子的显现是为了摧毁魔鬼的工作。 9从上帝生的人不会继续犯罪,因为他里面有上帝的生命3:9 上帝的生命”希腊文是“上帝的种子”。。他不能犯罪,因为他是从上帝生的。 10这样,就可以看出谁是上帝的儿女,谁是魔鬼的儿女。凡不按公义行事、不爱弟兄姊妹的,都不是上帝的儿女。

彼此相爱

11我们应当彼此相爱,这是你们起初听见的信息。 12不要步该隐的后尘。他属于那恶者,杀害了自己的弟弟。他为什么要杀害自己的弟弟呢?因为他的行为邪恶,而他弟弟秉行公义。

13弟兄姊妹,世人若恨你们,不要惊奇。 14我们因爱弟兄姊妹,便知道自己已经出死入生了。不爱弟兄姊妹的,仍然陷在死亡中。 15恨弟兄姊妹的就是杀人的,你们知道杀人的没有永生。 16主耶稣为我们舍命,我们由此便知道什么是爱,我们也应当为弟兄姊妹舍命。 17如果一个丰衣足食的人看见贫穷的弟兄姊妹,却毫无怜悯之心,怎能说他爱上帝呢? 18所以,孩子们啊,不要单在口头上说爱人,总要以真诚的行动表现出来。

19-20这样,我们必知道自己属于真理,即使我们心中自责,也可以在上帝面前心安,因为上帝比我们的心大,祂知道一切。

21亲爱的弟兄姊妹,我们若能凡事问心无愧,就可以在上帝面前坦然无惧。 22这样,我们无论向上帝祈求什么,都必得到,因为我们遵守祂的命令,做祂喜悦的事。 23其实上帝的命令是:我们要信祂儿子耶稣基督的名,遵照祂的命令彼此相爱。 24遵行上帝命令的人就住在上帝里面,上帝也住在他里面。我们借着上帝赐给我们的圣灵知道:祂住在我们里面。

Luganda Contemporary Bible

1 Yokaana 3:1-24

Abaana ba Katonda

13:1 a Yk 3:16 b Yk 1:12 c Yk 16:3Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera. 23:2 a Bar 8:29; 2Pe 1:4 b 2Ko 3:18Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. 33:3 2Ko 7:1; 2Pe 3:13, 14Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.

43:4 1Yk 5:17Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. 53:5 2Ko 5:21Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. 63:6 a nny 9 b 3Yk 11 c 1Yk 2:4Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.

73:7 a 1Yk 2:1 b 1Yk 2:26 c 1Yk 2:29Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu, 83:8 Yk 8:44naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. 93:9 a Yk 1:13 b 1Yk 5:18Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. 10Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

Mwagalanenga

113:11 a 1Yk 1:5 b Yk 13:34, 35; 2Yk 5Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga, 123:12 Lub 4:8si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu. 133:13 Yk 15:18, 19; 17:14Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga. 143:14 a Yk 5:24 b 1Yk 2:9Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. 153:15 a Mat 5:21, 22; Yk 8:44 b Bag 5:20, 21Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

163:16 Yk 15:13Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. 173:17 a Ma 15:7, 8 b 1Yk 4:20Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? 183:18 a 1Yk 2:1 b Ez 33:31; Bar 12:9Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

19Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge. 20Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna. 213:21 1Yk 5:14Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda. 223:22 a Mat 7:7 b Yk 8:29Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa. 233:23 a Yk 6:29 b Yk 13:34Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira. 243:24 a 1Yk 2:6 b 1Yk 4:13Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.