尼希米记 13 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

尼希米记 13:1-31

与外族人隔离

1那天,有人给民众宣读摩西律法书时,发现书上说亚扪人和摩押人永不可加入上帝的会众。 2因为他们没有用食物和水接待以色列人,还雇巴兰咒诅他们,但我们的上帝将咒诅变为祝福。 3以色列人听到律法书上的话,便逐出所有外族人。

尼希米的改革

4这事之前,被委派负责上帝殿库房的以利亚实祭司因与多比雅是亲戚, 5就为多比雅预备了一个大房间,这房间从前用来存放素祭、乳香、器皿,按律法给利未人、歌乐手、殿门守卫的十分之一五谷、新酒和新油,以及给祭司的举祭。 6这一切发生的时候,我不在耶路撒冷,因为我已在巴比伦亚达薛西三十二年回到王那里。过了一段日子,我向王请求离开。 7我返回耶路撒冷后,才得知以利亚实在上帝殿的院内为多比雅预备房间的恶事。 8我非常愤怒,把多比雅所有的物品从房间里扔出去, 9下令洁净那些房间,然后搬回上帝殿内的器皿、素祭和乳香。

10我发现利未人没有得到应得之份,以致当值的利未人和歌乐手都跑回自己的田地。 11我斥责众首领说:“为何忽略上帝的殿?”然后,我招聚利未人,叫他们各归各职。 12犹大人都把他们的五谷、新酒和新油的十分之一送进库房。 13我派示利米雅祭司、律法教师撒督利未毗大雅管理库房,并派撒刻的儿子、玛他尼的孙子哈难做他们的助手。这些人忠诚可靠,他们负责把物品分配给他们的弟兄。 14我的上帝啊,求你因这事而记念我,不要涂抹我为上帝的殿和其中的敬拜礼仪所做的善事。

15那些天,我在犹大看见有人在安息日榨酒,搬运禾捆驮在驴背上,又在安息日把酒、葡萄、无花果和各样的出产带进耶路撒冷。我就在他们卖食物的那天警告他们。 16一些住在耶路撒冷泰尔人运来鱼和各样货物,在安息日卖给耶路撒冷犹大人。 17我斥责犹大的贵族说:“你们为何做这恶事干犯安息日? 18你们的祖先难道不是犯了这样的罪,以致我们的上帝使一切灾祸临到我们和这城吗?如今你们干犯安息日,使上帝的愤怒更多地临到以色列。”

19我下令在安息日之前夜幕来临时关上耶路撒冷城门,一直到安息日完毕才打开。我又派我的一些仆人把守城门,不准在安息日带货物进城。 20有一两次,商人和贩卖各样货物的曾在耶路撒冷城外住宿。 21我警告他们说:“你们为什么在城墙外面住宿呢?若再这样,我必拘捕你们。”从此,他们就不再在安息日来了。 22我吩咐利未人洁净自己,然后来看守城门,尊安息日为圣日。我的上帝啊,求你因此而记念我,按你丰盛的慈爱怜悯我。

23那些天,我见犹大人娶了亚实突亚扪摩押的女子为妻。 24他们半数的子女说亚实突话或其他外族人的话,不懂得犹大话。 25我就斥责他们,咒诅他们,打了他们其中一些人,又扯他们的头发,要他们奉上帝的名起誓不再让自己的子女与外族人通婚,自己也不娶外族女子。 26我说:“这岂不是以色列所罗门所犯的罪吗?众国中没有王可与他相比,他的上帝爱他,立他做全以色列的王。然而,连他也被外族女子引入罪中。 27我怎能听凭你们行这大恶,因娶外族女子而背叛我们的上帝呢?” 28以利亚实大祭司的孙子、耶何耶大的一个儿子娶了和伦参巴拉的女儿,我就把他赶了出去。 29我的上帝啊,求你记住他们,因为他们玷污了祭司的职分,违背了你与祭司和利未人所立的约。

30这样,我清除了他们当中的一切外族之物,并指定祭司和利未人的职分,使他们各尽其职, 31又让民众定期供应木柴和初熟的物产。

我的上帝啊,求你记念我,施恩于我。

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 13:1-31

Enkyukakyuka za Nekkemiya Ezasembayo

113:1 nny 23; Ma 23:3Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda, 213:2 a Kbl 22:3-11 b Kbl 23:7; Ma 23:3 c Kbl 23:11; Ma 23:4-5kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa. 313:3 nny 23; Nek 9:2Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.

413:4 a Nek 12:44 b Nek 2:10Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya. 513:5 Lv 27:30; Kbl 18:21Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’omugavu, n’ebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi eky’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, awamu n’omuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, n’abayimbi, n’abakuumi ba wankaaki, n’ebyo ebyaweebwanga bakabona.

613:6 Nek 2:6; 5:14Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka, 713:7 Ezr 10:24ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya z’ennyumba ya Katonda. 813:8 Mat 21:12-13; Yk 2:13-16Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge. 913:9 1By 23:28; 2By 29:5Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.

1013:10 Ma 12:19Ne ntegeezebwa ng’emigabo gy’Abaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga n’Abaleevi bonna awamu n’abayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe. 1113:11 Nek 10:37-39; Kag 1:1-9Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.

1213:12 a 2By 31:6 b 1Bk 7:51; Nek 10:37-39; Mal 3:10Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika. 1313:13 Nek 12:44; Bik 6:1-5Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.

1413:14 Lub 8:1Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olw’ekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, n’okuweereza kwe naweereza n’obwesigwa.

1513:15 Kuv 20:8-11; 34:21; Ma 5:12-15; Nek 10:31Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 1613:16 Nek 10:31Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 1813:18 Nek 10:31; Yer 17:21-23Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

1913:19 Lv 23:32Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti. 2213:22 Lub 8:1; Nek 12:30Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.

Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.

2313:23 a Ezr 9:1-2; Mal 2:11 b nny 1; Nek 10:30Ate era mu nnaku ezo, ne ndaba abasajja ba Yuda abaali bawasizza abakazi okuva mu Asudodi, ne Amoni, ne Mowaabu. 24Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lw’Abasudodi, oba olumu ku nnimi z’abantu abalala. 2513:25 Ezr 10:5Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini. 2613:26 a 1Bk 3:13; 2By 1:12 b 2Sa 12:25 c 1Bk 11:3Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi. 2713:27 Ezr 9:14; 10:2Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”

2813:28 a Ezr 10:24 b Nek 2:10Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.

2913:29 Nek 6:14Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gw’obwakabona n’endagaano y’obwakabona ne ey’Abaleevi.

3013:30 Nek 10:30Ne ntukuza bakabona awamu n’Abaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egy’okukola. 3113:31 a Nek 10:34 b nny 14, 22; Lub 8:1Ne nteekawo enkola ey’abantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era n’ebibala ebibereberye.

Onzijukire n’okwagala kwo Ayi Katonda wange.