彼得后书 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

彼得后书 1:1-21

1我是耶稣基督的奴仆和使徒西门·彼得,写信给借着我们的上帝和救主耶稣基督的义,与我们得到同样宝贵信心的人。

2愿你们因认识上帝和我们主耶稣而得到丰富的恩典和平安!

追求长进

3因为我们认识了用自己的荣耀和美德呼召我们的上帝,上帝以祂神圣的能力将生命与敬虔所需要的一切赐给了我们。 4借此,祂已将既宝贵又伟大的应许赏给了我们,使我们脱离世上私欲带来的败坏,能够有份于上帝的性情。

5正因如此,你们要加倍努力,不仅要有信心,还要有好的德行;不仅要有好的德行,还要有知识; 6不仅要有知识,还要有节制;不仅要有节制,还要有忍耐;不仅要有忍耐,还要有敬虔; 7不仅要有敬虔,还要有爱弟兄姊妹的心;不仅要有爱弟兄姊妹的心,还要有爱众人的心。 8如果充分具备了这些品德,你们对我们主耶稣基督的认识就不会停滞不前,毫无收获。 9缺乏上述品德的人不是瞎眼就是目光短浅,忘记他从前的罪已经得到洁净。

10所以,弟兄姊妹,你们要更加努力,以确定自己蒙了呼召和拣选。这样,你们就绝不会失足犯罪, 11进入我们的主和救主耶稣基督永恒国度的大门必为你们敞开。

12虽然你们已经知道这些事,并且在所领受的真道上也很坚固,但我还是要常常提醒你们。 13我觉得应当趁着我还在世的时候1:13 还在世的时候”希腊文是“还在这帐篷里的时候”,作者用帐篷代表自己的身体。提醒你们,激励你们, 14因我知道自己离世的日子已经不远了,正如我们的主耶稣基督指示我的。 15我要尽力使你们在我离世以后仍然常常记得这些事。

见证基督的荣耀

16我们从前告诉你们有关主耶稣基督的大能和祂降临的事,并非根据巧妙虚构的神话,而是我们亲眼见过祂的威荣。 17祂从父上帝那里得到了尊贵和荣耀,那时从极大的荣光中有声音对祂说:“这是我的爱子,我甚喜悦祂。” 18当时我们和祂一同在圣山上,亲耳听见了这来自天上的声音。

19这使我们更加确信先知的预言。你们要留意这些预言,把这些预言看作照耀在黑暗中的明灯,一直到天破晓、晨星在你们心中升起。 20你们首先该知道:圣经上的一切预言都不可随人的私意解释, 21因为预言绝非出于人的意思,都是人受了圣灵的感动,讲出上帝的信息。

Luganda Contemporary Bible

2 Peetero 1:1-21

11:1 a Bar 1:1 b 1Pe 1:1 c Bar 3:21-26 d Tit 2:13Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, 21:2 Baf 3:8ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.

Okuyita n’okulonda kwa Katonda

31:3 a 1Pe 1:5 b 1Bs 2:12Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. 41:4 a 2Ko 7:1 b Bef 4:24 c 2Pe 2:18-20Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.

51:5 Bak 2:3Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, 61:6 a Bik 24:25 b nny 3ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, 71:7 1Bs 3:12ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. 81:8 Yk 15:2; Tit 3:14Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. 91:9 a 1Yk 2:11 b Bef 5:26Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.

101:10 2Pe 3:17Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

121:12 Baf 3:1; 1Yk 2:21Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera. 131:13 2Ko 5:1, 4Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza. 141:14 a 2Ti 4:6 b Yk 21:18, 19Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. 151:15 Luk 9:31Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ng’ebyo byonna mubijjukira.

161:16 Mat 17:1-8Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe. 171:17 Mat 3:17Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.” 181:18 Mat 17:6Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.

191:19 a Zab 119:105 b Kub 22:16Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe. 20Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. 211:21 a 2Ti 3:16 b 2Sa 23:2; Bik 1:16; 1Pe 1:11Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.