约翰二书 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰二书 1:1-13

1我这做长老的写信给蒙拣选的女士1:1 学者一般认为“蒙拣选的女士”是指教会。和你的儿女,就是我本着真理所爱的。你们不单是我所爱的,也是一切认识真理的人所爱的。 2我们爱你们,因为真理在我们里面,并且永远与我们同在。

3从父上帝和祂儿子耶稣基督而来的恩典、怜悯和平安也必在真理和爱中与我们同在!

彼此相爱

4你的儿女当中有人按照我们从父领受的命令遵行真理,我知道后非常欣慰。 5女士啊,我现在劝你,我们大家要彼此相爱。这不是新命令,而是我们从起初就已经领受的命令。 6爱就是遵行上帝的命令,这是你们从起初就听过又当遵行的命令。

提防骗子

7因为现在世上有许多骗子出来迷惑人,他们否认耶稣基督曾降世为人。这样的人是骗子,是敌基督者。 8你们要谨慎,好得到完满的赏赐,免得我们前功尽弃。 9谁偏离基督的教导,谁心中就没有上帝;谁遵守基督的教导,谁就有父和子与他同在。 10若有人到你们那里不传基督的教导,不要请他到家里,也不要问候他, 11因为问候他就是与他同流合污。

结语

12我还有许多事要告诉你们,但不想借助纸墨,而是希望有机会到你们那里与你们当面畅谈,使我们充满喜乐。

13你那蒙拣选之姊妹的儿女问候你。

Luganda Contemporary Bible

2 Yokaana 1:1-13

11 a 3Yk 1 b Bar 16:13 c Yk 8:32Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima. 22 a 2Pe 1:12 b 1Yk 1:8Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.

33 Bar 1:7Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.

44 3Yk 3, 4Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe. 55 1Yk 2:7; 3:11Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” 66 1Yk 2:5Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

77 a 1Yk 2:22; 4:2, 3 b 1Yk 4:1 c 1Yk 2:18Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo. 88 1Ko 3:8Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. 99 1Yk 2:23Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana. 1010 Bar 16:17Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga. 1111 1Ti 5:22Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

1212 3Yk 13, 14Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

1313 nny 1Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.